Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
34 verses
1Awo abaana ba Isiraeri ng'omuwendo gwabwe bwe gwali, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe n'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi n'abakulu baabwe abaaweerezanga kabaka mu buli kigambo eky'empalo ezaayingiranga ne zifulumanga buli mwezi okumala emyezi gyonna egy'omwaka, aba buli luwalo baali obukumi bubiri mu enkumi nnya.
2Yasobeyamu mutabani wa Zabudyeri ye yali omukulu w'oluwalo olw'olubereberye olw'omu mwezi ogw'olubereberye: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
3Oyo yali wa ku baana ba Pereezi, omukulu w'abaami bonna ab'eggye mu mwezi ogw'olubereberye.
4Ne Dodayi Omwakowa n'oluwalo lwe ye yali omukulu w'oluwalo olw'omwezi ogw'okubiri; ne Mikuloosi omukungu: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
5Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona omukulu ye yali omwami ow'okusatu ow'eggye ow'omu mwezi ogw'okusatu: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
6Ono ye Benaya oyo eyali omusajja ow'amaanyi ow'oku abo amakumi asatu, era omukulu w'abo amakumi asatu: ne Ammizabaadi mutabani we yali wa ku luwalo lwe.
7Asakeri muganda wa Yowaabu ye yali omwami ow'okuna ow'omu mwezi ogw'okuna, ne Zebadiya mutabani we oluvannyuma lwe: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
8Samukusi Omuyizula ye yali omwami ow'okutaano ow'omu mwezi ogw'okutaano: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
9Ira mutabani wa Ikesi Omutekowa ye yali omwami ow'omukaaga ow'omu mwezi ogw'omukaaga: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
10Kerezi Omuperoni ow'oku baana ba Efulayimu ye yali omwami ow'omusanvu ow'omu mwezi ogw'omusanvu: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
11Sibbekayi Omukusasi ow'oku Bazera ye yali omwami ow'omunaana ow'omu mwezi ogw'omunaana: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
12Abiyezeeri Omwanasosi ow'oku Babenyamini ye yali omwami ow'omwenda ow'omu mwezi ogw'omwenda: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumii bubiri mu enkumi nnya.
13Makalayi Omunetofa ow'oku Bazera ye yali omwami ow'ekkumi ow'omu mwezi ogw'ekkumi: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
14Benaya Omupirasoni ow'oku baana ba Efulayimu ye yali omwami ow'ekkumi n'omu ow'omu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu: ne mu luwalo lwe mwalimu' obukumi bubiri mu enkumi nnya.
15Kerudayi Omunetofa, owa Osunieri, ye yali omwami ow'ekkumi n'ababiri ow'omu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri; ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
16Nate abaafuga ebika bya Isiraeri: ku Balewubeeni Eryeza mutabani wa Zikuli afuga: ku Basimyoni Sefatiya mutabani wa Maaka:
17ku Leevi Kasabiya mutabani wa Kemweri: ku Alooni Zadoki:
18ku Yuda Eriku, omu ku baganda ba Dawudi: ku Isakaali Omuli mutabani wa Mikayiri;
19ku Zebbulooni Isumaaya mutabani wa Obadiya: ku Nafutaali Yeremosi mutabani wa Azuliyeeri:
20ku baana ba Efulayimu Koseya mutabani wa Azaziya: ku kitundu ky'ekika kya Manase Yoweeri mutabani wa Pedaya:
21ku kitundu ky'ekika kya Manase mu Gireyaadi Iddo mutabani wa Zekkaliya; ku Benyamini Yaasiyeri mutabani wa Abuneeri:
22ku Ddaani Azaleeri mutabani wa Yerokamu. Abo be baali abaami b'ebika bya Isiraeri.
23Naye Dawudi n'atabala muwendo gwabo abaakamaze emyaka amakumi abiri n'abatannaba kutuusa egyo, kubanga Mukama yali ayogedde ng'alyongera Isiraeri ng'emmunyeenye ez'omu ggulu,
24Yowaabu mutabani wa Zeruyiya yatanula okubala, naye n'atamaliriza: obusungu kyebwava bujja ku Isiraeri; so n'omuwendo tegwawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya kabaka Dawudi.
25Era Azumaveesi mutabani wa Adyeri yali mukulu wa mawanika ga kabaka: ne Yonasaani mutabani wa Uzziya yali mukulu wa mawanika ag'oku ttale n'ag'omu bibuga n'ag'omu byalo n'agomu bigo:
26ne Ezuli mutabani wa Kerubu ye yali omukulu w'abo abaakola emirimu egy'omu nnimiro olw'okulima ettaka:
27ne Simeeyi Omulaama ye yali omukulu w'ensuku z'emizabbibu: ne Zabudi Omusifumu ye yali omukulu w'ebibala eby'ensuku olw'amasenero ag'omwenge:
28ne Baalukanani Omugedera ye yali omukulu w'emizeyituuni n'emisukomooli egyali mu nsenyi: ne Yowaasi ye yali omukulu w'amawanika g'amafuta:
29ne Situlayi Omusaloni ye yali omukulu w'ebisibo ebyalundibwa mu Saloni: ne Safati mutabani wa Adulayi ye yali omukulu w'ebisibo ebyali mu biwonvu:
30ne Obiri Omuyisimaeri ye yali omukulu w'eŋŋamira: ne Yedeya Omumeronoosi ye yali omukulu w'endogoyi:
31ne Yazizi Omukaguli ye yali omukulu w'embuzi. Abo bonna be baali abakulu b'ebintu ebya kabaka Dawudi.
32Ne Yonasaani kitaawe wa Dawudi omuto yali muteesa wa bigambo, omusajja omutegeevu era omuwandiisi: ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni yabanga wamu n'abaana ba kabaka:
33ne Akisoferi ye yateesanga ebigambo bya kabaka: Kusaayi Omwaluki ye yali mukwano gwa kabaka:
34Yekoyaada mutabani wa Benaya n'addirira Akisoferi, ne Abiyasaali: ne Yowaabu ye yali omwami w'eggye lya kabaka.