Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
24 verses
1Naye okukuŋŋaanyizanga ebintu abatukuvu, nga bwe nnalagira ekkanisa ez'e Ggalatiya, nammwe mukolenga bwe mutyo.
2Ku lunaku olw'olubereberye mu ssabbiiti buli muntu mu mmwe aterekenga ewuwe nga bw'ayambiddwa, ebintu bireme okukuŋŋaanyizibwa lwe ndijja.
3Era bwe ndituuka be mulisiima mu bbaluwa abo be ndituma okutwala ekisa kyammwe mu Yerusaalemi:
4era oba nga kirinsaanira nange okugenda, baligenda nange.
5Naye ndijja gye muli bwe ndiba nga mmaze okuyita mu Makedoni; kubanga ndiyita mu Makedoni:
6naye mpozzi ndituula gye muli katono, oba n'okumala ndimalayo biro bya ttoggo byokka, mmwe mulyoke munsibirire gye ndigenda yonna.
7Kubanga ssaagala kubalaba kaakano nga mpita buyisi: kubanga nsuubira okulwayo katono gye muli, Mukama waffe bw'alikkiriza.
8Naye ndirwayo mu Efeso okutuusa ku Pentekoote;
9kubanga oluggi olunene era olw'emirimu emingi lunziguliddwawo, era abalabe bangi.
10Naye oba nga Timoseewo alijja, mulabe abeerenga gye muli awatali kutya; kubanga akola omulimu gwa Mukama waffe era nga nze:
11kale omuntu yenna tamunyoomanga. Naye mumusibirire n'emirembe, ajje gye ndi: kubanga nsuubira okumulaba awamu n'ab'oluganda.
12Naye ebya Apolo ow'oluganda, nnamwegayirira nnyo okujja gye muli awamu n'ab'oluganda: n'atayagalira ddala kujja mu kiseera kino; naye alijja bw'alifuna ebbanga.
13Mutunulenga, munywerenga mu kukkiriza, mubeerenga basajja, mubeerenga ba maanyi.
14Byonna bye mukola bikolebwenga mu kwagala.
15Naye mbeegayirira, ab'oluganda (mumanyi ennyumba ya Suteefana, nga gwe mwaka omubereberye ogw'omu Akaya, era nga beeteeseteese okuweereza abatukuvu),
16nammwe muwulirenga abali ng'abo, na buli muntu akolera awamu naffe afuba.
17Era nsanyukira okujja kwa Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko: kubanga ebyabula ku lwammwe baabituukiriza.
18Kubanga baawummuza omwoyo gwange n'ogwammwe: kale mukkirizenga abali ng'abo.
19Ekkanisa ez'omu Asiya zibalamusizza. Akula ne Pulisika babalamusizza nnyo mu Mukama waffe; n'ekkanisa eri mu nnyumba yaabwe.
20Ab'oluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu.
21Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n'omukono gwange.
22Omuntu yenna bw'atayagalanga Mukama waffe, akolimirwenga. Mukama waffe ajja.
23Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
24Okwagala kwange kubeerenga nammwe mwenna mu Kristo Yesu. Amiina.