Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
14 verses
1Awo mu mwaka ogw'asatu mu mukaaga ogw'okufuga kwa Asa, Baasa kabaka wa Isiraeri n'atabaala Yuda, n'azimba Laama obutaganya muntu kufuluma newakubadde okuyingira eri Asa kabaka wa Yuda.
2Awo Asa n'aggya effeeza n'ezaabu mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'omu nnyumba ya kabaka, n'atumira Benikadadi kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, ng'ayogera nti
3Waliwo endagaano eri nze naawe, nga bwe yali eri kitange ne kitaawo: laba, nkuweerezza ffeeza n'ezaabu: genda omenye endagaano yo eri Baasa kabaka wa Isiraeri anveeko.
4Awo Benikadadi n'awulira kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri; ne bakuba Iyoni ne Ddaani ne Aberumayimu n'ebibuga byonna eby'okuterekeramu ebya Nafutaali.
5Awo olwatuuka Baasa bwe yakiwulira n'aleka okuzimba Laama n'akomya omulimu gwe.
6Awo kabaka Asa n'amenya Yuda yenna; ne baggyawo amayinja ag'e Laama n'emiti gyakyo. Baasa bye yazimbya; n'abizimbya Geba ne Mizupa.
7Era mu biro ebyo Kanani omulabi n'ajja eri Asa kabaka wa Yuda n'amugamba nti Kubanga weesiga kabaka w'e Busuuli n'oteesiga Mukama Katonda wo, eggye lya kabaka w'e Busuuli kye livudde liwona mu mukono gwo.
8Abaesiyopya n'Abalubimu tebaali ggye ddene kitalo, nga baalina amagaali n'abeebagala embalaasi bangi nnyo nnyini? naye kubanga weesiga Mukama, yabagabula mu mukono gwo.
9Kubanga amaaso ga Mukama gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw'ali ow'amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy'ali. Mu kino okoze eky'obusirusiru; olw'ekyo okuva leero ojja kubanga n'entalo.
10Awo Asa n'alyoka asunguwalira omulabi, n'amuteeka mu nju ey'ekkomera; kubanga yali amuliko ekiruyi olw'ekigambo ekyo. Asa n'ajooga abamu ku bantu mu biro ebyo.
11Era, laba, ebikolwa bya Asa ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.
12Ne mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwenda ogw'okufuga kwe Asa n'alwala ebigere; endwadde ye n'enyiikira nnyo: naye bwe yalwala n'atagenda eri Mukama naye eri abasawo.
13Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'afiira mu mwaka ogw'ana mu gumu ogw'okufuga kwe.
14Ne bamuziika mu ntaana ze ye ze yeebajjira mu kibuga kya Dawudi, ne bamuteeka ku kitanda ekyajjula eby'akaloosa ebiwoomerevu n'envumbo ez'engeri nnyingi, ebyalongoosebwa n'amagezi g'abafumbi ba kalifuwa: ne bamunyookereza bingi nnyo nnyini.