Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
23 verses
1Nange, ab'oluganda, ssaayinza kwogera nammwe ng'ab'omwoyo, naye ng'ab'omubiri, ng'abaana abawere mu Kristo.
2Nnabanywesa mata, so si mmere; kubanga mwali temunnagiyinza: naye era ne kaakano temunnagiyinza;
3kubanga mukyali ba mubiri: kubanga mu mmwe nga bwe mukyalimu obuggya n'okuyomba, temuli ba mubiri, era temutambula ng'abantu obuntu?
4Kubanga omuntu bw'ayogera nti Nze ndi wa Pawulo; n'omulala nti Nze ndi wa Apolo; nga temuli bantu buntu?
5Kale Apolo kye ki? ne Pawulo kye ki? Baweereza buweereza ababakkirizisa; era buli muntu nga Mukama waffe bwe yamuwa.
6Nze nnasiga, Apolo n'afukirira; naye Katonda ye yakuza.
7Kale bwe kityo asiga si kintu, newakubadde afukirira; wabula Katonda akuza.
8Naye asiga n'afukirira bali bumu: naye buli muntu aliweebwa empeera ye ye ng'omulimu gwe ye bwe guliba.
9Kubanga Katonda tuli bakozi banne: muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.
10Ng'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa, ng'omukoza w'abazimbi ow'amagezi nnasima omusingi; n'omulala n'azimbako. Naye buli muntu yeekuumenga bw'azimbako.
11Kubanga tewali muntu ayinza kusima musingi mulala wabula ogwo ogwasimibwa, ye Yesu Kristo.
12Naye omuntu yenna bw'azimbanga ku musingi ogwo zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo omungi, emiti, essubi, ebisasiro;
13omulimu ogwa buli muntu gulirabisibwa: kubanga olunaku luli luligwolesa, kubanga gulibikkulirwa mu muliro; n'omuliro gwennyini gulikema omulimu ogwa buli muntu bwe gufaanana.
14Omulimu ogwa buli muntu gwe yazimbako bwe gulibeerawo, aliweebwa empeera.
15Omulimu ogwa buli muntu bwe gulyokebwa, alifiirwa; naye ye yennyini alirokoka; naye bw'ati, kuyita mu muliro.
16Temumaayi nga muli yeekaalu ya Katonda, era nga Omwoyo gwa Katonda abeera mu mmwe?
17Omuntu yenna bw'azikirizanga yeekaalu ya Katonda, Katonda alimuzikiriza oyo; kubanga yeekaalu ya Katonda ntukuvu: ye mmwe:
18Omuntu yenna teyeerimbanga; Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino, afuukenga musirusiru, alyoke afuuke omugezi.
19Kubanga amagezi ag'omu nsi muno bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti Akwasa abagezi enkwe zaabwe:
20era nate nti Mukama ategeera empaka ez'abagezi nga teziriimu.
21Omuntu yenna kyavanga alema okwenyumiriza mu bantu. Kubanga byonna byammwe;
22oba Pawulo, oba Apolo, oba Keefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebigenda okubaawo; byonna byammwe;
23nammwe muli ba Kristo; ne Kristo wa Katonda.