Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
14 verses
1Kale mbuulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe era omutegeeza w'ebibonoobono bya Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulibwa:
2mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, nga mukirabirira si lwa maanyi naye lwa kwagala, nga Katonda bw'ayagala so si lwa kwegombanga amagoba mu bukuusa, naye lwa mwoyo;
3so si ng'abeefuula abaami b'ebyo bye mwateresebwa, naye nga mubeeranga byakulabirako eri ekisibo:
4Era Omusumba omukulu bw'alirabisibwa, muliweebwa engule ey'ekitiibwa etewotoka.
5Bwe mutyo, abavubuka, mugonderenga abakadde. Era mwenna mwesibenga obuwombeefu, okuweerezagananga mwekka na mwekka: kubanga Katonda aziyiza ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa.
6Kale mwewombeekenga wansi w'omukono ogw'amaanyi ogwa Katonda, alyoke abagulumize ng'obudde butuuse;
7nga mumusindiikiririzanga ye okweraliikirira kwammwe kwonna, kubanga ye ateeka ku mwoyo ebigambo byammwe.
8Mutamiirukukenga, mutunulenga; omulabe wammwe Setaani atambulatambula, ng'empologoma ewuluguma, ng'anoonya gw'anaalya.
9oyo mumuziyizenga nga muli banywevu mu kukkiriza kwammwe, nga mumanyi ng'ebibonoobono ebyo bituukirira eri baganda bammwe abali mu nsi.
10Era Katonda ow'ekisa kyonna, eyabayitira ekitiibwa kye ekitaggwaawo mu Kristo, bwe mulimala okubonyaabonyezebwako akaseera akatono, ye yennyini alibatuukiriza, alibanyweza, alibawa amaanyi.
11Oyo aweebwenga obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.
12Mbaweerezza ebbaluwa mu mikono gya Sirwano ow'oluganda omwesigwa, nga bwe ndowooza, ey'ebigambo ebitono, nga mbabuulirira, ne mbategeeza ng'ekyo kye kisa eky'amazima ekya Katonda; mukinywererengamu.
13Omukyala ali mu Babbulooni mulonde munnammwe abalamusizza; ne Makko omwana wange.
14Mulamusagane n'okunywegera okw'okwagala. Emirembe gibeerenga nammwe mwenna abali mu Kristo.