Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
40 verses
1Ne Benyamini n'azaala Bera omubereberye we, Asuberi ow'okubiri, ne Akala ow'okusatu;
2Noka ow'okuna, ne Lafa ow'okutaano.
3Ne Bera yalina batabani be, Addali, ne Gera, ne Abikudi;
4ne Abisuwa, ne Naamani, ne Akowa;
5ne Gera, ne Sefufani, ne Kulamu
6Era bano be batabani ba Ekudi: gino gye mitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'abo abaali mu Geba, ne babatwala e Manakasi nga basibe:
7ne Naamani ne Akiya ne Gera n'abatwala nga basibe; n'azaala Uzza ne Akikudi.
8Sakalayimu n'azaala abaana mu nnimiro ya Mowaabu bwe yamala okubasindika; Kusimu ne Baala be baali bakazi be.
9N'azaala mu Kodesi mukazi we Yobabu, ne Zibiya, ne Mesa, ne Malukamu;
10ne Yewuzi, ne Sakiya, ne Miruma. Abo be baali batabani be, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe.
11N'azaala mu Kusimu Abitubu ne Erupaali.
12Ne batabani ba Erupaali; Eberi ne Misamu ne Semedi, eyazimba Ono ne Loodi, wamu n'ebibuga byako:
13ne Beriya ne Sema, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'abo abaabeeranga e Ayalooni, abaagoba abo abaali e Gaasi;
14ne Akiyo, Sasaki, ne Yeremosi;
15ne Zebadiya, ne Aladi, ne Ederi;
16ne Mikayiri, ne Isupa, ne Yoka, batabani ba Beriya;
17ne Zebadiya, ne Mesullamu, ne Kizuki, ne Keberi;
18ne Isumerayi, ne Izuliya, ne Yobabu, batabani ba Erupaali;
19ne Yakimu, ne Zikuli, ne Zabudi;
20ne Eryenayi, ne Ziresayi, ne Eryeri;
21ne Adaaya, ne Beraya, ne Simulasi, batabani ba Simeeyi;
22ne Isupani, ne Eberi, ne Eryeri;
23ne Abudoni, ne Zikuli, ne Kanani;
24ne Kananiya, ne Eramu, ne Anusosiya;
25ne Ifudeya, ne Penueri, batabani ba Sasaki;
26ne Samuserayi, ne Sekaliya, ne Asaliya;
27ne Yaalesiya, ne Eriya, ne Zikuli, batabani ba Yerokamu.
28Abo be baali emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe! okubuna emirembe gyabwe, abasajja abakulu: abo baabeeranga mu Yerusaalemi.
29Era kitaawe wa Gibyoni n'abeeranga mu Gibyoni, Yeyeri, mukazi we erinnya lye Maaka:
30ne mutabani we omubereberye Abudoni, ne Zuuli, ne Kiisi, ne Baali, ne Nadabu;
31ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekeeri.
32Mikuloosi n'azaala Simeeya. Era nabo baabeeranga ne baganda baabwe e Yerusaalemi, okwolekera baganda baabwe.
33Neeri n'azaala Kiisi; Kiisi n'azaala Sawulo; Sawulo n'azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadabu, ne Esubaali.
34Era Meribubaali ye yali mutabani wa Yonasaani; Meribubaali n'azaala Mikka.
35Ne batabani ba Mikka; Pisoni, ne Mereki, ne Taleya, ne Akazi.
36Akazi n'azaala Yekoyaada; Yekoyaada n'azaala Alemesi, ne Azumavesi, ne Zimuli; Zimuli n'azaala Moza:
37ne Moza n'azaala Bineya; Lafa ye yali mutabani we, Ereyasa mutabani we, Azeri mutabani we:
38Azeri n'azaala batabani be mukaaga, amannya gaabwe gaagano; Azulikamu, Bokeru, ne Isimaeri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani. Abo bonna baali batabani ba Azeri.
39Ne batabani ba Eseki muganda we; Ulamu omubereberye we, Yewusi ow'okubiri, ne Erifereti ow'okusatu.
40Ne batabani ba Ulamu ne baba basajja ab'amaanyi abazira, abalasi, era baalina batabani baabwe bangi, n'abazzukulu, kikumi mu ataano. Abo bonna baali ku batabani ba Benyamini.