Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
17 verses
1Kiramu kabaka w'e Ttuulo n'atuma ababaka eri Dawudi n'emivule n'abazimbi b'amayinja n'ababazzi, okumuzimbira ennyumba.
2Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isiraeri, kubanga obwakabaka bwe bwagulumizibwa waggulu, olw'abantu be Isiraeri.
3Awo Dawudi ne yeeyongera okuwasa abakazi e Yerusaalemi: Dawudi ne yeeyongera okuzaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
4Era gano ge mannya g'abaana be yazaalira e Yerusaalemi; Sammuwa ne Sobabu, Nasani ne Sulemaani;
5ne Ibukali ne Eriswa ne Erupereti;
6ne Noga ne Nefegi ne Yafiya;
7ne Erisaama ne Beeriyadda ne Erifereti.
8Awo Abafirisuuti bwe baawulira Dawudi ng'afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri yenna, Abafirisuuti bonna ne bambuka okunoonya Dawudi: Dawudi n'akiwulira, n'abatabaala.
9Era Abafirisuuti baali bazze ne bazinda ekiwonvu Lefayimu.
10Dawudi n'abuuza Katonda ng'ayogera nti Ntabaale Abafirisuuti? era onoobagabula mu mukono gwange? Mukama n'amugamba nti Tabaala; kubanga ndibagabula mu mukono gwo.
11Awo ne batabaala e Baaluperazimu, Dawudi n'abakubira eyo; Dawudi n'ayogera nti Katonda amenye abalabe bange n'omukono gwange, ng'amazzi bwe gamenyeka. Ekifo ekyo kyebaava bakituuma erinnya Baaluperazimu.
12Ne baleka eyo bakatonda baabwe; Dawudi n'alagira ne babookya omuliro.
13Abafirisuuti ne bazinda ekiwonvu nate olw'okubiri.
14Dawudi n'abuuza nate Katonda; Katonda n'amugamba nti Totabaala okubagoberera: kyuka obaveeko, obatuukeko ng'obafuluma mu maaso g'emitugunda.
15Awo olunaatuuka bw'onoowulira eddoboozi ery'okutambula ku masanso g'emitugunda, n'olyoka otabaala: kubanga Katonda atabadde okukukulembera okukuba eggye ery'Abafirisuuti.
16Dawudi n'akola nga Katonda bwe yamulagira: ne bakuba eggye ery'Abafirisuuti okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri.
17Ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna; Mukama n'aleeta entiisa ye ku mawanga gonna.