Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
33 verses
1Singa mungumiikiriza mu busirusiru obutono; era naye mungumiikirize.
2Kubanga mbakwatirwa obuggya bwa Katonda: kubanga nnabafumbiza bbammwe omu, ndyoke mbaleete eri Kristo nga omuwala omulongoofu.
3Naye ntidde, ng'omusota bwe gwalimbalimba Kaawa mu bukuusa bwagwo, mpozzi ebirowoozo byammwe okwonoonebwanga mu kulaba wamu ne mu bulongoofu ebiri eri Kristo.
4Kuba oyo ajja bw'abuulira Yesu omulala gwe tutaabuulira, oba bwe muweebwa omwoyo omulala gwe mutaaweebwa, oba njiri ndala, gye mutakkiriza, mukola bulungi okumugumiikiriza.
5Kubanga ndowooza nga ssisingibwa n'akatono abatume abakulu ennyo.
6Naye newakubadde nga ndi muligo mu bigambo, naye ssiri muligo mu kutegeera; naye mu byonna twakwolesa mu bantu bonna eri mmwe.
7Oba nnayonoona bwe nneetoowaza nzekka mmwe mugulumizibwe kubanga nnababuulira enjiri ya Katonda ey'obwereere?
8Nnanyaga ekkanisa endala, nga mpeebwa empeera olw'okubaweereza mmwe;
9era bwe nnabanga nammwe nga nneetaaga, ssaazitoowereranga muntu yenna; kubanga ab'oluganda bwe baava mu Makedoni, baatuukiriza ebyali bimbuze; ne mu byonna nneekuuma obutabazitoowereranga, era nneekuumanga bwe ntyo.
10Ng'amazima ga Kristo bwe gali mu nze, siwali alinziyiza okwenyumiriza okwo mu nsalo ez'e Yakaya.
11Lwaki? kubanga sibaagala? Katonda amanyi.
12Naye bwe nkola, era bwe nnaakolanga, mbaggirewo awasinziirwa abo abaagala awasinziirwa, balabike era nga ffe mu kigambo kye beenyumiririzaamu.
13Kubanga abali ng'abo be batume ab'obulimba, abakozi ab'obukuusa, abeefaananya ng'abatume ba Kristo.
14So si kya magero; kubanga ne Setaani yeefaananya nga malayika ow'omusana.
15Kale si kitalo era n'abaweereza be bwe beefaananya ng'abaweereza ab'obutuukirivu; enkomerero yaabwe eribeera ng'ebikolwa byabwe.
16Njogera nate nti Omuntu yenna aleme okundowooza nga ndi musirusiru; naye okulowooza bwe mundowooza bwe mutyo, naye munsembeze ng'omusirusiru, nange nneenyumirizeeko akatono.
17Kye njogera, sikyogera nga kigambo kya Mukama waffe, naye nga mu busirusiru, mu buvumu buno obw'okwenyumiriza.
18Kubanga bangi abeenyumiriza mu mubiri, nange nneenyumiriza.
19Kubanga mugumiikiriza n'essanyu abasirusiru, kubanga mmwe muli bagezigezi.
20Kubanga mugumiikiriza omuntu, bw'abafuula abaddu, bw'abamira, bw'abawamba, bwe yeegulumiza, bw'abakuba amaaso.
21Njogedde olw'okweswaza, ng'abanafuwala. Naye omuntu yenna ky'agumira (njogera mu busirusiru), nange nguma.
22Bo Baebbulaniya? nange. Bo Baisiraeri? nange. Bo zzadde lya Ibulayimu? nange.
23Bo baweereza ba Kristo? (njogera ng'omulalu) nze mbasinga; mu kufuba mbasukkirira, mu kusibibwa mbasukkirira, mu kukubibwa okuyingirira ennyo, mu kufa emirundi emingi.
24Eri Abayudaaya nnakubibwa emirundi etaano emiggo amakumi asatu mu mwenda.
25Emirundi esatu nnakubibwa enga, omulundi gumu nnakasuukirirwa amayinja, emirundi esatu eryato lyamenyeka, nnasula ne nsiiba mu buziba;
26mu kutambulanga emirundi emingi, mu bubi obw'emigga, mu bubi obw'abanyazi, mu bubi obuva eri eggwanga lyange, mu bubi obuva eri ab'amawanga, mu bubi obw'omu kibuga, mu bubi obw'omu ddungu, mu bubi obw'omunnyanja, mu bubi obw'ab'oluganda ab'obulimba;
27mu kufuba n'okukoowa, mu kutunulanga emirundi emingi, mu njala n'ennyonta, mu kusiibanga emirundi emingi, mu mpewo n'okubeera obwereere.
28Obutassaako bya bweru, waliwo ekinzitoowerera bulijjo bulijjo, okwerariikiriranga olw'ekkanisa zonna.
29Ani omunafu, nange bwe ssiba munafu? ani eyeesittazibwa, nange bwe ssaaka?
30Oba nga kiŋŋwanidde okwenyumiriza, nneenyumirizanga olw'eby'obunafu bwange.
31Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu, eyeebazibwa emirembe gyonna, amanyi nga ssirimba.
32Mu Ddamasiko ow’essaza owa Aleta kabaka yateega ekibuga eky'Abadamasiko, alyoke ankwate:
33ne bampisa mu ddirisa nga ndi mu kisero ku bbugwe, ne ndokoka okuva mu mikono gye.