Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
16 verses
1Naye Omwoyo ayogera lwatu nti mu nnaku ez'oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bawulira emyoyo egikyamya n'okuyigiriza kwa basetaani,
2olw'obunnanfuusi bw'abalimba, nga bookebwa emyoyo gyabwe nga n'ekyuma ekyokya,
3nga bawera okufumbiriganwanga era nga balagira okulekanga ebiriibwa, Katonda bye yatonda biriirwenga mu kwebaza abakkiriza ne bategeerera ddala amazima.
4Kubanga buli kitonde kya Katonda kirungi, so siwali kya kusuula bwe kitoolebwa n'okwebaza:
5kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda n'okusaba.
6Bw'onojjukizanga ab'oluganda ebyo, onoobaaga muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng'okulira mu bigambo eby'okukkiriza n'eby'okuyigiriza okulungi kwe wagoberera:
7naye enfumo ezitali za ddiini ez'obusirusiru z'oba olekanga. Weemanyiizenga okutya Katonda:
8kubanga okwemanyiiza kw'omubiri kugasa akaseera katono; naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kulina okusuubiza kw'obulamu obwa kaakano n'obw'obugenda okujja.
9Ekigambo ekyo kyesigwa era ekisaanira okukkirizibwa kwonna.
10Kubanga kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga twasuubira Katonda omulamu, Omulokozi w'abantu bonna, okusinga w'abakkiriza,
11Lagiranga ebyo obiyigirizenga,
12Omuntu yenna takunyoomanga lwa buvubuka bwo; naye beeranga kya kulabirako eri abo abakkiriza mu kwogeranga, mu kutambulanga: mu kwagalanga, mu kukkirizanga, mu kubanga omulongoofu.
13Okutuusa lwe ndijja, nyiikiranga mu kusoma, n'okubuuliriranga, n'okuyigirizanga.
14Tolekanga kirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa olw'obunnabbi awamu n'okuteekebwako emikono gy'abakadde.
15Ebyo obirowoozenga, obeerenga mu ebyo; okuyitirira kwo kulabikenga eri bonna.
16Weekuumenga wekka n'okuyigiriza kwo. Nyiikiriranga mu ebyo; kubanga bw'okola bw'otyo, olyerokola wekka era n'abo abakuwulira.