Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
22 verses
1Awo olwatuuka, Samwiri ng'akaddiye, n'afuula batabani be abalamuzi ba Isiraeri.
2N'omubereberye erinnya lye Yoweeri; n'ow'okubiri erinnya lye Abiya: baali balamuzi mu Beeruseba.
3Batabani be ne batatambulira mu makubo ge, naye ne bakyama okugoberera ebintu, ne balya enguzi, ne balya ensonga.
4Awo abakadde ba Isiraeri bonna ne balyoka bakuŋŋaana ne bajja eri Samwiri e Laama:
5ne bamugamba nti Laba, ggwe oli mukadde, ne batabani bo tebatambulira mu makubo go: kale tukolere kabaka atulamulenga ng'amawanga gonna.
6Naye ekigambo ekyo ne kinyiiza Samwiri, bwe baayogera nti Tuwe kabaka atulamulenga. Samwiri n'asaba Mukama.
7Mukama n'agamba Samwiri nti Wulira eddoboozi ly'abantu mu byonna bye bakugamba: kubanga tebakugaanyi ggwe, naye bagaanyi nze, nneme okuba kabaka waabwe.
8Ng'emirimu gyonna bwe giri gye baakakola okuva ku lunaku lwe nnabaggya mu Misiri okutuusa leero, kubanga bandeka ne baweereza bakatonda abalala, naawe bwe baakukola bwe batyo.
9Kale nno kaakano wulira eddoboozi lyabwe: naye onoobategeereza ddala n'obalaga kabaka bw'alifaanana alibafuga.
10Awo Samwiri n'abuulira abantu abaamusaba kabaka ebigambo bya Mukama byonna.
11N'ayogera nti Bw'ati bw'alifaanana kabaka alibafuga: alitwala batabani bammwe n'abeewandiikira olw'amagaali ge era okuba abasajja be abeebagala embalaasi; awo banaddukiranga mu maaso g'amagaali ge:
12era alibeewandiikira okuba abaami b'enkumi n’abaami b'ataano; era alissaawo abamu okulima ensi ye n'okukungula ebikungulwa bye, n'okuweesa ebintu bye ebyokulwanyisa n'ebintu eby'omu magaali ge.
13Era alitwala bawala bammwe okufumbanga eby'akaloosa era okuba abafumbiro era okuba abasiisi.
14Era alitwala ennimiro zammwe n'ensuku zammwe ez'emizabibu n'ez'emizeyituuni, ezisinga obulungi, n'aziwa abaddu be.
15Era alitwala ekitundu eky'ekkumi eky'ensigo zammwe n'eky'ensuku zammwe ez'emizabibu n'agabira abaami be n'abaddu be.
16Era alitwala abaddu bammwe n'abazaana bammwe n'abalenzi bammwe abasinga obulungi n'endogoyi zammwe n'abakoza emirimu gye.
17Alitwala ekitundu eky'ekkumi eky'endiga zammwe: era muliba baddu be.
18Era mulikaaba ku lunaku olwo olwa kabaka wammwe gwe muliba mwerondedde; so Mukama talibaddiramu ku lunaku olwo.
19Naye abantu ne bagaana okuwulira eddoboozi lya Samwiri; ne boogera nti Nedda; naye twagala kabaka atufuge;
20naffe tufaanane ng'amawanga gonna; kabaka waffe atusalirenga emisango, atabaalenga ng'atukulembedde atulwanirirenga entalo zaffe.
21Samwiri n'awulira ebigambo byonna eby'abantu, n'abyogera mu matu ga Mukama.
22Awo Mukama n'agamba Samwiri nti Wulira eddoboozi lyabwe obakolere kabaka. Samwiri n'agamba abasajja ba Isiraeri nti Muddeeyo buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe.