Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
18 verses
1Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula: Dawudi n'aggyayo olukoba lw'ekibuga nnyina w'ensi mu mukono gw'Abafirisuuti.
2N'akuba Mowaabu, n'abagera n'omugwa, ng'abagalamiza wansi; n'agerako emigwa ebiri egy'okutta n'omugwa ogumu omulamba ogw'okuwonya abalamu. Abamowaabu ne bafuuka baddu ba Dawudi ne baleeta ebirabo.
3Era Dawudi n'akuba ne Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba, bwe yagenda okujeemulula amatwale ge ku Mugga.
4Dawudi n'amuggyako abasajja abeebagala embalaasi lukumi mu lusanvu, n'abatambula n'ebigere obukumi bubiri: Dawudi n'azitema enteega embalaasi zonna ez'amagaali, naye n'aterekako ez'amagaali kikumi.
5Awo Abasuuli ab'e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadadezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja obukumi bubiri mu enkumi bbiri.
6Awo Dawudi n'ateeka ebigo mu Busuuli obw'e Ddamasiko: Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi, ne baleeta ebirabo. Mukama n'amuwanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga.
7Dawudi n'anyaga engabo eza zaabu ezaali ku baddu ba Kadadezeri n'azitwala e Yerusaalemi.
8Ne mu Beta ne mu Berosayi, ebibuga bya Kadadezeri, kabaka Dawudi n'aggyamu ebikomo ebyayingirira obungi.
9Awo Toyi kabaka w'e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi akubye eggye lyonna erya Kadadezeri,
10awo Toyi n'atuma Yolaamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza, kubanga alwanye ne Kadadezeri n'amukuba: kubanga Kadadezeri yalwananga ne Toyi. Yolaamu n'aleeta wamu naye ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebintu eby'ebikomo:
11n'ebyo kabaka Dawudi n'abiwongera Mukama, wamu ne ffeeza ne zaabu gye yawonga gye yaggya ku mawanga gonna ge yawangula;
12ku Busuuli ne Mowaabu n'abaana ba Amoni n'Abafirisuuti ne Amaleki ne ku munyago gwa Kadadezeri, mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba.
13Dawudi ne yeefunira erinnya bwe yakomawo ng'amaze okukuba Abasuuli mu Kiwonvu eky'Omunnyo, abasajja kakumi mu kanaana.
14N'ateeka ebigo mu Edomu; yateeka ebigo okubuna Edomu, Abaedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'amuwanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga.
15Awo Dawudi n'afuga Isiraeri yenna: Dawudi n'asalira abantu be bonna emisango gya nsonga era gya mazima.
16Ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'eggye; ne Yekosaffaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza:
17ne Zadoki mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; ne Seroya ye yali omuwandiisi;
18ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi; ne batabani ba Dawudi be baali abakulu.