Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
1Buli muntu yenna akkiriza nga Yesu ye Kristo, ng'azaaliddwa Katonda: na buli ayagala eyazaala ayagala n'oyo gwe yazaala.
2Ku ekyo kwe tutegeerera nga twagala abaana ba Katonda, bwe twagala Katonda ne tukola ebiragiro bye.
3Kubanga kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.
4Kubanga buli ekyazaalibwa Katonda kiwangula ensi; era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, okukkiriza kwaffe.
5Era awangula ensi ye ani, wabula akkiriza nga Yesu ye Mwana wa Katonda?
6Oyo ye yajja n'amazzi n'omusaayi, Yesu Kristo; si na mazzi gali gokka, naye n'amazzi gali n'omusaayi guli.
7Era Omwoyo y'ategeeza, kubanga Omwoyo ge mazima.
8Kubanga abategeeza basatu, Omwoyo n'amazzi n'omusaayi; era abasatu abo bagendera wamu.
9Bwe tukkiriza okutegeeza kw'abantu, okutegeeza kwa Katonda kwe kusinga obukulu: kubanga okutegeeza kwa Katonda kwe kuno nti ategeezezza eby'Omwana we.
10Akkiriza Omwana wa Katonda alina okutegeeza mu ye; atakkiriza Katonda ng'amufudde mulimba; kubanga takkiriza kutegeeza Katonda kw'ategeezezza eby'Omwana we.
11Era okutegeeza kwe kuno nti Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu Mwana we.
12Alina Omwana alina obulamu; atalina Mwana wa Katonda talina bulamu.
13Ebyo mbiwandiikidde mmwe, mumanye nga mulina obulamu obutaggwaawo, mmwe abakkiriza erinnya ly'Omwana wa Katonda.
14Era buno bwe bugumu bwe tulina eri ye, nti bwe tusaba ekintu nga bw'ayagala, atuwulira:
15era bwe tumanya ng'atuwulira buli kye tusaba, tumanyi nga tulina ebyo bye tumusabye.
16Omuntu yenna bw'alabanga muganda we ng'akola ekibi ekitali kya kufa, anaasabanga, ne Katonda anaamuweeranga obulamu abo abakola ekibi ekitali kya kufa. Waliwo ekibi eky'okufa: ekyo si kye njogerako okukyegayiririranga
17Buli ekitali kya butuukirivu kibi: era waliwo ekibi ekitali kya kufa.
18Tumanyi nga buli muntu yenna eyazaalibwa Katonda takola kibi; naye eyazaalibwa Katonda amukuuma, omubi n'atamukomako.
19Tumanyi nga tuli ba Katonda, n'ensi yonna eri mu bubi.
20Era tumanyi nga Omwana wa Katonda yajja n'atuwa amagezi n'okutegeera tutegeera ow'amazima, era tuli mu oyo ow'amazima, mu Mwana we Yesu Kristo. Oyo ye Katonda ow'amazima, n'obulamu obutaggwaawo.
21Abaana abato, mwekuumenga ebifaananyi.