Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
27 verses
1Awo Yekolaamu mutabani wa Akabu n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya mu mwaka ogw'ekkumi mu munaana ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, n'afugira emyaka kkumi n'ebiri.
2N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi; naye obutafaanana kitaawe n'okufaanana nnyina: kubanga yaggyawo empagi ya Baali kitaawe gye yakola.
3Naye ne yeegatta n'ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri; teyabivaamu.
4Era Mesa kabaka wa Mowaabu yali musumba wa ndiga; n'awangayo eri kabaka wa Isiraeri ebyoya by'abaana b'endiga kasiriivu n'eby'endiga ennume kasiriivu.
5Naye olwatuuka Akabu bwe yafa kabaka wa Mowaabu n'ajeemera kabaka wa Isiraeri.
6Kabaka Yekolaamu n'ava mu Samaliya mu biro ebyo, n'ayolesa Isiraeri yenna.
7Awo n'agenda n'atumira Yekosafaati kabaka wa Yuda ng'ayogera nti Kabaka wa Mowaabu anjeemedde: onootabaala Mowaabu wamu nange? N'ayogera nti Naayambuka: nze nninga ggwe bw'oli, abantu bange ng'abantu bo, embalaasi zange ng'embalaasi zo.
8N'ayogera nti Tunaayambuka mu kkubo ki? N'addamu nti Mu kkubo ery'omu ddungu erya Edomu.
9Awo kabaka wa Isiraeri n'agenda ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu: ne beetooloola olugendo lwa nnaku musanvu: so nga tewaali mazzi ga ggye newakubadde ag'ensolo ez'abagoberera.
10Awo kabaka wa Isiraeri n'ayogera nti Zitusanze! kubanga Mukama ayise bakabaka bano abasatu okukuŋŋaana okubagabula mu mukono gwa Mowaabu.
11Naye Yekosafaati n'ayogera nti Tewali wano nnabbi wa Mukama tubuulize mu ye eri Mukama? Awo omu ku baddu ba kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Erisa mutabani wa Safati wano eyafukiriranga amazzi mu ngalo za Eriya.
12Awo Yekosafaati n'ayogera nti Ekigambo kya Mukama kiri naye. Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati ne kabaka wa Edomu ne baserengeta gy'ali.
13Erisa n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nfaayo ki eri ggwe? genda eri bannabbi ba kitaawo n'eri bannabbi ba nnyoko. Kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Nedda: kubanga Mukama ayise bakabaka bano abasatu okukuŋŋaana okubagabula mu mukono gwa Mowaabu.
14Erisa n'ayogera nti Nga Mukama w'eggye bw'ali omulamu gwe nnyimirira mu maaso ge, mazima singa sirowooza Yekosafaati kabaka wa Yuda okubaawo, sandikutunuulidde so sandikulabye.
15Naye nno ndeetera omukubi w'ennanga. Awo olwatuuka omukubi w'ennanga bwe yakuba, omukono gwa Mukama ne gumujjako.
16N'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mujjuze ekiwonvu kino ensalosalo.
17Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temuulabe mbuyaga so temuulabe nkuba, naye ekiwonvu ekyo kinajjula amazzi: nammwe munaanywa, mmwe n'ebisibo byammwe n'ensolo zammwe.
18Era kino kigambo kitono so si kikulu mu maaso ga Mukama: era aligabula n'Abamowaabu mu mukono gwammwe.
19Era mulimenya buli kibuga ekiriko enkomera na buli kibuga ekironde ne mutema buli muti omulungi ne muziba enzizi zonna ez'amazzi ne mwonoona buli musiri omulungi n'amayinja.
20Awo olwatuuka enkya mu kiseera eky'okuwaayo ekitone, kale, laba, amazzi ne gajja nga gafuluma mu kkubo ery'e Edomu, ensi n'ejjula amazzi.
21Awo Abamowaabu bonna bwe baawulira bakabaka nga bambuse okulwana nabo, ne bakuŋŋaana bonna abaayinza okwambala ebyokulwanyisa n'okukirawo, ne bayimirira ku mpero.
22Awo ne bagolokoka enkya mu makya, enjuba n'eyaka ku mazzi, Abamowaabu ne balaba amazzi agaboolekedde nga gamyuse ng'omusaayi:
23awo ne boogera nti Guno gwe musaayi: bakabaka tebalemye kuzikirizibwa, era basse buli muntu munne: kale nno, Mowaabu, mugwe ku munyago.
24Awo bwe baatuka mu lusiisira lwa Isiraeri, Abaisiraeri ne bagolokoka ne bakuba Abamowaabu n'okudduka ne badduka mu maaso gaabwe: ne beeyongerayo mu nsi nga bakuba Abamowaabu.
25Ne bamenyamenya ebibuga; n'awali omusiri omulungi ogw'ettaka ne bakasuka buli muntu ejjinja lye ne wajjula; ne baziba enzizi zonna ez'amazzi, ne batema emiti gyonna emirungi okutuusa lwe baasigazaawo mu Kirukalesesi amayinja gamu gokka; naye ab'envuumuulo ne batambulatambula mu nsi ne bagikuba.
26Awo kabaka wa Mowaabu bwe yalaba olutalo nga lumuyingiridde, n'atwala abasajja lusanvu abaasowolanga ebitala, okuwaguza okutuuka eri kabaka w’e Edomu: naye ne batayinza.
27Awo n'addira mutabani we omubereberye eyandifuze mu kifo kye, n'amuwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku bbugwe. Ne waba obusungu bungi eri Isiraeri: ne bamuvaako ne baddayo mu nsi yaabwe.