Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
60 verses
1Kabona asinga obukulu n'ayogera nti Ebyo bwe biri bwe bityo?
2Suteefano n'agamba nti Abasajja ab'oluganda era bassebo, muwulire. Katonda ow'ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ng'ali e Mesopotamiya, nga tannabeera Kalani,
3n'amugamba nti Va mu nsi yannyo ne mu kika kyo, ogende mu nsi gye ndikulaga.
4Awo n'ava mu nsi y'Abakaludaaya, n'abeera mu Kalani: oluvannyuma kitaawe bwe yamala okufa, n'amuggyayo n'amuleeta mu nsi eno mwe mutudde mmwe kaakano;
5so teyamuwa butaka muno newakubadde awalinnyibwa ekigere: n'asuubiza okugimuwa okugirya, ye n'ezzadde lye oluvannyuma lwe, nga tannaba na mwana.
6Katonda n'ayogera bw'ati ng'ezzadde lye baliba bagenyi mu nsi y'abalala; balibafuula abaddu, balibakolera obubi emyaka bikumi bina.
7N'eggwanga eriribafuula abaddu nze ndisala omusango gwalyo, bwe yayogera Katonda: n'oluvannyuma balivaayo balinsinziza mu kifo kino.
8N'amuwa endagaano ey'okukomola: awo Ibulayimu n'azaala Isaaka, n'amukomolera ku lunaku olw'omunaana: ne Isaaka n'azaala Yakobo: ne Yakobo n'azaala bajjajja abakulu ekkumi n'ababiri.
9Bajjajja abakulu bwe baakwatirwa Yusufu obuggya ne bamutunda mu Misiri. Katonda n'abeeranga naye,
10n'amulokola mu nnaku ze zonna, n'amuwa okuganja n'amagezi mu maaso ga Falaawo kabaka w’e Misiri, n'amufuula omufuzi mu Misiri ne mu nnyumba ye yonna.
11Enjala n'egwa ku nsi yonna ey'e Misiri n'eya Kanani, n'ennaku nnyingi, so ne batalaba mmere bajjajjaffe.
12Naye Yakobo bwe yawulira ng'emmere enkalu eri Misiri, n'atuma bajjajjaffe omulundi ogw'olubereberye:
13n'omulundi ogw'okubiri Yusufu baganda be ne bamutegeera: ekika kya Yusufu ne kimanyibwa Falaawo.
14Yusufu n'atuma n'ayita Yakobo kitaawe ne baganda be bonna, abantu nsanvu mu bataano.
15Yakobo n'akkirira e Misiri, n'afiirayo, ye ne bajjajjaffe;
16ne batwalibwa e Sekemu; ne baziikibwa mu ntaana Ibulayimu gye yagula omuwendo gw'effeeza ku baana ba Kamoli mu Sekemu.
17Naye ng'ebiro eby'okusuubiza bwe byali okumpi, Katonda kwe yayatulira Ibulayimu, abantu ne beeyongera ne baala mu Misiri,
18okutuusa kabaka omulala lwe yabaawo ku Misiri ataamanya Yusufu.
19Oyo bwe yasalira amagezi eggwanga lyaffe, n'akola obubi bajjajjaffe, ng'abasuuzanga abaana baabwe abawere baleme okubeera abalamu.
20Mu biro ebyo Musa n'azaalibwa, n'abeera mulungi eri Katonda, ne bamuliisiza emyezi esatu mu nnyumba ya kitaawe.
21Bwe yasuulibwa, muwala wa Falaawo n'amutwala n'amulera ng'omwana we.
22Musa n'ayigirizibwa mu magezi gonna ag'e Misiri; n'abeera wa maanyi mu bigambo bye ne mu bikolwa bye.
23Naye obukulu bwe yali alitera okutuusa emyaka amakumi ana, n'alowooza mu mutima gwe okulaba baganda be, abaana ba Isiraeri.
24Bwe yalaba omuntu akolwa obubi, n'amutaasa, n'amuwoolera eggwanga omuntu eyali akolwa obubi, n'akuba Omumisiri.
25N'alowooza nti baganda be banaategeera nga Katonda agenda okubawa obulokozi mu mikono gye: naye tebaategeera.
26Nate ku lunaku olw'okubiri n'abasanga nga balwana, n'agezaako okubatabaganya, ng'agamba nti Abasajja, mmwe muli ba luganda: kiki ekibakoza obubi mwekka na mwekka?
27Naye oli eyali akola munne obubi n'amusindika eri, ng'agamba nti Ani eyakufuula ggwe omukulu n'omulamuzi waffe?
28Oyagala kunzita nze nga bwe watta Omumisiri jjo?
29Musa n'adduka olw'ekigambo ekyo, n'abeera mugenyi mu nsi ya Midiyaani, gye yazaalira abaana babiri ab'obulenzi.
30Awo emyaka amakumi ana bwe gyatuuka, malayika wa Mukama n'amulabikira mu nnimi z'omuliro nga gwaka mu kisaka, bwe yali mu ddungu ku lusozi Sinaayi.
31Musa bwe yalaba ne yeewuunya ky'alabye. Bwe yasembera okwetegereza, ne wabaawo eddoboozi lya Mukama nti
32Nze Katonda wa bajjajja bo, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo. Musa n'akankana, so teyaguma kutunuulira.
33Mukama n'amugamba nti Sumulula engatto eziri mu bigere byo: kubanga mu kifo wano w'oyimiridde watukuvu.
34Okulaba ndabye okukolwa obubi abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okusinda kwabwe, ne nzika okubawonya. Kale kaakano jjangu, nnaakutuma mu Misiri.
35Oyo Musa gwe baagaana nga bagamba nti Ani eyakufuula omukulu era omulamuzi? oyo Katonda gwe yatuma okuba omukulu era omununuzi mu mukono gwa malayika eyamulabikira mu kisaka.
36Oyo n'abaggyayo bwe yamala okukola amagero n'obubonero mu Misiri, ne mu Nnyanja Emmyufu, ne mu ddungu emyaka amakumi ana.
37Oyo ye Musa oli eyagamba abaana ba Isiraeri nti Katonda alibaleetera nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze.
38Oyo ye yali mu kkanisa mu ddungu, wamu ne malayika eyayogerera naye ku lusozi Sinaayi, era wamu ne bajjajjaffe; eyaweebwa ebigambo eby'obulamu okutuwa ffe:
39bajjajjaffe gwe bataayagala kuwulira, naye baamusindika eri, ne baddayo e Misiri mu mitima gyabwe,
40nga bagamba Alooni nti Tukolere bakatonda abalitukulembera: kubanga Musa oyo, eyatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde.
41Ne bakola ennyana mu nnaku ziri, ekifaananyi ne bakireetera ssaddaaka, ne basanyukira emirimu gy'emikono gyabwe.
42Naye Katonda n'akyuka, n'abawaayo okusinzanga eggye ery'omu ggulu; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti Mwampeeranga nze ensolo ezattibwanga ne ssaddaaka Emyaka amakumi ana mu ddungu, ennyumba ya Isiraeri?
43Ne musitula eweema ya Moloki, N'emmunyeenye ya katonda Lefani, Ebifaananyi bye mwakola okubisinzanga: Nange ndibatwala ennyuma w’e Babbulooni.
44N'eweema ey'obujulirwa yali ne bajjajjaffe mu ddungu, nga bwe yalagira eyagamba Musa okugikola ng'engeri gye yalaba bwe yali:
45bajjajjaffe bwe baagiweebwa ne bagireeta wamu ne Yoswa bwe baalya amatwale g'ab'amawanga, Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe okutuusa mu nnaku za Dawudi;
46eyasiimibwa mu maaso ga Katonda, n'asaba okumunoonyeza aw'okutuuza Katonda wa Yakobo.
47Naye Sulemaani n'amuzimbira ennyumba.
48Naye Ali waggulu ennyo tatuula mu nnyumba ezaakolebwa n'emikono; nga nnabbi bw'ayogera nti
49Eggulu ye ntebe yange, N'ensi ye ntebe y'ebigere byange: Nnyumba ki gye mulinzimbira? bw'ayogera Mukama: Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
50Omukono gwange si gwe gwabikola ebyo byonna?
51Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwa mu mitima ne mu matu, mmwe muziyiza bulijjo Omwoyo Omutukuvu; nga bajjajja bammwe, nammwe bwe mutyo.
52Nnabbi ki gwe bataayigganya bajjajjammwe? Battanga abaasooka okubuulira ebigambo eby'okujja kwe Omutuukirivu, gwe mumaze okuwaayo kaakano okumutta;
53mmwe abaaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika, so temwagakwata.
54Awo bwe baawulira ebyo ne balumwa mu mitima gyabwe, ne bamulumira obujiji.
55Naye bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, n'akaliriza amaaso mu ggulu, n'alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng'ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda;
56n'agamba nti Laba, ntunuulidde eggulu nga libikkuse n'Omwana w'Omuntu ng'ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
57Ne baleekaana n'eddoboozi ddene, ne baziba amatu gaabwe, ne bamweyiwako n'omwoyo gumu,
58ne bamusindiikiriza ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abajulirwa ne bateeka engoye zaabwe ku bigere by'omulenzi, erinnya lye Sawulo.
59Ne bakuba amayinja Suteefano bwe yasaba n'agamba nti Mukama wange Yesu, toola omwoyo gwange.
60N'afukamira n'akaaba n'eddoboozi ddene nti Mukama wange, tobabalira kibi kino. Bwe yamala okwogera ebyo ne yeebaka.