Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
34 verses
1Awo kabaka Sulemaani n'aba kabaka wa Isiraeri yenna.
2Era bano be bakulu be yalina; Azaliya nutabani wa Zadooki, kabona;
3Erikolefu ne Akiya, batabani ba Sisa, abawandiisi; Yekosafaati mutabani wa Akirudi, omujjukiza;
4ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'eggye; ne Zadooki ne Abiyasaali be baali bakabona;
5ne Azaliya mutabani wa Nasani ye yali omukulu w'abaami; ne Zabudi mutabani wa Nasani ye yali kabona, mukwano gwa kabaka;
6ne Akisaali ye yali saabakaaki; ne Adoniraamu mutabani wa Abuda ye yali omusolooza.
7Era Sulemaani yalina abaami kkumi na babiri abaakulira Isiraeri yenna, abaalabiranga kabaka n'ab'omu nnyumba ye ebyokulya: buli muntu kyamugwanira okusolooleza omwezi gumu buli mwaka.
8Ne gano ge mannya gaabwe: Benikuli, mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu:
9Benidekeri, mu Makazi, ne mu Saalubinu ne mu Besusemesi ne mu Eronubesukanani:
10Benikesedi, mu Alubbosi; Soko kyali kikye, n'ensi yonna ey'e Kefera:
11Beniyabiyadabu, mu kifo kyonna ekigulumivu eky'e Doli; ye yafumbirwa Tafasi muwala wa Sulemaani:
12Baana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, n'e Besuseyani ekiri ku mabbali g'e Zalesani, wansi w’e Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola, okuyita ku Yokumeyamu:
13Benigeberi, mu Lamosugireyaadi; ebibuga bya Yayiri mutabani wa Manase ebiri mu Gireyaadi byali bibye; essaza Alugobu eriri mu Basani lyali lirye, ebibuga ebinene nkaaga ebyalina bbugwe n'ebisiba eby'ebikomo:
14Akinadaabu mutabani wa Iddo, mu Makanayimu:
15Akimaazi, mu Nafutaali; naye yafumbirwa Basemasi muwala wa Sulemaani:
16Baana mutabani wa Kusaayi, mu Aseri ne mu Beyaloosi:
17Yekosafaati mutabani wa Paluwa, mu Isakaali:
18Simeeyi mutabani wa Era, mu Benyamini:
19Geberi mutabani wa Uli, mu nsi ya Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w'Abamoli ne Ogi kabaka w'e Basani; naye yali omwami yekka eyali mu nsi.
20Yuda ne Isiraeri baali bangi, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja obungi, nga balya era nga banywa era nga basanyuka.
21Awo Sulemaani n'afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga okutuuka ku nsi ey'Abafirisuuti, n'okutuuka ku nsalo ey'e Misiri: baaleetanga ebirabo, ne baweereza Sulemaani ennaku zonna ez'obulamu bwe.
22Awo eby'oku lunaku olumu bye baasoloolezanga Sulemaani byali ebigero eby'obutta obulungi amakumi asatu, n'ebigero eby'obutta nkaaga;
23ente eza ssava kkumi, n'ente ezaava mu ddundiro amakumi abiri, n'endiga kikumi, obutassaako njaza na mpeewo na nnangaazi na nkoko ze baasavuwazanga.
24Kubanga yafuganga ensi yonna eri emitala w'eno w'Omugga, okuva e Tifusa okutuuka e Gaaza, ng'afuga bakabaka bonna abaali emitala w'eno w'Omugga: era yalina emirembe enjuyi zonna okumwetooloola.
25Yuda ne Isiraeri yenna ne batuula mirembe, buli muntu wansi w'omuzabbibu gwe n'omutiini gwe, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba, emirembe gyonna egya Sulemaani.
26Era Sulemaani yalina ebisibo by'embalaasi obukumi buna olw'amagaali ge; n'abasajja abeebagala embalaasi kakumi mu enkumi bbiri.
27Abaami abo ne balabiranga kabaka Sulemaani n'abo bonna abajja ku mmeeza ya kabaka Sulemaani ebyokulya, buli muntu mu mwezi gwe: tebaaganyanga kintu kyonna kubulawo.
28Era baaleetanga ne sayiri n'essubi olw'embalaasi n'ensolo ez'embiro mu kifo abaami gye bali, buli muntu ng'omulimu bwe gwali gwe yalagirwa.
29Katonda n'awa Sulemaani amagezi n'okutegeera kungi nnyo, n'omwoyo omukulu, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja.
30Amagezi ga Sulemaani ne gakira amagezi gonna ag'abaana b'ebuvanjuba, n'amagezi gonna ag'e Misiri.
31Kubanga yakira abantu bonna amagezi; yakira Esani Omwezulaki ne Kemani ne Kalukoli ne Daluda, batabani ba Makoli: erinnya lye ne lyatiikirira mu mawanga gonna ageetoolodde.
32N'ayogera engero enkumi ssatu: n'ennyimba ze zaali lukumi mu ttaano.
33N'ayogera ku miti, okuva ku muvule oguli ku Lebanooni okutuuka ku ezobu amera ku bbugwe: yayogera ne ku nsolo n'ennyonyi n'ebyewalula n'ebyennyanja.
34Awo ne wajja ku mawanga gonna okuwulira amagezi ga Sulemaani, nga bava eri bakabaka bonna ab'ensi, abaali bawulidde ku magezi ge.