Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
36 verses
1Keezeekiya yatanula okufuga nga yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano; n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Abiya muwala wa Zekkaliya.
2N'akolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali Dawudi kitaawe bye yakolanga.
3Mu mwaka ogw'olubereberye ogw'okufuga kwe mu mwezi 'ogw'olubereberye n'aggulawo enzigi z'ennyumba ya Mukama n'aziddaabiriza.
4N'ayingiza bakabona n'Abaleevi n'abakuŋŋaanyiza mu kifo ekigazi ku luuyi olw'ebuvanjuba,
5n'abagamba nti Mumpulire, mmwe Abaleevi; kaakano mwetukuze, mutukuze n'ennyumba ya Mukama Katonda wa bajjajjammwe, muggyeemu eby'obugwagwa mu kifo ekitukuvu.
6Kubanga bajjajjaffe baasobyanga ne bakolanga ebyali mu maaso ga Mukama Katonda waffe ebibi ne bamuleka ne bakyusa amaaso gaabwe okuva eri ekifo Mukama mw'abeera ne bakikuba amabega gaabwe.
7Era ne baggalawo enzigi z'ekisasi, ne bazikiza ettabaaza, so tebootezanga bubaane newakubadde okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa' mu kifo ekitukuvu eri Katonda wa Isiraeri.
8Obusungu bwa Mukama kyebwavanga bubeera ku Yuda ne Yerusaalemi, era abawaddeyo okubayuuganya eruuyi n'eruuyi, okusamaalirirwa n'okusoozebwa, nga bwe mulaba n'amaaso gammwe.
9Kubanga, laba, bakitaffe baagwa n'ekitala ne batabani baffe ne bawala baffe ne bakazi baffe kyebaava babeera mu busibe.
10Era kiri mu mutima gwange okulagaana endagaano ne Mukama Katonda wa Isiraeri, ekiruyi kye ekikambwe kikyuke kituveeko.
11Baana bange, temutenguwanga nno: kubanga Mukama abalonze okuyimiriranga mu maaso ge okumuweerezanga, era mubeerenga abaweereza be, mwotezenga obubaane.
12Awo Abaleevi ne balyoka bagolokoka, Makasi mutabani wa Amasayi, ne Yoweeri mutabani wa Azaliya, ab'oku baana ba Bakokasi: n'ab'oku baana ba Merali, Kiisi mutabani wa Abudi, ne Azaliya mutabani wa Yekalereri: n'ab'oku Bagerusoni, Yowa mutabani wa Zimma, ne Edeni mutabani wa Yowa:
13n'ab'oku baana ba Erizafani, Simuli ne Yeweri: n'ab'oku baana ba Asafu, Zekkaliya ne Mattaniya
14n'ab'oku baana ba Kemani, Yekweri ne Simeeyi: n'ab'oku baana ba Yedusuni, Semaaya ne Wuziyeeri
15Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe ne beetukuza ne bayingira ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali olw'ekigambo kya Mukama, okulongoosa ennyumba ya Mukama.
16Bakabona ne bayingira mu luuyi olw'omunda olw'ennyumba ya Mukama okugirongoosa, ne baggyamu eby'obugwagwa byonna bye baalaba mu yeekaalu ya Mukama, ne babireeta mu luggya olw'ennyumba ya Mukama. Abaleevi ne babiddira okubifulumya ebweru eri akagga Kiduloni.
17Era ne basookera ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'olubereberye okutukuza, ne ku lunaku olw'omwezi olw'omunaana ne batuuka ku kisasi kya Mukama; ne batukuza ennyumba ya Mukama nu nnaku munaana: ne ku lunaku olw'ekkumi n'omukaaga olw'omwezi ogw'olubereberye ne bamalira ddala.
18Awo ne balyoka bayingira eri Keezeekiya kabaka munda w'eriyumba ne boogera nti Tumaze okulongoosa ennyumba ya Mukama yonna n'ekyoto ekiweerwako ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebintu byakyo byonna n'emmeeza ey'emigaati egy'okulaga n'ebintu byayo byonna.
19Era nate ebintu byonna kabaka Akazi bye yasuula bwe yayonoona nga ye afuga, tubitegese ne tubitukuza; era, laba, biri mu naaso g'ekyoto kya Mukama.
20Awo Keezeekiya kabaka n'agookoka mu makya, n'akuŋŋaanya abakulu b'ekibuga, n'ayambuka mu myumba ya Mukama.
21Ne baleeta ente musanvu n'endiga ennume musanvu n'abaana b'endiga musanvu n'embuzi ennume musanvu okuba ekiweebwayo olw'ekibi olw'obwakabaka n'olw'ekigwa n'olwa Yuda. N'alagira bakabona batabani ba Alooni okubiweerayo ku kyoto kya Mukama.
22Awo ne batta ente, bakabona ne batoola omusaayi, ne bagumansira ku kyoto: ne batta embuzi ennume, ne banansira omusaayi ku kyoto: ne batta n'abaana b'endiga, ne bamansira omusaayi ku kyoto.
23Ne basembeza embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi mu maaso ga kabaka n'ekibiina; ne baziteekako emikono:
24bakabona ne bazitta ne bawaayo ekiweebwayo olw'ekibi n'omusaayi gwazo ku kyoto, okutangirira Isiraeri yenna: kubanga kabaka yalagira okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo olw'ekibi olwa Isiraeri yenna.
25N'ateeka Abaleevi mu nnyumba ya Mukama nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga, ng'ekiragiro kya Dawudi bwe kyali n'ekya Gaadi omulabi wa kabaka n'ekya Nasani nnabbi: kubanga ekiragiro kyava eri Mukama mu bannabbi be.
26Abaleevi ne bayimirira nga balina ebintu bya Dawudi, ne bakabona nga balina amakondeere.
27Keezeekiya n'alagira okuweerayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. Awo ekiweebwayo ekyokebwa bwe kyatanula okuweebwayo, era n'oluyimba lwa Mukama ne lutanula, n'amakondeere wamu n'ebintu bya Dawudi kabaka wa Isiraeri.
28Awo ekibiina kyonna ne basinza abayimbi ne bayimba, n'abafuuwa amakondeere ne bafuuwa; ebyo byonna ne byeyongera okubaawo okutuusa ekiweebwayo ekyokebwa lwe kyaggwaawo.
29Awo bwe baamalira ddala okuwaayo, kabaka ne bonna abaali bali awo naye ne bavuunama ne basinza.
30Era nate Keezeekiya kabaka n'abakulu ne balagira Abaleevi okuyimba okutendereza Mukama, mu bigambo bya Dawudi n'ebya Asafu omulabi. Ne bayimba okutendereza n'essanyu ne bakoteka emitwe gyabwe ne basinza.
31Awo Keezeekiya n'addamu n'ayogera nti Kaakano nga mwewonze eri Mukama, musembere muleete ssaddaaka n'ebiweebwayo okwebaliza mu nnyumba ya Mukama. Ekibiina ne bayingiza ssaddaaka n'ebiweebwayo okwebaza; ne bonna abaalina omutima ogwagala ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa.
32N'omuwendo gw'ebiweebwayo ebyokebwa ekibiina bye baaleeta gwali ente nsanvu, endiga ennume kikumi, n'abaana b'endiga ebikumi bibiri: ebyo byonna byali bya kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
33N'ebintu ebyawongebwa byali ente lukaaga n'endiga enkumi ssatu.
34Naye bakabona ne bayinga obutono ne batayinza kubaaga ebiweebwayo ebyokebwa byonna: baganda baabwe Abaleevi kyebaava babayamba okutuusa omulimu lwe gwaggwaawo era okutuusa bakabona lwe baamala okwetukuza: kubanga Abaleevi baasinga bakabona okuba n'omutima omugolokofu okwetukuza.
35Era n'ebiweebwayo ebyokebwa byali bingi nnyo n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe n'ebiweebwayo ebyokunywa ebya buli kiweebwayo ekyokebwa. Awo okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama ne kuteekebwateekebwa bwe kutyo.
36Awo Keezeekiya n'asanyuka n'abantu bonna olw'ekyo Katonda kye yategekera abantu: kubanga ekigambo ekyo baakikolera awo mangu ago.