Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
13 verses
1Awo Abafirisuuti ne balwana ne Isiraeri: abasajja ba Isiraeri ne badduka mu maaso g'Abafirisuuti, ne bagwa nga battiddwa ku lusozi Girubowa.
2Abafirisuuti ne bacocca Sawulo ne batabani be; Abafirisuuti ne batta Yonasaani ne Abinadaabu ne Malukisuwa, batabani ba Sawulo.
3Olutalo ne lumuba bubi Sawulo, abalasi ne bamutuukako; ne yeeraliikirira nnyo olw'abalasi.
4Awo Sawulo n'agamba oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Sowola ekitala kyo onfumitire ddala nakyo; abatali bakomole abo baleme okujja ne banfumita ne banswaza. Naye eyatwalanga ebyokulwanyisa bye n'agaana; kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava addira ekitala kye n'akigwako.
5Awo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye bwe yalaba Sawulo ng'afudde, era naye n'agwa ku kitala kye n'afiira wamu naye.
6Sawulo n'afa bw'atyo, ne batabani be bonsatule, n'oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye, n'abasajja be bonna, ku lunaku olwo wamu.
7Awo abasajja ba Isiraeri abaali emitala w'ekiwonvu n’abo abaali emitala wa Yoludaani bwe baalaba abasajja ba Isiraeri nga badduse, ne Sawulo ne batabani be nga bafudde, awo ne baleka ebibuga ne badduka; Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.
8Awo olwatuuka enkya Abafirisuuti bwe bajja okunyaga abafu, ne basanga Sawulo ne batabani be bonsatule nga bagudde ku lusozi Girubowa.
9Ne bamusalako omutwe, ne bamuggyako ebyokulwanyisa bye, ne batuma mu nsi ey'Abafirisuuti enjuyi zonna, okubuulira ebigambo ebyo mu masabo omwali ebifaananyi byabwe ne mu bantu.
10Ne bateeka ebyokulwanyisa bye mu nnyumba ya Baasutaloosi: ne basiba omulambo gwe ku bbugwe ow'e Besusani.
11Awo ab'e Yabesugireyaadi bwe baamuwulirako ekyo Abafirisuuti kye baakola Sawulo,
12awo abazira bonna ne bagolokoka ne batambula ne bakeesa obudde ne baggya omulambo gwa Sawulo n'emirambo gya batabani be ku bbugwe w'e Besusani, ne bajja e Yabesi ne bagyokera eyo.
13Ne baddira amagumba gaabwe, ne bagaziika wansi w'omumyuliru e Yabesi ne basiibira ennaku musanvu.