Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
13 verses
1N'okugamba bagamba nga mu mmwe mulimu obwenzi, era obwenzi bwe butyo obutali ne mu b'amawaaga, omuntu okubeera ne mukazi wa kitaawe.
2Nammwe mwegulumizizza; so temwanakuwala bunakuwazi, oyo eyakola ekikolwa ekyo alyoke aggibwe wakati mu mmwe.
3Kubanga nze bwe ssibaayo mu mubiri naye nga ndiyo mu mwoyo; mmaze okusalira omusango oyo eyayonoona ekyo bw'atyo,
4mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mmwe nga mukuŋŋaanye n'omwoyo gwange awamu n'amaanyi ga Mukama waffe Yesu,
5okuwaayo ali bw'atyo eri Setaani omubiri okuzikirizibwa, omwoyo gulyoke gulokoke ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.
6Okwenyumiriza kwammwe si kulungi: Tetumanyi ng'ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna?
7Muggyeemu ekizimbulukusa eky'edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa. Kubanga era n'Okuyitako kwaffe kwattibwa, ye Kristo:
8kale tufumbe embaga, si na kizimbulukusa eky'edda, newakubadde n'ekizimbulukusa eky'ettima n'obubi, wabula n'ebitazimbulukuswa eby'obutali bukuusa n'amazima.
9Nnabawandiikira mu bbaluwa yange obuteegattanga na benzi;
10so si kwewalira ddala abenzi ab'omu nsi muno, oba abeegombi n'abanyazi, oba abasinza ebifaananyi: kubanga bwe kiba kityo kyandibagwanidde okuva mu nsi:
11naye kaakano mbawandiikira obuteegattanga naye, omuntu yenna ayitibwa ow'oluganda bw'aba nga mwenzi, oba mwegombi, oba asinza ebifaananyi, oba muvumi, oba mutamiivu, oba munyazi; ali bw'atyo n'okulya temulyanga naye.
12Kubanga nfaayo ki okusalira omusango abali ebweru? Mmwe temusalira musango ba munju?
13Naye ab'ebweru Katonda ye abasalira omusango. Omubi oyo mumuggye mu mmwe.