Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
46 verses
1Bino bye bigambo Musa bye yabuulira Isiraeri yenna emitala wa Yoludaani mu ddungu, mu Alaba awoolekera Sufu, wakati We Palani ne Toferi ne Labani ne Kazerosi ne Dizakabu.
2Lwe lugendo olw'ennaku ekkumi n'olumu okuva e Kolebu okuyita awali olusozi Seyiri okutuuka e Kadesubanea.
3Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi ana, mu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu, ku lunaku olw'omwezi ogw'olubereberye, Musa n'ayogera n'abaana ba Isiraeri, nga byonna bwe byali Mukama bye yamulagira okubabuulira;
4bwe yamala okutta Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga mu Kesuboni, ne Ogi kabaka We Basani, eyatuulanga mu Asutaloosi, mu Ederei:
5emitala wa Yoludaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa gye yatanulira okulangira amateeka gano,
6ng'ayogera nti Mukama Katonda waffe yayogerera naffe ku Kolebu, ng'ayogera nti Mwaludde okutuula ku lusozi luno:
7mukyuke, mutambule, mugende mu nsi ey'ensozi ey'Abamoli, ne mu bifo byonna ebiriraanyeewo, mu Alaba, mu nsi ey'ensozi, ey'olusenyi, ne mu Bukiika obwa ddyo, ne ku ttale ly'ennyanja, ensi y’Abakanani, ne Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati.
8Laba, ensi ngitadde mu maaso gammwe: muyingire, mulye ensi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe, Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, okubawa bo n'ezzadde lyabwe eririddawo.
9Nange nnayogera nammwe mu biro ebyo, nga ŋŋamba nti Nze siyinza kubasitula nzekka:
10Mukama Katonda wammwe abongedde, era, laba, leero muli ng’emmunyeenye ez’omu ggullu okuba obungi.
11Mukama, Katonda wa bajjajja bammwe, abongere emirundi lukumi okusinga nga bwe muli, era abawe omukisa, nga bwe yabasuubiza!
12Nze nnyinza ntya nzekka okusitula okutegana kwammwe n'omugugu gwammwe n'okuyomba kwammwe?
13Mwetwalire abasajja ab'amagezi era abategeevu era ab'amaanyi, ng'ebika byammwe bwe biri, nange ndibafuula abakulu bammwe.
14Nammwe ne muddamu ne mwogera nti Ekigambo ky'oyogedde kirungi ffe okukikola.
15Kale ne ntwala abakulu b'ebika byammwe, abasajja ab'amagezi, era ab'amaanyi, ne mbafuula abakulu bammwe, abaami b'enkumi, era abaami b'ebikumi, era abaami b'ataano, era abaami b'amakumi, era abamyuka, ng'ebika byammwe bwe biri.
16Era nnakuutira abalamuzi bammwe mu biro ebyo, nga njogera nti Muwulirenga ensonga za baganda bammwe, musalirenga emisango egy'ensonga omuntu ne muganda we ne munnaggwanga ali awamu naye.
17Temusalirizanga bwe munaasalanga emisango; munaawuliranga abato n'abakulu okubenkanyankanya; temutyanga maaso ga muntu; kubanga omusango gwa Katonda: era ensonga eneebalemanga mugireetanga gye ndi, nange naagiwuliranga.
18Era nabalagira mu biro ebyo byonna eby'abagwanira okukola.
19Awo ne tutambula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu liri lyonna eddene ery'entiisa lye mwalaba mu kkubo eriyita mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira; ne tutuuka e Kadesubanea.
20Ne mbagamba nti Mutuuse mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, Mukama Katonda waffe gy’atuwa.
21Laba, Mukama Katonda wo attadde ensi mu maaso go: yambuka olye nga Mukama Katonda wa bajjajja bo bwe yakugamba; totya so tokankana.
22Ne munsemberera buli muntu ku mmwe, ne mwogera nti Tutume abantu abanatukulembera, batukeberere ensi, bakomewo batubuulire ekkubo bwe liri lye tuba twambukiramu, n’ebibuga bwe biri mwe tulituuka.
23Ekigambo ekyo ne kinsanyusa nnyo: ne nnonda ku mmwe abantu kkumi na babiri, buli kika omuntu omu:
24ne bakyuka ne balinnya ku lusozi, ne batuuka mu kiwonvu kya Esukoli, ne bakiketta.
25Ne batwala ku bibala by'ensi mu ngalo zaabwe, ne babireeta gye tuli, ne batubuulira ne boogera nti Ensi eyo nnungi Mukama Katonda waffe gy'atuwa.
26Naye mmwe ne mutakkiriza kwambuka, naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe:
27ne mwemulugunyiza mu weema zammwe, ne mwogera nti Kubanga Mukama yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi y'e Misiri, okutugabula mu mikono gy'Abamoli, okutuzikiriza.
28Twambuka wa? baganda baffe batusaanuusizza emitima gyaffe, nga boogera nti Abantu banene bawanvu okusinga ffe; ebibuga binene, byazimbibwako ebigo okutuuka mu ggulu; era twalabayo abaana ba Abanaki.
29Awo ne ndyoka mbagamba nti Temubatya, so temubatekemukira.
30Mukama Katonda wammwe abakulembera ye anaabalwaniriranga, nga byonna bwe byali bye yabakolera mu Misiri mu maaso gammwe;
31ne mu ddungu, mwe walabira Mukama Katonda wo bwe yakusitula ng'omusajja bw'asitula omwana we, mu kkubo lyonna lye mwayitamu, okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino.
32Naye mu kigambo ekyo temwakkiriza Mukama Katonda wammwe,
33eyabakulemberanga mu kkubo, okubanoonyezanga ekifo eky'okukubiramu eweema zammwe, ng'ayima mu muliro ekiro, okubalaganga ekkubo lye munaayitamu, ne mu kire emisana.
34Awo Mukama n'awulira eddoboozi ly'ebigambo byammwe, n'asunguwala, n'alayira ng'ayogera nti
35Mazima tewalibawo n'omu ku bantu bano ab'emirembe gino emibi aliraba ensi ennungi, gye nnalayirira okuwa bajjajja bammwe,
36wabula Kalebu omwana wa Yefune, oyo y'aligiraba; era oyo ndimuwa ensi gye yalinnyako n'abaana be: kubanga yagoberera Mukama mu byonna:
37Mukama n'ansunguwalira nze ku bwammwe, ng'ayogera nti Naawe toliyingira omwo:
38Yoswa omwana wa Nuni, ayimirira mu maaso go, oyo aliyingira omwo: mugumye omwoyo; kubanga ye aligisisa Isiraeri.
39Era n'abaana bammwe abato, be mwayogera nga bagenda okuba omwandu, n'abaana bammwe, abatamanyi leero birungi newakubadde ebibi, bo baliyingira omwo, era ndigibawa bo, era baligirya.
40Naye mmwe mukyuke mutambule mu ddungu mu kkubo eriyita mu Nnyanja Emmyufu.
41Ne mulyoka muddamu ne muŋŋamba nti Tusobezza ku Mukama; tunaayambuka ne tulwana, nga byonna bwe biri Mukama Katonda waffe bye yatulagira. Ne mwesiba buli muntu ebibye eby'okulwanyisa, ne mwanguwa okulinnya ku lusozi.
42Awo Mukama n'aŋŋamba nti Bagambe nti Temulinnya so temulwana; kubanga nze siri mu mmwe; muleme okugobebwa mu maaso g'abalabe bammwe:
43Awo ne njogera nammwe, ne mutawulira; naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama ne mukwatibwa amalala, ne mulinnya ku lusozi.
44Awo Abamoli abaatuulanga ku lusozi olwo, ne bafuluma okubalumba ne babagoba, ng'enjuki bwe zikola, ne babakubirakubira ku Seyiri okutuusa ku Koluma.
45Ne muddayo ne mukaaba amaziga mu maaso ga Mukama; naye Mukama n'atawulira ddoboozi lyammwe, so n'atabategera kutu.
46Awo ne mutuulira mu Kadesi ennaku nnyingi, ng'ennaku bwe ziri ze mwamalayo.