Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
1Mu mwaka ogw'okusatu ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi ekigambo kyabikkulirwa Danyeri, eyatuumibwa erinnya Berutesazza; n'ekigambo kyali kya mazima, ze ntalo ennene: n'ategeera ekigambo, n'ategeera bye yayolesebwa.
2Mu nnaku ezo nze Danyeri namala sabbiiti ssatu ennamba nga ndi mu lumbe.
3Saalyanga ku mmere ennungi, so n'ennyama newakubadde omwenge tebyayingiranga mu kamwa kange, so saasaabanga mafuta, ne mmalira ddala ssabbiiti ssatu ennamba.
4Ne ku lunaku olw'abiri mu nnya olw'omwezi ogw'olubereberye, bwe nnali ku mabbali g'omugga omunene, ye Kiddekeri,
5ne nnyimusa amaaso gange, ne ntunula, era laba, omusajja ayambadde bafuta, nga yeesibye ekiwato kye ne zaabu ennungi eya Ufazi:
6era n'omubiri gwe gwali nga berulo, n'obwenyi bwe ng'okumyansa bwe kufaanana, n'amaaso ge ng'ettabaaza z'omuliro, n'emikono gye n'ebigere bye byali ng'ekikomo ekizigule ebbala, n'eddoboozi ly'ebigambo bye ng'eddoboozi ery'ekibiina ekinene.
7Nange Danyeri nalaba bye nnayolesebwa nze nzekka: kubanga abantu abaali nange tebaalaba bye nnayolesebwa: naye okukankana okunene ne kubagwako, ne badduka okwekweka.
8Awo nze ne nsigala omu ne ndaba ebigambo ebyo ebikulu bye nnayolesebwa, so ne mutasigala mu nze maanyi gonna: kubanga obulungi bwange ne bufuuka obuvundu mu nze, ne ssiba na maanyi nate.
9Era naye ne mpulira eddoboozi ery'ebigambo bye: era bwe nnawulira eddoboozi ery'ebigambo bye nali nneebase otulo tungi nga nvuunamye amaaso gange, amaaso gange nga gatunuulira ettaka.
10Era laba, omukono ne gunkwatako, ne gunfukamiza ku maviivi gange n'ebibatu by'engalo zange.
11N'aŋŋamba nti Ggwe Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, tegeera ebigambo bye nkugamba, weesimbe; kubanga eri ggwe gye ntumiddwa kaakano: era bwe yamala okuŋŋamba ekigambo ekyo, ne nnyimirira nga nkankana.
12N'alyoka aŋŋamba nti Totya, Danyeri: kubanga okuva ku lunaku lwe wasookerako okuteekateeka omutima gwo okutegeera, n'okwewombeeka mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa: nange nzize olw'ebigambo byo.
13Naye omulangira ow'obwakabaka obw'e Buperusi n'anziyiza ennaku abiri mu lumu: naye, laba, Mikayiri, omu ku balangira abakulu, n'ajja okunnyamba: ne mbeera eyo wamu ne bakabaka ab'e Buperusi.
14Kaakano nzize okukutegeeza ebiriba ku bantu bo mu nnaku ez'enkomerero: kubanga bye wayolesebwa bya nnaku ezikyali e wala nate.
15Era bwe yamala okuŋŋamba ebigambo ebyo, ne nkutama amaaso gange, ne nsirika.
16Era, laba, eyafaanana ng'abaana b'abantu n'akoma hu mimwa gyange: ne ndyoka njasama akamwa kange, ne njogera, ne ŋŋamba oyo annyimiridde mu maaso gange nti Ai mukama wange, olw'ebyo bye nnayolesebwa ennaku zange ne zinziramu, ne siba na maanyi nate.
17Kubanga omuddu wa mukama wange ono ayinza atya okwogera ne mukama wange ono? kubanga nze, amangu ago ne mutasigala mu nze maanyi gonna, so n'omukka gwonna ne gutabeera nate mu nze.
18Eyali ng'ekifaananyi ky'omuntu n'alyoka ankomako nate, oyo n'ampa amaanyi.
19N'ayogera nti Ggwe omusajja omwagalwa ennyo, totya: emirembe gibeere gy'oli, beera n'amaanyi, weewaawo, beera n'amaanyi. Awo bwe yayogera nange, ne mpeebwa amaanyi, ne njogera nti Mukama wange ayogere: kubanga ompadde amaanyi.
20N'alyoka ayogera nti Omanyi kyenvudde njija gy'oli? ne kaakano naddayo okulwana n'omulangira ow'e Buperusi : era bwe ndivaayo, laba, omulangira ow'e Buyonaani alijja.
21Naye naakubuulira ebyawandiikibwa mu byawandiikibwa eby'amazima : so siwali ali ku luuyi lwange okulwanyisa abo, wabula Mikaeri, omulangira wammwe.