Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
36 verses
1Awo Akabu yalina batabani be nsanvu mu Samaliya. Yeeku n'awandiika ebbaluwa n'atumira Samaliya eri abakulu b’e Yezuleeri, be bakadde, n'eri abo abaalera batabani ba Akabu ng'ayogera nti
2Kale nno ebbaluwa eno nga kyejje etuuke gye muli, kubanga abaana ba mukama wammwe bali nammwe, era mulina amagaali n'e mbalaasi, era n'ekibuga ekiriko enkomera n'ebyokulwanyisa;
3munoonye ku baana ba mukama wammwe asinga obulungi n'okusaana, mumuteeke ku ntebe ya kitaawe, mulwanirire ennyumba ya mukama wammwe.
4Naye ne batya nnyo ne boogera nti Laba, bakabaka abo ababiri tebaayimirira mu maaso ge: kale ffe tunaayimirira tutya?
5Awo omukulu w'abo mu nnyumba n'omukulu w'ekibuga, era n'abakadde n'abo abaalera abaana, ne batumira Yeeku nga boogera nti Tuli baddu bo, era tunaakola byonna by'onootulagira: tetujja kufuula muntu yenna kabaka: okolanga ekinaaba ekirungi mu maaso go.
6Awo n'abawandiikira ebbaluwa omulundi ogw'okubiri ng'ayogera nti Oba nga muli ku lwange ne mukkiriza okuwulira eddoboozi lyange, mutwale emitwe gy'abasajja batabani ba mukama wammwe, mujje gye ndi e Yezuleeri enkya bwe buliba nga kampegaano. Awo batabani ba kabaka abantu nsanvu baali n'abakulu b'ekibuga abaabalera.
7Awo olwatuuka ebbaluwa bwe yatuuka gye baali, ne batwala batabani ba kabaka ne babatta, abantu nsanvu, ne bateeka emitwe gyabwe mu bisero, ne bagimuweereza e Yezuleeri.
8Omubaka n'ajja n'amubuulira nti Baleese emitwe gya batabani ba kabaka. N'ayogera nti Mugituume entuumo bbiri awayingirirwa mu wankaaki okutuusa enkya.
9Awo olwatuuka enkya n'afuluma n'ayimirira n'agamba abantu bonna nti Mmwe muli batuukirivu: laba, neekobaana mukama wange ne mmutta: naye ani asse bano bonna?
10Mutegeere nno nga ku kigambo kya Mukama tekuligwa wansi na kimu Mukama kye yayogera ku nnyumba ya Akabu: kubanga Mukama akoze ekyo kye yayogerera mu muddu we Eriya.
11Bw'atyo Yeeku n'akuba n'abo abaasigala ku nnyumba ya Akabu mu Yezuleeri n'abakulu be bonna, ne baganzi be ne bakabona be okutuusa lw'ataamulekerawo n'omu eyasigala.
12Awo n'agolokoka n'agenda n'ajja e Samaliya. Awo bwe yali ali mu kkubo ku nnyumba ey'okusaliramu ebyoya by'endiga ey'abasumba,
13Yeeku n'asanga baganda ba Akaziya kabaka wa Yuda, n'ayogera nti Mmwe muli b'ani? Ne bamuddamu nti Tuli baganda ba Akaziya: era tuserengeta okulamusa abaana ba kabaka n'abaana ba nnamasole.
14N'ayogera nti Mubakwate nga balamu. Ne babakwata nga balamu, ne babattira ku bunnya obw'ennyumba ey'okusaliramu ebyoya by'endiga, abasajja amakumi ana mu babiri; so teyafissaawo n'omu ku bo.
15Awo bwe yavaayo n'asanga Yekonadabu mutabani wa Lekabu ng'ajja okumusisinkana: n'amulamusa n'amugamba nti Omutima gwo mulungi ng'omutima gwange bwe guli eri omutima gwo? Yekonadabu n'addamu nti Mulungi. Oba nga mulungi, mpa omukono gwo. N'amuwa omukono gwe; n'amulinnyisa gy'ali mu ggaali.
16N'ayogera nti Jjangu tugende fembi olabe obuggya bwange olwa Mukama. Awo ne bamulinnyisa mu ggaali lye:
17Awo bwe yatuuka e Samaliya n'atta bonna absigalira Akabu mu Samaliya okutuusa lwe yamuzikiriza ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yagamba Eriya.
18Awo Yeeku n'akuŋŋaanya abantu bonna n'abagamba nti Akabu yaweerezanga Baali katono; naye Yeeku anamuweereza nnyo.
19Kale nno muyite gye ndi bannabbi bonna aba Baali, abamusinza bonna ne bakabona be bonna; waleme okubulawo n'omu: kubanga nnina ssaddaaka enkulu gye nnaaweereza Baali; buli alibulawo taliba mulamu. Naye Yeeku yakola bw'atyo ng'asala lukwe alyoke azikirize abaasinza Baali.
20Awo Yeeku n'ayogera nti Mutukuze okukuŋŋaana okutukuvu eri Baali. Ne bakulangira.
21Awo Yeeku n'atuma okubunya Isiraeri yonna: abaasinza Baali bonna ne bajja n'okusigala n'etasigala muntu atajja. Ne bajja mu nnyumba ya Baali; ennyumba ya Baali n'ejjula okuva ku mulyango okutuuka ku buziizi.
22Awo n'agamba omukulu w'ennyumba eyambalirwamu nti Fulumya ebyambalo eri bonna abasinza Baali. N'afulumya ebyambalo eri bo.
23Yeeku ne Yekonadabu mutabani wa Lekabu ne bayingira mu nnyumba ya Baali; n'agamba abasinza Baali nti Munoonye mulabe muleme okuba muno nammwe ku baddu ba Mukama, wabula abasinza Baali bokka.
24Awo ne bayingira okuwaayo ssaddaaka n'ebiweebwayo ebyokebwa. Era Yeeku yali ataddewo abasajja kinaana ebweru n'ayogera nti Ku basajja be nnaaleeta mu mikono gyammwe bwe kunaabulako n'omu, amuta obulamu bwe bunaaba mu kifo ky'obulamu bw'oyo.
25Awo olwatuuka bwe yamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Yeeku n'agamba abambowa n'abaami nti Muyingire mubatte; waleme okufuluma n'omu. Ne babatta n'obwogi bw'ekitala: awo abambowa n'abaami ne babasuula ebweru ne bagenda mu kibuga eky'essabo lya Baali.
26Awo ne baggya empagi ezaali mu nnyumba ya Baali ne bazookya.
27Ne bamenyamenya empagi ya Baali ne bamenyamenya essabo lya Baali ne balifuula ekiyigo ne leero.
28Bw'atyo Yeeku bwe yazikiriza Baali okumumalawo mu Isiraeri.
29Era naye Yeeku teyaleka kugoberera bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri, ennyana eza zaabu ezaali mu Beseri n'ezaali mu Ddaani.
30Mukama n'agamba Yeeku nti Kubanga okoze bulungi ng'otuukirizza ebiri mu maaso gange ebirungi, n'okola ennyumba ya Akabu nga byonna bwe biri ebyali mu mutima gwange, batabani bo bannakana kyebaliva batuula ku ntebe ya Isiraeri.
31Naye Yeeku n'atassaayo mwoyo okutambulira mu mateeka ga Mukama Katonda wa Isiraeri n'omutima gwe gwonna; teyava mu bibi bya Yerobowaamu bye yayonoonyesa Isiraeri.
32Mu biro ebyo Mukama n'atanula okukendeeza Isiraeri: Kazayeeri n'abakubira mu nsalo zonna eza Isiraeri;
33okuva ku Yoludaani ebuvanjuba, ensi yonna ey'e Gireydi, Abagaadi n'Abalewubeeni n'Abamanase, okuva ku Aloweri ekiriraanye ekiwonvu kya Alunoni, Gireyaadi ne Basani.
34Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yeeku ne byonna bye yakola, n'amaanyi ge gonna tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
35Yeeku ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: ne bamuziika mu Samaliya. Yekoyakaazi mutabani we n'afuga mu kifo kye.
36Era ebiro Yeeku bye yafugira Isiraeri mu Samaliya byali emyaka amakumi abiri mu munaana.