Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
66 verses
1Awo Sulemaani n'akuŋŋaanya abakadde ba Isiraeri n'emitwe gyonna egy'ebika, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana ba Isiraeri, eri kabaka Sulemaani e Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama nga bagiggya mu kibuga kya Dawudi, Sayuuni.
2Abasajja bonna aba Isiraeri ne bakuŋŋaanira eri kabaka Sulemaani ku mbaga, mu mwezi Esanimu, gwe mwezi ogw'omusanvu.
3Abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja, bakabona ne basitula essanduuko.
4Ne balinnyisa essanduuko ya Mukama, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu Weema; ebyo bakabona n'Abaleevi bye baalinnyisa.
5Kabaka Sulemaani n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde gy'ali baali wamu naye mu maaso g'essanduuko, nga bawaayo endiga n'ente ezitabalika newakubadde okugattika olw'obungi.
6Bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, awayimibwa mu nnyumba okwogera, mu kifo ekitukuvu ennyo, wansi w'ebiwawaatiro bya bakerubi.
7Kubanga bakerubi baabamba ebiwawaatiro byabwe ku kifo ky'essanduuko, bakerubi ne babikka ku ssanduuko n'emisituliro gyayo waggulu.
8Era emisituliro gyali miwanvu bwe gityo emisa gy'emisituliro n'okulaba n'agiraba ayima mu kifo ekitukuvu mu maaso g'awayimibwa okwogera; naye ayima ebweru nga tagiraba: era giri eyo ne leero.
9Tewaali kintu mu ssanduuko wabula ebipande byombi eby'amayinja Musa bye yateekamu ku Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n'abaana ba Isiraeri, bwe baava mu nsi y'e Misiri.
10Awo olwatuuka bakabona bwe baamala okuva mu kifo ekitukuvu, ekire ne kijjuza ennyumba ya Mukama,
11bakabona n'okuyinza ne batayinza kuyimirira okuweereza olw'ekire: kubanga ekitiibwa kya Mukama nga kijjuzizza ennyumba ya Mukama.
12Awo Sulemaani n'agamba nti Mukama yayogera ng'anaabeeranga mu kizikiza ekikutte.
13Mazima nkuzimbidde ennyumba ey'okubeerangamu, ekifo ky'onootuulangamu emirembe gyonna.
14Awo kabaka n'akyusa amaaso ge, n'asabira ekibiina kyonna ekya Isiraeri omukisa; ekibiina kyonna ekya Isiraeri ne kiyimirira.
15N'ayogera nti Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isiraeri, eyayogera n'akamwa ke ne Dawudi kitange, n'okutuukiriza akituukirizza n'omukono gwe, ng'ayogera nti
16Okuva ku lunaku lwe nnaggirako abantu bange Isiraeri mu Misiri, seerobozanga kibuga kyonna mu bika byonna ebya Isiraeri okuzimba ennyumba, erinnya lyange libeerenga omwo; naye neeroboza Dawudi okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri.
17Era kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimba ennyumba olw'erinnya lya Mukama, Katonda wa Isiraeri.
18Naye Mukama n'agamba Dawudi kitange nti Kubanga kyali mu mutima gwo okuzimba ennyumba olw'erinnya lyange, wakola bulungi kubanga kyali mu mutima gwo:
19era naye tolizimba nnyumba; naye mutabani wo aliva mu ntumbwe zo, oyo ye alizimba ennyumba olw'erinnya lyange.
20Era Mukama anywezezza ekigambo kye kye yayogera; kubanga nze nnyimukidde mu kifo kya Dawudi kitange, nga ntudde ku ntebe ya Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbye ennyumba olw'erinnya lya Mukama, Katonda wa Isiraeri.
21Era ngeze omwo ekifo eky'essanduuko; omuli endagaano ya Mukama, gye yalagaana ne bajjajjaffe, bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri.
22Sulemaani n'ayimirira mu maaso g'ekyoto kya Mukama ekibiina kyonna ekya Isiraeri nga weebali, n'ayanjuluza emikono gye eri eggulu:
23n'ayogera nti Ai Mukama, Katonda wa Isiraeri, tewali katonda akufaanana ggwe, mu ggulu waggulu newakubadde ku nsi wansi; akwata endagaano n'okusaasira eri abaddu bo, abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna:
24eyakwata ekyo kye wamusuubiza eri omuddu wo Dawudi kitange: weewaawo, wayogera n'akamwa ko, n'okutuukiriza okituukirizza n'omukono gwo, nga bwe kiri leero.
25Kale nno, ai Mukama, Katonda wa Isiraeri, kwata ekyo kye wasuubiza eri omuddu wo Dawudi kitange ng'oyogera nti Tewaakubulenga musajja mu maaso gange ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri; kyokka abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe okutambuliranga mu maaso gange, nga ggwe bwe watambuliranga mu maaso gange.
26Kale nno; ai Katonda wa Isiraeri, ekigambo kyo kituukirizibwe, nkwegayiridde, kye wagamba omuddu wo Dawudi kitange.
27Naye Katonda anaabeeranga ku nsi mazima ddala? laba, eggulu n'eggulu ly'eggulu teriyinza kukugyamu: kale ennyumba eno gye nzimbye nga teriyinza n'akatono!
28Naye ssaayo omwoyo gwo eri okusaba kw'omuddu wo, n'eri okwegayirira kwe, ai Mukama Katonda wange, okuwulira okukaaba n'okusaba omuddu wo kw'asabira mu maaso go leero;
29amaaso go gazibukenga eri ennyumba eno emisana n'ekiro, eri ekifo kye wayogerako nti Erinnya lyange linaabeeranga omwo: okuwulira okusaba omuddu wo kw'anaasabanga ng'atunuulira ekifo kino.
30Era wulira ggwe okwegayirira kw'omuddu wo, n'abantu bo Isiraeri, bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino: weewaawo, wulira ggwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeerangamu; era bw'owulira sonyiwa.
31Omuntu bw'anaayonoonanga munne, ne bamussaako ekirayiro okumulayiza, n'ajja n'alayirira mu maaso g'ekyoto kyo mu nnyumba eno;
32kale owuliranga ng'oyima mu ggulu, okole osalire abaddu bo omusango, okusinga ababi okuleeta ekkubo lye ku mutwe gwe ye; era ng'owa abatuukirivu obutuukirivu, okumuwa ng'obutuukirivu bwe bwe buli.
33Abantu bo Isiraeri bwe banaakubibwanga ne bagwa wansi mu maaso g'abalabe, kubanga bakwonoonye; bwe banaakukyukiranga nate ne baatula erinnya lyo ne basaba ne bakwegayirira mu nnyumba eno:
34kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwe ekibi ky'abantu bo Isiraeri, obakomyewo mu nsi gye wawa bajjajjaabwe.
35Eggulu bwe linaggalwangawo, so nga tewali nkuba, kubanga bakwonoonye; bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, bw'obabonyaabonyanga;
36kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu osonyiwe ekibi ky'abaddu bo n'abantu bo Isiraeri, bw'obayigiriza ekkubo eddungi lye baba batambuliramu; oweereze enkuba ku nsi yo gye wawa abantu bo okuba obusika.
37Bwe wanaabanga mu nsi enjala, bwe wanaabanga kawumpuli, bwe wanaabanga okugengewala oba bukuku, enzige oba kawuka; abalabe baabwe bwe banaabazingizanga mu nsi ey'ebibuga byabwe; kawumpuli ne bw'anaafaanananga atya, n'endwadde ne bw'eneefaanananga etya;
38kyonna kyonna omuntu yenna ky'anaasabanga era kyonna ky'aneegayiriranga, oba abantu bo bonna Isiraeri, abalimanya buli muntu endwadde ey'omu mutima gwe ye, n'ayanjuluza emikono gye eri ennyumba eno:
39kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeerangamu osonyiwe okole osasule buli muntu ng'amakubo ge gonna bwe gali, gw'omanyiiko omutima gwe; (kubanga ggwe, ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abaana b'abantu bonna:)
40balyoke bakutye ennaku zonna ze banaamalanga mu nsi gye wawa bajjajjaffe.
41Era eby'omunnaggwanga atali wa mu bantu bo Isiraeri, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala olw'erinnya lyo;
42(kubanga baliwulira eby'erinnya lyo ekkulu n'engalo zo ez'amaanyi n'omukono gwo ogwagololwa;) bw'anajjanga n'asaba ng'atunuulira ennyumba eno;
43owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeerangamu okole nga byonna bwe biri omunnaggwanga by'akukaabira; amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, okukutya ng'abantu bo Isiraeri bwe bakutya, era bamanye ng'ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa erinnya lyo.
44Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe mu kkubo lyonna ly'onoobatumanga ne basaba Mukama nga batunuulira ekibuga kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo:
45kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe owoze ensonga yaabwe.
46Bwe banaakwonoonanga (kubanga tewali muntu atayonoonanga) n'obasunguwalira n'obagabula eri abalabe n'okutwala ne babatwala nga basibe mu nsi ey'abalabe oba wala oba kumpi;
47naye bwe banajjuukiriranga mu nsi gye baatwalibwa nga basibe ne bakyuka ne bakwegayiririra mu nsi y'abo abaabatwala nga basibe nga boogera nti Twayonoona ne tukola eby'obubambaavu, twagira ekyejo;
48bwe banaakomangawo gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna mu nsi y'abalabe baabwe abaabatwala nga basibe, ne bakusaba nga batunuulira ensi yaabwe gye wawa bajjajjaabwe, ekibuga kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo;
49kale owuliranga ggwe okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeerangamu owoze ensonga yaabwe;
50osonyiwe abantu bo abakwonoonye n'okusobya kwabwe kwonna kwe bakusobya; obawe okusaasirwa mu maaso g'abo abaabatwala nga basibe, babasaasire:
51kubanga be bantu bo era bwe busika bwo bwe waggya mu Misiri, wakati mu kikoomi eky'ekyuma;
52amaaso go gazibukenga eri okwegayirira kw'omuddu wo n'eri okwegayirira kw'abantu bo Isiraeri okubawuliranga buli bwe banaakukaabiranga.
53Kubanga wabaawula mu mawanga gonna ag'oku nsi okuba obusika bwo, nga bwe wayogera n'omukono gwa Musa omuddu wo, bwe waggya bajjajjaffe mu Misiri, ai Mukama Katonda.
54Awo olwatuuka Sulemaani bwe yamala okusaba ebyo byonna n'okwegayirira eri Mukama, n'agolokoka n'ava mu maaso g'ekyoto kya Mukama n'ava ku maviivi ge ge yali afukamiddeko, ng'ayanjuluzizza engalo ze eri eggulu.
55N'ayimirira n'asabira ekibiina kyonna ekya Isiraeri omukisa n'eddoboozi ddene ng'ayogera nti
56Mukama yeebazibwe awadde abantu be Isiraeri okuwummula, nga byonna bwe biri bye yasuubiza; tewali kigambo na kimu kibuze ku birungi bye yasuubiza n'omukono gwa Musa omuddu we.
57Mukama Katonda waffe abeerenga naffe nga bwe yabanga ne bajjajjaffe; aleme okutuleka newakubadde okutwabulira:
58alyoke akyuse emitima gyaffe gy'ali okutambuliranga mu makubo ge gonna n'okukwatanga ebiragiro bye n'amateeka ge n'emisango gye bye yalagira bajjajjaffe.
59N'ebigambo byange bino bye nneegayiridde mu maaso ga Mukama bibeerenga kumpi Mukama Katonda waffe emisana n'ekiro, awoze ensonga y'omuddu we n'ensonga y'abantu be Isiraeri, nga buli lunaku bwe lunaayagalanga:
60amawanga gonna ag'oku nsi bamanye nga Mukama ye Katonda; tewali mulala.
61Kale omutima gwammwe gube mutuukirivu eri Mukama Katonda waffe okutambuliranga mu mateeka ge n'okukwatanga ebiragiro bye nga leero.
62Awo kabaka ne Isiraeri yenna wamu naye ne bawaayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama.
63Sulemaani n'awaayo okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe gye yawaayo eri Mukama ente obukumi bubiri mu enkumi bbiri n'endiga kasiriivu mu obukumi bubiri. Bwe batyo kabaka n'abaana ba Isiraeri bonna ne bawonga ennyumba ya Mukama.
64Ku lunaku olwo kabaka kwe yatukuliza wakati w'oluggya olwali mu maaso g'ennyumba ya Mukama; kubanga eyo gye yaweerayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta n'amasavu g'ebyo ebiweebwayo olw'emirembe; kubanga ekyoto eky'ekikomo ekyali mu maaso ga Mukama kyali kiyinze obutono ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta n'amasavu g'ebiweebwayo olw'emirembe ne bitagyako.
65Awo Sulemaani n'afumba embaga eyo mu biro ebyo ne Isiraeri yenna wamu naye, ekibiina ekinene, okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga ak'e Misiri, mu maaso ga Mukama Katonda waffe, ennaku omusanvu n'ennaku omusanvu, ze nnaku ekkumi n'ennya.
66Ku lunaku olw'omunaana n'asindika abantu, ne basabira kabaka omukisa, ne bagenda mu weema zaabwe nga basanyuka era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw'obulungi bwonna Mukama bwe yali alaze Dawudi omuddu we ne Isiraeri abantu be.