Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
25 verses
1Eyafumitibwa, oba eyasalibwako ebitundu by'omubiri gwe eby'ekyama, tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
2Omwana omwebolereze tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusa ku mirembe ekkumi tewabangawo ku babe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
3Omwamoni oba Omumowaabu tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusa ku mirembe ekkumi tewabangawo ku bantu baabwe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama ennaku zonna:
4kubanga tebaabasisinkana mu kkubo nga balina emmere n'amazzi, bwe mwava mu Misiri; era kubanga baawerera Balamu omwana wa Byoli okumuggya mu Pesoli eky'omu Mesopotamiya, okukukolimira.
5Naye Mukama Katonda wo yagaana okuwulira Balamu; naye Mukama Katonda wo n'afuula ekikolimo okuba omukisa gy'oli, kubanga Mukama Katonda wo yakwagala.
6Tonoonyanga mirembe gyabwe newakubadde omukisa gwabwe ennaku zo zonna emirembe gyonna.
7Tokyawanga Mwedomu; kubanga muganda wo: tokyawanga Mumisiri; kubanga wali mugenyi mu nsi yaabwe.
8Abaana bannakabirye abalibazaalirwa baliyingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
9Bw'otabaalanga mu nsiisira okulwana n'abalabe bo, oneekuumanga mu buli kintu ekibi.
10Bwe wabanga mu mmwe omusajja yenna, atali mulongoofu olw'ekyo ekinaamubangako ekiro, anaafulumanga mu lusiisira, tayingiranga munda w'olusiisira:
11naye olunaatuukanga, obudde bwe buwungeeranga, anaanaabanga n'amazzi: kale enjuba bw'emalanga okugwa, n'ayingiranga mu lusiisira.
12Era onoobanga n'ekifo ebweru w'olusiisira, gy'onoofulumanga:
13era onoobanga n'ekifumu mu bintu byo; awo olunaatuukanga, bw'onoofulumanga n'otuula, onookisimyanga n'okyuka n'obikka ku ekyo ekinaakuvangamu:
14kubanga Mukama Katonda wo atambulira wakati, mu lusiisira lwo, okukuwonya, n'okugabula abalabe bo mu maaso go; olusiisira lwo kye lunaavanga lubeera olutukuvu: alemenga okulaba mu ggwe ekintu kyonna ekitali kirongoofu, n’akukuba amabega.
15Tozzanga eri mukama we omuddu eyabomba ku mukama we okujja gy'oli:
16anaatuulanga naawe, wakati mu ggwe, mu kifo ky'anaayagalanga munda w'enzigi zo olumu, w'anaasinganga okusiima: tomujooganga.
17Tewabanga mwenzi ku bawala ba Isiraeri, so tewabanga alya ebisiyaga ku batabani ba Isiraeri.
18Toleetanga mpeera ya mwenzi, newakubadde empeera y'embwa, mu nnyumba ya Mukama Katonda wo olw'obweyamo bwonna: kubanga ebyo byombiriri bya mizizo eri Mukama Katonda wo.
19Towolanga muganda wo lwa magoba; amagoba ag'effeeza, amagoba ag'ebyokulya, amagoba ag'ekintu kyonna ekiwolwa olw'amagoba:
20munnaggwanga si kibi okumuwola olw'amagoba; naye muganda wo tomuwolanga lwa magoba: Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu byonna by'oteekako omukono gwo, mu nsi gy'oyingiramu okugirya.
21Bw'oneeyamanga obweyamo Mukama Katonda wo, totenguwanga kubusasula: kubanga Mukama Katonda wo talirema kububuuza gy'oli: era kyandibadde kibi mu ggwe:
22Naye bw'olekanga okweyama, tekiriba kibi mu ggwe.
23Ekyali kivudde mu mimwa gyo onookyekuumanga n'okikola; nga bwe weeyama Mukama Katonda wo, ekiweebwayo ku bubwo, kye wasuubiza n'akamwa ko.
24Bw'oyingiranga mu lusuku olw'emizabbibu olwa munno, si kibi okulya ezabbibu okukkuta nga bw'oyagala ggwe: naye toterekangako mu kintu kyo.
25Bw'oyingiranga mu ŋŋaano etennakungulwa eya munno, si kibi okunoga ebirimba n'engalo zo; naye toteekanga kiwabyo kuŋŋaano etennakungulwa eya munno.