Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
1Abali mu bufuge abaddu balowoozenga bakama baabwe bennyini nga basaanidde ekitiibwa kyonna, erinnya lya Katonda n'okuyigiriza kwaffe biremenga okuvumibwa.
2Era abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, kubanga ba luganda; naye beeyongere okubaweerezanga, kubanga abassa ekimu mu kukolwa obulungi bakkiriza era baagalwa. Yigirizanga ebyo obibuulirirenga.
3Omuntu yenna bw'ayigirizanga obulala, so nga takkiriza bigambo bya bulamu, bye bya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okuyigiriza okugobereranga okutya Katonda;
4nga yeekulumbaza, nga taliiko ky'ategeera, wabula okukalambiza obukalambiza empaka n'entalo ez'ebigambo, omuva obuggya, okuyomba, okuvuma, okuteerera obubi,
5okukaayana kw'abantu abayonooneka amagezi, abaggibwako amazima, nga balowooza ng'okutya Katonda kwe kufuna amagoba.
6Naye okutya Katonda wamu n'obutayaayaananga ge magoba amangi:
7kubanga tetwaleeta kintu mu nsi, kubanga era tetuyinza kuggyamu kintu;
8naye bwe tuba n’emmere n'ebyokwambala, ebyo binaatumalanga.
9Naye abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n'okwegomba okungi okw'obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n'okuzikirira.
10Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky'ebibi byonna: waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n'ennaku ennyingi.
11Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebyo, ogobererenga obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, obuwombeefu.
12Lwananga okulwana okulungi okw'okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo, bwe wayitirwa, n'oyatula okwatula okulungi mu maaso g'abajulirwa abangi.
13Nkukuutirira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne Kristo Yesu eyategeeza okwatula okulungi eri Pontio Piraato;
14weekuumenga ekiragiro awatali bbala, awatali kya kunenyezebwa, okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo:
15kw'aliraga mu ntuuko zaakwo Nannyini buyinza yekka atenderezebwa, Kabaka wa bakabaka, era Mukama w'abaami;
16alina obutafa yekka, atuula mu kutangaala okutasemberekeka; omuntu yenna gw'atalabangako, so siwali ayinza okumulaba: aweebwenga ekitiibwa n'obuyinza obutaggwaawo. Amiina.
17Okuutirenga abagagga ab'omu mirembe gya kaakano obuteegulumizanga, newakubadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula Katonda, atuwa byonna olw'obugagga tulyoke twesanyusenga n'ebyo;
18bakolenga obulungi, babeerenga abagagga mu bikolwa ebirungi, babeerenga bagabi, bassenga kimu;
19nga beeterekera eky'okuyimako ekirungi olw'ebiro ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu ddala ddala.
20Ai Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa, nga weewala ebigambo ebitaliimu ebitali bya Katonda n'okulwana kw'ebigambo eby'okutegeera, okuyitibwa bwe kutyo mu bulimba;
21waliwo abantu abeegomba okuba nakwo, ne bakyama mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe.