Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
35 verses
1Pawulo ne yeekaliriza amaaso ab'olukiiko n'agamba nti Abasajja ab'oluganda, nze nneegendereza n'omwoyo gwonna omulungi mu maaso ga Katonda okutuusa ku lunaku luno.
2Kabona asinga obukulu Ananiya n'alagira abamuyimiridde okumpi okumukuba omumwa.
3Pawulo n'alyoka amugamba nti Katonda alikukuba, ggwe ekisenge ekyasiigibwa okutukula; era otudde okunsalira omusango ng'amateeka bwe gali, n'olagira okunkuba ng'amateeka bwe gatalagira?
4Abaali bamuyimiridde okumpi ne bagamba nti Ovuma kabona asinga obukulu owa Katonda?
5Pawulo n'agamba nti Mbadde simumanyi, ab'oluganda, nga ye kabona asinga obukulu: kubanga kyawandiikibwa nti Toyogeranga bubi ku mukulu w'abantu bo.
6Naye Pawulo bwe yategeera ng'ekitundu ekimu kya Basaddukaayo n'eky'okubiri kya Bafalisaayo, n'ayogerera waggulu mu lukiiko nti Abasajja ab'oluganda, nze ndi Mufalisaayo mwana w'Abafalisaayo: nsalirwa omusango olw'essuubi n'okuzuukira kw'abafu.
7Bwe yayogera bw'atyo ne wabaawo okuyomba Abafalisaayo n'Abasaddukaayo, ekibiina ne kyawukanamu.
8Kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira, newakubadde malayika, newakubadde omuzimu: naye Abafalisaayo baatula byombi.
9Ne wabaawo okukaayana kungi: abawandiisi abamu ab'omu kitundu eky'Abafalisaayo ne bayimirira ne bawakana nga bagamba nti Tetulaba kibi ku muntu ono: era kinaaba kitya oba ng'omuzimu gwe gwogedde naye oba malayika?
10Bwe waabaawo okuyomba okungi, omwami omukulu ng'atya Pawulo nga bagenda okumukutulamu, n'alagira ekitongole okukka wansi okumuggya wakati mu bo olw'amaanyi, okumuleeta mu kigo.
11Awo mu kiro eky'okubiri, Mukama waffe n'ayimirira w'ali n'agamba nti Guma omwoyo: kuba nga bwe wategeeza ebigambo byange mu Yerusaalemi, era kikugwanidde okutegeeza bw'otyo ne mu Ruumi.
12Bwe bwakya enkya, Abayudaaya ne balagaana ne beeyama obweyamo nga bagamba nti tebajja kulya newakubadde okunywa wabula nga bamaze kutta Pawulo.
13Abeekobaana bwe batyo ne basukka amakumi ana.
14Abo ne bajja eri bakabona abakulu n'abakadde ne bagamba nti Okwekolimira twekolimidde obutakomba ku kantu wabula nga tumaze kutta Pawulo.
15Kale kaakano mmwe n'olukiiko mugambe omwami omukulu amuleete wansi gye muli ng'abaagala okwongera okumanya amazima g'ebigambo bye: naffe, anaaba nga tannaba kusembera, tweteeseteese okumutta.
16Naye omwana wa mwannyina wa Pawulo n'awulira olukwe luno, n'ajja n'ayingira mu kigo, n'abuulira Pawulo.
17Pawulo n'ayita omu ku baami n'agamba nti Twala omulenzi ono eri omwami omukulu; kubanga alina ekigambo okumubuulira.
18Awo oli n'amutwala n'amuleeta eri omwami omukulu n'agamba nti Pawulo omusibe yampise n'anneegayirira okukuleetera omulenzi ono, ng'alina ky'agenda okukubuulira.
19Omwami omukulu n'amukwata ku mukono ne yeeyawula mu kyama n'amubuuza nti Bigambo ki by'olina okumbuulira?
20N'agamba nti Abayudaaya bateesezza okukwegayirira okuleeta Pawulo enkya wansi mu lukiiko ng'agenda okwongera okumubuuza amazima g'ebigambo bye.
21Kale ggwe tobakkiriza: kubanga abantu baabwe bamuteeze okusinga amakumi ana abeekolimidde obutalya newakubadde okunywa wabula nga bamaze okumutta; nabo kaakano beeteeseteese nga balindirira ggwe okubasuubiza.
22Awo omwami omukulu n'asiibula omulenzi, bwe yamala okumukuutira nti Tobuulirako omuntu ng'ombuulidde ebigambo bino.
23N'ayita babiri ku baami n'agamba nti Mutegeke basserikale ebikumi bibiri okugenda e Kayisaliya, n'ab'oku mbalaasi nsanvu, n'ab'amafumu ebikumi bibiri, mu ssaawa ey'okusatu ey'ekiro;
24era babalabire ensolo balyoke beebagazeeko Pawulo era bamutwale mirembe eri Ferikisi owessaza.
25N'awandiika ebbaluwa engeri eno nti
26Kulawudiyo Lusiya alamusizza owessaza omulungi ennyo Ferikisi,
27Omuntu oyo bwe yamala okukwatibwa Abayudaaya, bwe baali bagenda okumutta, ne njija n'ekitongole gye baali ne mbamuggyako, bwe nnategeera nga Muruumi.
28Era bwe nnayagala okutegeera ensonga gye bamulanze okumuloopa, ne mmutwala mu lukiiko lwabwe.
29Ne ndaba ng'aloopeddwa bya kubuuzibwa eby'omu mateeka gaabwe, naye nga tewali nsonga ya kumussa newakubadde okusibibwa.
30Bwe bambuulira nti banaamusalira olukwe, amangu ago ne mmuweereza gy'oli; era ne ndagira abamuloopa okumuloopera mu maaso go.
31Awo basserikale nga bwe baalagirwa ne batwala Pawulo ne bamuleeta mu kiro okutuuka mu Antipatuli.
32Naye ku lunaku olw'okubiri ne baleka ab'oku mbalaasi okugenda naye ne baddayo mu kigo:
33abo bwe baatuuka e Kayisaliya ne bawa ebbaluwa owessaza era ne bamwanjulira Pawulo.
34Bwe yamala okugisoma, n'abuuza essaza gye yava; bwe yabuulirwa nti yava mu Kirukiya,
35n'agamba nti Ndikuwulira abakuloopa bwe balibaawo nabo: n'alagira okumukuumira mu nnyumba ya Kerode.