Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
28 verses
1Awo olwatuuka mu Ikonio ne bayingirira wamu mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya, ne boogera bwe batyo ekibiina kinene n'okukkiriza ne bakkiriza, Abayudaaya n'Abayonaani.
2Naye Abayudaaya abataagonda ne baweerera ab'amawanga ne bafuula emmeeme zaabwe okuba embi eri ab'oluganda.
3Awo ne bamala ebiro bingi nga babuulira n'obuvumu mu Mukama waffe, eyategeeza ekigambo eky'ekisa kye, ng'abawa obubonero n'eby'amagero okukolebwanga mu mikono gyabwe.
4Naye ekibiina eky'omu kibuga ne kyawukanamu; abamu ne babeera ku ludda lw'Abayudaaya abamu ku ludda lw'abatume.
5Ab'amawanga n'Abayudaaya awamu n'abakulu baabwe bwe baabalumba okubagirira ekyejo, okubakuba amayinja,
6bwe baategeera ne baddukira mu bibuga eby'e Lukaoniya, Lusitula ne Derube n'ensi eriraanyeewo:
7ne babeera eyo nga babuulira enjiri.
8Mu Lusitula yaliyo omuntu nga talina maanyi mu bigere n'abeeranga awo, mulema okuva mu lubuto lwa nnyina nga tatambulangako n'akatono.
9Oyo n'awulira Pawulo ng'ayogera: naye n'amwekaliriza amaaso n'alaba ng'alina okukkiriza okulokoka,
10n'ayogera n'eddoboozi ddene nti Yimirira ku bigere byo, weegolole. N'abuuka n'atambula.
11Ebibiina bwe baalaba Pawulo ky'akoze, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, nga boogera mu lulimi Olulukaoniya nti Bakatonda basse gye tuli nga bafaanana abantu.
12Balunabba ne bamuyita Zewu; ne Pawulo ne bamuyita Kerume, kubanga ye yasinga okwogera.
13Kabona wa Zewu, eyali mu maaso g'ekibuga, n'aleeta ente n'engule ez'ebimuli okutuuka ku luggi ng'ayagala okuwaayo ssaddaaka n'ebibiina.
14Naye abatume Balunabba ne Pawulo bwe baawulira, ne bayuza engoye zaabwe ne bafubutuka ne bagenda mu kibiina, nga boogerera waggulu
15nga bagamba nti Abasajja, kiki ekibakoza ebyo? Naffe tuli bantu abakwatibwa byonna nga mmwe, era tubabuulira ebigambo ebirungi muleke ebyo ebitaliimu mukyukire Katonda omulamu, eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebintu byonna ebirimu:
16mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okutambuliranga mu makubo gaago:
17naye teyeemalaayo nga talina mujulirwa, kubanga yakolanga bulungi, ng'abatonnyesezanga enkuba okuva mu ggulu n’ebiro eby'okubalirangamu emmere, ng'ajjuzanga emitima gyammwe emmere n'essanyu.
18Bwe baayogera ebyo, ne baziyiza ebibiina lwa mpaka okubawa ssaddaaka.
19Naye Abayudaaya ne bava mu Antiyokiya ne Ikonio, ne baweerera ebibiina ne bakuba amayinja Pawulo, ne bamuwalulira ebweru w'ekibuga, nga balowooza nti afudde.
20Naye abayigirizwa bwe baamwetoolola n'ayimirira n'ayingira mu kibuga: ku lunaku olw'okubiri n'agenda ne Balunabba okutuuka e Derube.
21Bwe baamala okubuulira enjiri mu kibuga ekyo n'okufuula abayigirizwa abangi, ne bakomawo mu Lusitula ne Ikonio ne Antiyokiya,
22nga banyweza emmeeme z'abayigirizwa, nga bababuulirira okunyiikiriranga mu kukkiriza, era nti olw'okulaba ennaku ennyingi kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
23Bwe baamala okulondera abakadde mu buli kkanisa n'okusaba n'okusiiba, ne babasigira Mukama waffe gwe bakkiriza.
24Ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya.
25Bwe baamala okubuulira ekigambo mu Peruga ne baserengeta mu Ataliya;
26ne bavaayo ne bawanika amatanga okutuuka e Antiyokiya; abaayo be baabasigira ekisa kya Katonda olw'omulimu gwe baatuukiriza.
27Bwe baatuuka ne bakuŋŋaanya ekkanisa, ne bababuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo, era nti yaggulirawo ab'amawanga oluggi olw'okukkiriza.
28Ne bamalayo ebiro bingi wamu n'abayigirizwa.