Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
20 verses
1Bw'otabaalanga okulwana n'abalabe bo, n'olaba embalaasi n'amagaali n’abantu abakusinga obungi, tobatyanga: kubanga Mukama Katonda wo ali wamu naawe, eyakuggya mu nsi y'e Misiri.
2Awo olunaatuukanga bwe munaasembereranga olutalo, kabona anajjanga n'ayogera n'abantu,
3n'abagamba nti Wulira, ggwe Isiraeri, musemberera olutalo leero okulwana n'abalabe bammwe: omutima gwammwe teguddiriranga; temutya so temukankana, so temubatekemukira;
4kubanga Mukama Katonda wammwe ye wuuyo agenda nammwe, okubalwanirira eri abalabe bammwe okubalokola.
5Era abaami banaayogeranga n'abantu nga bagamba nti Muntu ki ali wano eyazimba ennyumba empya so nga tannagitukuza? agende addeyo eka, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'agitukuza.
6Era muntu ki ali wano eyasimba olusuku lw'emizabbibu, so nga tannalya ku bibala byalwo? agende addeyo eka aleme okufiira mu lutalo, omulala n’alya ebibala byalwo.
7Era muntu ki ali wano eyayogereza omukazi, so nga tannamuwasa? agende addeyo eka, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'amuwasa.
8Era abaami baneeyongeranga okugamba abantu ne boogera nti Muntu ki ali wano atya era alina omutima oguddirira? agende addeyo eka, emitima gya baganda be gireme okusaanuuka ng'omutima gwe.
9Awo olunaatuukanga abaami bwe banaamalanga okwogera n'abantu, banassangawo abakulu b'eggye okukulembera abantu.
10Bw'onoosembereranga ekibuga okulwana nakyo, n'olyoka okirangiriranga emirembe.
11Awo olunaatuukanga, bwe kinaddangamu eby'emirembe, ne kikuggulirawo, abantu bonna abalabika omwo banaafuukanga ab'omusolo, era banaakuweerezanga.
12Era bwe kitakkirizanga kulagaana mirembe naawe, naye nga kyagala okulwana naawe, n'olyoka okizingizanga:
13era Mukama Katonda wo bw'anaakigabulanga mu mukono gwo, onottanga buli musajja waamu n'obwogi bw'ekitala:
14naye abakazi n'abaana abato n'ebisibo ne byonna ebiri mu kibuga, omunyago gwakyo gwonna, oneetwaliranga okuba omunyago; era onoolyanga omunyago gw'abalabe bo, Mukama Katonda wo gwe yakuwa.
15Bw'otyo bw'onookolanga ebibuga byonna ebikuli ewala ennyo, ebitali bya ku bibuga bya mawanga gano.
16Naye ku bibuga by'abantu bano, Mukama Katonda wo b'akuwa okuba obusika, towonyangako kintu ekissa omukka kiremenga okufa:
17naye onoobazikiririzanga ddala; Omukiiti, n'Omwamoli, Omukanani, n'Omuperizi, Omukiivi, n'Omuyebusi; nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira:
18balemenga okubayigiriza okukola ng'eby'emizizo byabwe byonna bwe biri, bye baakoleraaga bakatonda baabwe; bwe mutyo mwandisobezza Mukama Katonda wammwe.
19Bw'onoomalanga ebiro bingi ng'ozingizza ekibuga, ng'olwana nakyo okukinyaga, tozikirizanga miti gyakyo ng'ogigalulira embazzi; kubanga oyinza okugiryako, era togitemanga; kubanga omuti ogw'omu nsiko muntu, ggwe okuguzingiza gwo?
20Emiti egyo gyokka gy'omanyi nga si miti gya kulyako, gy'onoozikirizanga gy'onootemanga; era onoozimbiranga ebigo ku kibuga ekirwana naawe, okutuusa lwe kirigwa.