Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
51 verses
1Awo Dawudi n'agamba Mukama ebigambo eby'oluyimba luno ku lunaku Mukama kwe yamuwonyeza mu mukono gw'abalabe be bonna ne mu mukono gwa Sawulo:
2n'ayogera nti Mukama lwe lwazi lwange era ekigo kyange era omulokozi wange, owange nze;
3Katonda ow'olwazi lwange, oyo gwe nneesiganga; Engabo yange, era ejjembe ery'obulokozi bwange, ekigo kyange ekiwanvu, era ekiddukiro kyange; Omulokozi wange, ggwe omponya mu kyejo.
4Naakaabira Mukama, asaanidde okutenderezebwa: Bwe ntyo bwe nnaalokokanga eri abalabe bange.
5Kubanga amayengo ag'okufa gazingiza, Amataba ag'obutatya Katonda ne gantiisa.
6Emigwa egy'emagombe gyanneetooloola: Ebyambika eby'okufa byantuukako.
7Bwe nnalaba ennaku ne nkaabira Mukama, Weewaawo, nakaabira Katonda wange: N'awulira eddoboozi lyange ng'ayima mu yeekalu ye, Okukaaba kwange ne kutuuka mu matu ge.
8Ensi n'eryoka esagaasagana n'ekankana, Emisingi gy'eggulu ne gijjulukuka Ne gikankanyizibwa, kubanga asunguwadde.
9Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze, N'omuliro ogwava mu kamwa ke ne gwokya: Ne gukwata amanda.
10Yakutamya n'eggulu n'aserengeta; Ekizikiza ekiziyivu ne kiba wansi w'ebigere bye.
11Ne yeebagala kerubi n'abuuka: Weewaawo, yalabikira ku biwawaatiro by'empewo.
12N'afuula ekizikiza okuba eweema ezimwetooloola: Amazzi we gakuŋŋaanira, ebire ebiziyivu eby'omu ggulu.
13Okumasamasa okwali mu maaso ge Ne kwasa amanda ag'omuliro.
14Mukama n'abwatuka ng'ayima mu ggulu, Ali waggulu ennyo n'aleeta eddoboozi lye.
15N'alasa obusaale n'abasaasaanya; N'aweereza okumyansa n'abeeraliikiriza.
16Awo ensalosalo ez'ennyanja ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi ne gyeruka, Olw'okunenya kwa Mukama, Olw'okufuuwa omukka ogw'omu nnyindo ze.
17Yatuma ng'ayima waggulu n'antwala; N'ampalula n'anziya mu mazzi amangi;
18N'amponya eri omulabe wange ow'amaanyi, Eri abo abaankyawa; kubanga bannyinga amaanyi.
19Bangwako ku lunaku kwe nnalabira ennaku: Naye Mukama ye yannyweza.
20Era n'anfulumya n'andeeta mu kifo ekigazi: Yamponya kubanga yansanyukira.
21Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali: Ansasudde ng'obulongoofu bw'engalo zange bwe bwali.
22Kubanga nakuumanga amakubo ga Mukama, So siddanga ku Katonda wange lwa kyejo.
23Kubanga emisango gye gyonna gy'abanga mu maaso gange: N'amateeka ge sigavangamu.
24Era nabanga eyatuukirira eri ye, ne nneekuuma mu butali butuukirivu bwange.
25Mukama kyavudde ansasula ng'obutuukirivu bwange bwe bwali: Ng'obulongoofu bwange bwe bwali mu maaso ge.
26Awali ow'ekisa oneeraganga wa kisa, Awali omuntu eyatuukirira oneeraganga mutuukirivu;
27Awali omulongoofu oneeraganga mulongoofu; Era awali omukakanyavu oneeraganga aziyiza.
28Era olirokola abantu abaabonyabonyezebwa: Naye amaaso go gatunuulira ab'amalala obasse wansi.
29Kubanga ggwe ttabaaza yange, ai Mukama: Era Mukama alyakira ekizikiza kyange.
30Kubanga ku lulwo nziruka mbiro ne nnumba ekibiina: Ku lwa Katonda wange mbuuka ekigo:
31Katonda ekkubo lye lyatuukirira: Ekigambo kya Mukama kyakemebwa; Oyo ye ngabo eri abo bonna abamwesiga.
32Kubanga ani Katonda wabula Mukama? Oba ani lwazi wabula Katonda waffe?
33Katonda kye kigo kyange eky'amaanyi: Era aluŋŋamya eyatuukirira mu kkubo lye.
34Afuula ebigere bye okuba (ng'ebigere) by'ennangaazi: Era anteeka ku bifo byange ebigulumivu.
35Ayigiriza engalo zange okulwana; Emikono gyange ne gitega omutego ogw'ekikomo.
36Era ompadde engabo ey'obulokozi bwo: N'obuwombeefu bwo bungulumizizza.
37Wagaziya ebisinde byange wansi wange, Ebigere byange ne bitaseerera.
38Nayigganya abalabe bange, ne mbazikiriza; So saakyuka nate nga tebannamalibwawo.
39Era mbamazeewo ne mbafumitira ddala n'okuyinza ne batayinza kugolokoka: Weewaawo, bagudde wansi w'ebigere byange.
40Kubanga onsibye amaanyi ag'okulwana: Owangudde wansi wange abo abangolokokerako.
41Era abalabe bange obankubizza amabega, nzikirize abo abankyawa.
42Baatunula naye tewali wa kulokola; Baatunuulira Mukama naye n'atabaddamu.
43Awo ne mbasekulirasekulira ddala ng'enfuufu ey'oku nsi, Nabasamba ng'ebitosi eby'omu nguudo ne mbasaasaanya.
44Era omponyezza mu kuwakana kw'abantu bange; N'onkuuma okuba omutwe gw'amawanga: Eggwanga lye ssimanyanga Lirimpeereza.
45Bannaggwanga balinjeemulukukira: Nga kyebajje bampulire baliŋŋondera.
46Bannaggwanga baliggweerera, Era baliva mu bifo byabwe eby'ekyama nga bakankana.
47Mukama mulamu; era lwazi lwange atenderezebwe; Agulumizibwe Katonda ow'olwazi olw'obulokozi bwange:
48Ye Katonda ampalanira eggwanga, N'assa amawanga wansi wange,
49Era anziya mu balabe bange: Weewaawo, ongulumiza okusinga abo abangolokokerako: Omponya eri omusajja ow'ekyejo.
50Kyennaava nkwebaza, ai Mukama, mu mawanga, ne nnyimba okutendereza erinnya lyo.
51Awa kabaka we obulokozi obunene: Era amukola eby'ekisa ekingi oyo gwe yafukako amafuta, Dawudi n'ezzadde lye emirembe gyonna.