Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
19 verses
1Awo Dawudi n'ayogera nti Eno ye nnyumba ya Mukama Katonda, era kino kye kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa eri Isiraeri.
2Awo Dawudi n'alagira okukuŋŋaanya bannaggwanga abaali mu nsi ya Isiraeri; n'assaawo ab'amayinja okutema amayinja amabajje okuzimba ennyumba ya Katonda.
3Dawudi n'ategeka ebyuma bingi olw'enninga n'enzigi ez'emizigo n'olw'ebigatta; n'ebikomo bingi ebitapimika;
4n'emivule egitabalika: kubanga Abazidoni n'Abatuulo baaleeta emivule mingi eri Dawudi.
5Dawudi n'ayogera nti Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto, n’ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba ey'ekitiibwa ekinene ennyo, okwatiikirira n'okutenderezebwa mu nsi zonna: kyendiva ngitegekera. Awo Dawudi n'ategeka bingi nnyo nga tannaba kufa.
6Awo n'ayita Sulemaani mutabani we n'amukuutira okuzimbira ennyumba Mukama Katonda wa Isiraeri.
7Dawudi n'agamba Sulemaani mutabani we nti Nze, kyali mu mutima gwange okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange ennyumba.
8Naye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nti Wayiwa omusaayi mungi, n'olwana entalo enkulu: tozimbira linnya lyange nnyumba, kubanga wayiwa omusaayi mungi ku nsi mu maaso gange;
9laba, olizaalirwa omwana wa bulenzi, aliba omusajja ow'emirembe; era ndimuwa emirembe eri abalabe be bonna enjuyi zonna: kubanga erinnya lye aliba Sulemaani, era ndiwa emirembe n'okutereera eri Isiraeri ku mirembe gye:
10oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba; era anaabanga mwana wange, nange naabanga kitaawe; era ndinyweza entebe ey'obwakabaka bwe ku Isiraeri emirembe gyonna.
11Kale, mwana wange, Mukama abe naawe; olabe omukisa, ozimbe ennyumba ya Mukama Katonda wo, nga bwe yakwogerako.
12Kyokka Mukama akuwe amagezi n'okutegeera, akukuutire ebya Isiraeri; olyoke okwate amateeka ga Mukama Katonda wo.
13Bw'otyo bw'onoolabanga omukisa, bw'oneekuumanga okukola amateeka n'emisango, Mukama bye yakuutira Musa ebya Isiraeri: ba n'amaanyi ogume omwoyo; totya so totekemuka.
14Laba nno, mu kubonyabonyezebwa kwange ntegekedde ennyumba ya Mukama talanta eza zaabu kasiriivu ne talanta eza ffeeza kakadde; n'ebikomo n'ebyuma ebitapimika; kubanga bingi nnyo: era n'emiti n'amayinja ntegese; oyongereko ggwe.
15Era nate waliwo naawe abakozi b'emirimu bangi nnyo, abatema n'abakola emirimu egy'amayinja n'emiti, n'abantu bonna abalina amagezi ag'omulimu gwonna;
16zaabu ne ffeeza n'ebikomo n'ebyuma tebibalika; golokoka okole, era Mukama abeere naawe.
17Era Dawudi n'alagira n'abakulu bonna aba Isiraeri okuyamba Sulemaani mutabani we, ng'ayogera nti
18Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? era tabawadde mirembe enjuyi zonna? kubanga agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange; era ensi ewanguddwa mu maaso ga Mukama, ne mu maaso g'abantu be.
19Kale munyweze omutima gwammwe n'emmeeme yammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe; kale mugolokoke muzimbe ekiggwa kya Mukama Katonda, okuleeta essanduuko ey'endagaano ya Mukama, n'ebintu ebitukuvu ebya Katonda okubiyingiza mu nnyumba egenda okuzimbirwa erinnya lya Mukama.