Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
28 verses
1Awo oluvannyuma lw'ebyo n'ava mu Asene n'atuuka e Kkolinso.
2N'alaba omuntu Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalirwa mu Ponto, yali kyajje ave mu Italiya, ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulwawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna okuva mu Ruumi: n'ajja gye baali;
3era kubanga baalina omulimu gumu n'abeeranga nabo ne bakolanga omulimu; kubanga omulimu gwabwe baali bakozi ba weema.
4N'awakaniranga mu kkuŋŋaaniro buli ssabbiiti, n'asendasendanga Abayudaaya n'Abayonaani.
5Naye Siira ne Timoseewo bwe baava e Makedoni, Pawulo n'awalirizibwa ekigambo, ng'ategeeza Abayudaaya nga Yesu ye Kristo.
6Bwe baamutangira ne bamuvuma, n’akunkumula engoye ze n'abagamba nti Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe: nze ndi mulongoofu: okutanula kaakano nnaagenda eri ab'amawanga.
7N'avaayo, n'ayingira mu nnyumba y'omuntu erinnya lye Tito Yusito, atya Katonda, ennyumba ye eriraanye ekkuŋŋaniro.
8Era Kulisupo, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'akkiriza Mukama waffe n'ennyumba ye yonna; n'Abakkolinso bangi bwe baawulira ne bakkiriza ne babatizibwa.
9Mukama waffe n'agamba Pawulo ekiro mu kwolesebwa nti Totya naye yogeranga, tosirikanga,
10kubanga nze ndi wamu naawe; so tewali muntu anaakulumbanga okukukola obubi: kubanga nnina abantu bangi mu kibuga muno.
11N'amalayo mwaka n'emyezi mukaaga ng'ayigirizanga ekigambo kya Katonda mu bo.
12Naye Galiyo bwe yali nga ye wessaza ly'e Akaya, Abayudaaya ne balumba Pawulo n’omwoyo gumu ne bamuleeta awasalirwa emisango,
13nga bagamba nti Ono asendasenda abantu okusinza Katonda ng'amateeka bwe gatalagira.
14Naye Pawulo bwe yali agenda okwasama akamwa ke, Galiyo n'agamba Abayudaaya nti Singa wabaddewo okusobya oba kwonoona okubi, mmwe Abayudaaya, nandibagumiikirizza:
15naye oba nga waliwo okubuuzagana okw'ebigambo: n'amannya n'amateeka agali mu mmwe, ekyo kyammwe: nze saagala kusala musango gw'ebyo.
16N'abagoba awasalirwa emisango.
17Bonna ne bakwata Sossene omukulu w'ekkuŋŋaaniro ne bamukubira awasalirwa emisango. Era Galiyo teyafaayo mu bigambo ebyo.
18Pawulo n'amalayo ennaku nnyingi endala nate, n'asiibula ab'oluganda n'avaayo n'awanika amatanga okugenda e Busuuli, era wamu naye Pulisikira ne Akula; bwe yamala okumwera enviiri mu Kenkereya; kubanga yeerayirira.
19Ne batuuka mu Efeso, bali n'abaleka eyo; naye ye yennyini n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'awakana n'Abayudaaya.
20Bwe baamwagala okweyongera okutuula n'atakkiriza;
21naye n'abasiibula n'agamba nti Ndikomawo nate gye muli Katonda ng'ayagadde, n'awanika amatanga n'avaayo mu Efeso.
22N'agoba e Kayisaliya, n'alinnya n'alamusa ab'ekkanisa, n'aserengeta okutuuka Antiyokiya.
23Bwe yamalayo ebiro si bingi n'avaayo, n'ayitira mu nsi y'e Ggalatiya n’e Fulugiya, ng'ava kumu, ng'agumya abayigirizwa bonna.
24Awo omuntu Omuyudaaya erinnya lye Apolo eyazaalirwa mu Alegezandereya, omuntu eyayigirizibwa, oyo n'atuuka mu Efeso, eyali omugezi mu byawandiikibwa.
25Oyo yali ng'abuuliddwa ekkubo lya Mukama waffe, ng'ayaka mu mwoyo n'ayogera n'ayigiriza nnyo ebigambo bya Yesu, ng'amanyi okubatiza kwa Yokaana kwokka:
26oyo n'atanula okwogera n'obugumu mu kkuŋŋaaniro. Naye Pulisikira ne Akula bwe baawulira ne bamutwala gye bali, ne bongera okumutegeereza ddala ekkubo lya Katonda.
27Bwe yayagala okuwunguka okutuuka Akaya, ab'oluganda ne bamugumya ne bawandiikira abayigirizwa okumusembeza: bwe yatuuka n'abayambanga nnyo abakkiriza olw'ekisa:
28kubanga yasinganga Abayudaaya amaanyi amangi mu maaso g'abantu, ng'ategeezanga mu byawandiikibwa nga Yesu ye Kristo.