Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
29 verses
1Baana bange abato, mbawandiikidde ebyo mulemenga okukola ekibi. Era omuntu yenna bw'akola ekibi, tulina Omuwolereza eri Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu:
2n'oyo gwe mutango olw'ebibi byaffe; so si lwa bibi byaffe fekka, era naye n'olw'ensi zonna.
3Era ku kino kwe tutegeerera nga tumutegedde, bwe tukwata ebiragiro bye.
4Ayogera nti Mmutegedde, n'atakwata biragiro bye, ye mulimba, n'amazima tegali mu oyo;
5naye buli akwata ekigambo kye, mazima okwagala kwa Katonda nga kumaze okutuukirizibwa mu oyo. Ku kino kwe tutegeerera nga tuli mu ye:
6ayogera ng'abeera mu ye kimugwanira naye yennyini okutambulanga era nga ye bwe yatambula.
7Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, wabula ekiragiro eky'edda, kye mwalina okuva ku lubereberye; ekiragiro ekyo eky'edda kye kigambo kye mwawulira.
8Nate mbawandiikira ekiragiro ekiggya, ekigambo eky'amazima mu ye ne mu mmwe; kubanga ekizikiza kiggwaawo, n'omusana ogw'amazima kaakano gwaka.
9Ayogera ng'ali mu musana n'akyawa muganda we, ng'akyali mu kizikiza ne kaakano.
10Ayagala muganda we abeera mu musana, era tewali kimwesittaza.
11Naye akyawa muganda we ali mu kizikiza, era atambulira mu kizikiza, so nga tamanyi gy'agenda, kubanga ekizikiza kyamuziba amaaso.
12Mbawandiikira mmwe, abaana abato, kubanga ebibi byammwe bibasonyiyiddwa olw'erinnya lye.
13Mbawandiikira mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikira mmwe, abavubuka, kubanga muwangudde omubi. Mbawandiikidde mmwe, abaana abato, kubanga mutegedde Kitaffe.
14Mbawandiikidde mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikidde mmwe, abavubuka, kubanga mulina amaanyi, n'ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe, era muwangudde omubi.
15Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw'ayagala ensi, okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye.
16Kubanga buli ekiri mu nsi, okwegomba kw'omubiri, n'okwegomba kw'amaaso, n'okwegulumiza kw'obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi.
17Era ensi eggwaawo, n'okwegomba kwayo; naye akola Katonda by'ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.
18Abaana abato, kye kiseera eky'enkomerero, era nga bwe mwawulira ng'omulabe wa Kristo ajja, ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi; kyetuva tutegeera nga kye kiseera eky'enkomerero.
19Baava mu ffe, naye tebaali b'ewaffe; kuba singa baali b'ewaffe, bandibadde wamu naffe; naye baatuvaamu era balabisibwe bonna nga si b'ewaffe.
20Nammwe mufukibwako amafuta eri Omutuknvu, era mumanyi byonna.
21Sibawandiikidde kubanga temumanyi mazima, naye kubanga mugamanyi, era kubanga tewali bulimba obuva mu mazima.
22Omulimba ye ani wabula oyo agaana nga Yesu si ye Kristo? Oyo ye mulabe wa Kristo, agaana Kitaffe n'Omwana.
23Buli muntu yenna agaana Omwana, ne Kitaffe nga tali naye; ayatula Omwana, ne Kitaffe ali naye.
24Mmwe kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe. Kye mwawulira okuva ku lubereberye bwe kinaabeeranga mu mmwe, nammwe munaabeeranga mu Mwana ne mu Kitaffe.
25Na kuno kwe kusuubiza kwe yatusuubiza, obulamu obutaggwaawo.
26Ebyo mbawandiikidde olw'ebigambo by'abo abakyamya.
27Nammwe okufukibwako amafuta kwe mwaweebwa ye kubeera mu mmwe, so temwetaaga muntu yenna okubayigirizanga; naye ng'okufuka kwe okw'amafuta bwe kubayigiriza mu bigambo byonna, era kwa mazima so si bulimba, era nga bwe kwabayigiriza, mubeerenga mu ye.
28Ne kaakano, abaana abato, mubeerenga mu ye; bw'alirabisibwa tulyoke tubeere n'obugumu, era ensonyi zireme okutukwatira mu maaso ge mu kujja kwe.
29Oba nga mumanyi nga mutuukirivu, era mutegeera nga buli muntu yenna akola obutuukirivu yazaalibwa ye.