Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
31 verses
1Paulo, eyayitibwa okuba omutume wa Yesu Kristo olw'okwagala kwa Katonda, ne Sossene ow'oluganda,
2eri ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso, abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abaayitibwa okuba abatukuvu, wamu ne bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, ye Mukama waabwe era owaffe:
3ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo.
4Nneebaza Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olw'ekisa kya Katonda kye mwaweerwa mu Kristo Yesu;
5kubanga mu buli kigambo mwagaggawalira mu ye, mu kwogera kwonna ne mu kutegeera kwonna;
6ng'okutegeeza kwa Kristo bwe kwanywezebwa mu mmwe:
7mmwe obutaweebuuka mu kirabo kyonna; nga mulindirira okubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo;
8era alibanyweza okutuusa ku nkomerero, obutabaako kya kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo.
9Katonda mwesigwa, eyabayisa okuyingira mu kusseekimu kw'Omwana we Yesu Kristo Mukama waffe.
10Naye mbeegayirira, ab'oluganda, olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mwenna okwogeranga obumu, so okwawukana kulemenga okuba mu mmwe, naye mugattirwenga ddala mu magezi gamu ne mu kulowooza kumu.
11Kubanga nnabuulirwa ebifa gye muli, baganda bange, abo ab'omu nnyumba ya Kuloowe, ng'eriyo ennyombo mu mmwe.
12Kye njogedde kye kino nti buli muntu mu mmwe ayogera nti Nze ndi wa Pawulo; nange wa Apolo; nange wa Keefa; nange wa Kristo:
13Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yakomererwa ku lwammwe? oba mwabatizibwa okuyingira mu linnya lya Pawulo?
14Nneebaza Katonda kubanga sibatizanga muntu yenna mu mmwe, wabula Kulisupo ne Gaayo;
15omuntu yenna alemenga okwogera nga mwabatizibwa okuyingira mu linnya lyange:
16Era nnabatiza n'ennyumba ya Suteefana: nate simanyi nga nnabatiza omulala yenna.
17Kubanga Kristo teyantuma kubatiza, wabula okubuulira Enjiri: si mu magezi ga bigambo, omusalaba gwa Kristo gulemenga okuba ogw'obwereere.
18Kubanga ekigambo eky'omusalaba bwe busirusiru eri abo ababula; naye eri ffe abalokebwa ge maanyi ga Katonda.
19Kubanga kyawandiikibwa nti Ndizikiriza amagezi g'abagezigezi, N'obukabakaba bw'abakabakaba ndibuggyawo.
20Omugezigezi aluwa? omuwandiisi aluwa? omuwakanyi ow'omu nsi muno aluwa? Katonda teyasiruwaza magezi ga nsi?
21Kubanga mu magezi ga Katonda ensi olw'amagezi gaayo bw'etaategeera Katonda, Katonda n'asiima olw'obusirusiru obw'okubuulira okwo okulokola abo abakkiriza.
22Kubanga Abayudaaya basaba obubonero, n'Abayonaani banoonya amagezi:
23naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa, eri Abayudaaya nkonge, n'eri ab'amawanga busirusiru;
24naye eri abo abayite Abayudaaya era n'Abayonaani, Kristo maanyi ga Katonda, era magezi ga Katonda.
25Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga abantu amagezi; n'obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.
26Kubanga mutunuulire okuyitibwa kwammwe, ab'oluganda, ng'ab'amagezi ag'omubiri si bangi abayitibwa, ab'amaanyi si bangi, ab'ekitiibwa si bangi:
27naye Katonda yalonda ebisirusiru eby'ensi, abagezigezi abakwase ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby'ensi, akwase ensonyi eby'amaanyi;
28n'ebikopi by'ensi n'ebinyoomebwa Katonda yabironda era n'ebitaliiwo, aggyewo ebiriwo:
29omubiri gwonna gulemenga okwenyumiriza mu maaso ga Katonda.
30Naye ku bw'oyo mmwe muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, era n'obutuukirivu n'okutukuzibwa, n'okununulibwa:
31nga bwe kyawandiikibwa nti Eyeenyumiriza, yeenyumiririzenga mu Mukama.