Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Awo abaabeeranga mu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya omwana we omuto kabaka mu kifo kye: kubanga ekibiina ky'abasajja abajja n'Abawalabu mu lusiisira baali basse abakulu bonna. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'afuga.
2Akaziya yali yaakamaze emyaka amakumi ana mu ebiri bwe yatanula okufuga; n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye yali Asaliya muwala wa Omuli.
3Era naye n'atambulira mu makubo g'ennyumba ya Akabu: kubanga nnyina ye yamuweereranga okukola obubi.
4N'akolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga abo be baamuweereranga, kitaawe ng'amaze okufa, okumuzikiriza.
5Era yatambulanga ng'okuteesa kwabwe bwe kwali n'agenda ne Yekolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri okulwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi: Abasuuli ne bafumita Yolaamu ekiwundu.
6Awo n'akomawo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu bye baamufumitira e Laama bwe yalwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli. Azaliya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'aserengeta okulambula Yekolaamu mutabani wa Akabu e Yezuleeri kubanga alwadde:
7Era okuzikirira kwa Akaziya kwava eri Katonda, kubanga yagenda eri Yolaamu: kubanga bwe yajja, n'agenda ne Yekolaamu eri Yeeku mutabani wa Nimusu Mukama gwe yali afuseeko amafuta okumalawo ennyumba ya Akabu.
8Awo olwatuuka Yeeku bwe yali ng'akomekkereza omusango ku nnyumba ya Akabu n'asanga abakulu ba Yuda n'abaana ba baganda ba Akaziya nga baweereza Akaziya, n'abatta.
9N'anoonya Akaziya ne bamukwata, (era yali nga yeekwese mu Samaliya,) ne bamuleeta eri Yeeku ne bamutta; ne bamuziika, kubanga baayogera nti Ye mutabani wa Yekosafaati eyanoonya Mukama n'omutima gwe gwonna. Ennyumba ya Akaziya n'eteba na maanyi okunyweeza obwakabaka.
10Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba omwana we ng'afudde, n’agolokoka n'azikiriza ezzadde lyonna erya kabaka ery'ennyumba ya Yuda.
11Naye Yekosabeyaasi muwala wa kabaka n'atwala Yowaasi mutabani wa Akaziya n'amubba n'amuggya mu baana ba kabaka abattibwa, n'amuteeka n'omulezi we, mu kisenge ekisulibwamu. Awo Yekosabeyaasi muwala wa kabaka Yekolaamu muka Yekoyaada kabona, (kubanga yali muganda wa Akaziya,) n'amukweka Asaliya, n'atamutta.
12Awo n'abeera naye ng'akwekeddwa mu nnyumba ya Mukama n'amala emyaka mukaaga: Asaliya n'afuga ensi.