Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
38 verses
1Akacwano bwe kamala okukkakkana, Pawulo n'ayita abayigirizwa n'ababuulirira n'abasiibula, n'avaayo okugenda e Makedoni.
2Bwe yayita mu njuyi ziri n'abategeeza ebigambo bingi, n'atuuka e Buyonaani.
3Bwe yamalayo emyezi esatu, era Abayudaaya bwe baamusalira olukwe, bwe yali ng'agenda okuyita mu nnyanja okutuuka e Busuuli, nalowooza okuddayo mu Makedoni.
4Ne bagenda naye okutuuka mu Asiya Sopateri Omuberoya mutabani wa Puulo; n'Abasessaloniika Alisutaluuko ne Sekundo; ne Gayo Omuderube ne Timoseewo; n'AbasiyaTukiko ne Tulofiimo.
5Bano ne bakulembera ne batulindirira mu Tulowa.
6Ffe ne tuva mu Firipi ne tuwanika amatanga oluvannyuma lw'ennaku ez'emigaati egitazimbulukuswa, ne tubatuukako mu Tulowa mu nnaku ttaano; gye twamala ennaku omusanvu.
7Awo ku lunaku olw'olubereberye mu ssabbiiti, bwe twakuŋŋaana okumenya emigaati, Pawulo n'anyumya nabo, ng'ayagala okusitula enkya, n'alwawo mu kwogera okutuusa ettumbi.
8Ne wabaawo ettabaaza nnyingi mu kisenge ekya waggulu, mwe twakuŋŋaanira.
9Omulenzi erinnya lye Yutuko n'atuula mu ddirisa, n'akwatibwa otulo tungi; awo Pawulo bwe yalwawo ng'akyanyumya, ng'akwatiddwa otulo tungi n'ava mu nju ey'okusatu, n'agwa, n'alondebwa ng'afudde.
10Pawulo n'akka n'amugwako n'amuwambaatira n'agamba nti Temukuba biwoobe; obulamu bwe mwebuli munda.
11N'alinnya n'amenya omugaati n'alyako n'alwawo ng'akyanyumya okutuusa enkya, n'alyoka avaayo.
12Ne baleeta omulenzi nga mulamu, ne basanyuka si katono.
13Naye ffe ne tukulembera okutuuka ku kyombo ne tugenda okutuuka e Aso, nga twagala eyo okusiika Pawulo: kubanga yali alagidde bw'atyo, ng'ayagala ye yennyini okuyita ku lukalu.
14Bwe yatusanga mu Aso ne tumusiika, ne tuja e Mituleene.
15Ne tuwanika amatanga okuvaayo ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka mu maaso ga Kiyo; ku Iw'okusatu ne tugoba ku Samo; ku lw'okuna ne tutuuka mu Mireeto.
16Kubanga Pawulo yasiima okuyitira mu Efeso mu kyombo, aleme okulwa mu Asiya; kubanga yali ayanguwa, oba nga kiyinzika okubeera mu Yerusaalemi ku lunaku lwa Pentekoote.
17Bwe yali mu Mireeto n'atuma, mu Efeso n'ayita abakadde b'ekkanisa.
18Bwe baatuuka gy'ali n'abagamba nti Mmwe mumanyi okuva ku lunaku olw'olubereberye bwe nnalinnya mu Asiya, bwe nnabanga nammwe mu biro byonna,
19nga mpeereza Mukama waffe n'obuwombeefu bwonna n'amaziga n'okukemebwa kwe nnalaba mu nkwe z'Abayudaaya:
20bwe sseekekanga kubabuulira kigambo kyonna ekisaana, n'okubayigiririzanga mu maaso g'abantu ne mu buli nju,
21nga ntegeeza Abayudaaya era n'Abayonaani okwenenya eri Katonda n'okukkiriza Mukama waffe Yesu Kristo.
22Kaakano, laba, bwe nsibiddwa mu mwoyo, ŋŋenda e Yerusaalemi nga simanyi bye ndiraba eyo,
23wabula nga Omwoyo Omutukuvu antegeeza mu buli kibuga; ng'agamba nti okusibibwa n'okubonyaabonyezebwa binnindiridde.
24Naye obulamu bwange sibulowooza nga kintu, nga bwa muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize olugendo lwange n'okuweereza kwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga enjiri ey'ekisa kya Katonda.
25Kaakano, laba, nze mmanyi nga temukyandaba maaso gange mmwe mwenna be nnayitangamu nga mbuulira obwakabaka.
26Kyenva mbategeeza leero nti nze ndi mulongoofu olw'omusaayi gwa bonna,
27kubanga sseekekanga kubabuulira kuteesa kwa Katonda kwonna.
28Mwekuumenga mmwe mwekka n'ekisibo kyonna Omwoyo Omutukuvu mwe yabateeka mmwe okuba abalabirizi, okulundanga ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n'omusaayi gwe yennyini.
29Nze mmanyi nga bwe ndimala okuvaawo emisege emikambwe giriyingira mu mmwe, tegirisaasira kisibo;
30era mu mmwe mwekka muliva abantu ngaboogera ebigambo ebikyamye, okuwalula abayigirizwa ennyuma waabwe.
31Kale mutunule, mujjukire nga saalekanga kulabula n'amaziga buli muntu mu myaka esatu emisana n'ekiro.
32Era ne kaakano mbasigira Katonda n'ekigambo eky'ekisa kye ekiyinza okuzimba n'okugaba obusika mu abo bonna abatukuzibwa.
33Seegombanga ffeeza ya muntu yenna newakubadde zaabu newakubadde ekyambalo.
34Mmwe mumanyi ng'emikono gino gye gyakolanga bye nneetaaga n'abo abali nange.
35Mbalaze mu byonna bwe kibagwanira okukolanga emirimu bwe mutyo okuyambanga abatalina maanyi, n'okujjukiranga ebigambo bya Mukama waffe Yesu bwe yagamba ye yennyini nti Okugaba kwa mukisa okusinga okutoola.
36Bwe yayogera bw'atyo n'afukamira n'asabira wamu nabo bonna.
37Ne bakaaba nnyo bonna, ne bamugwa mu bulago Pawulo ne bamunywegera,
38nga banakuwala okusinga byonna olw'ekigambo kye yayogera nti tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako okutuuka ku kyombo.