Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
19 verses
1Bwe wabangawo empaka n'abantu, ne bajja okusalirwa omusango, ne bagubasalira; banaasaliranga omutuukirivu okugusinga, n’omubi okusingibwa;
2awo olunaatuukanga, omubi bw'abanga azzizza ogunaamukubya, omulamuzi anaamugalamizanga, anaamukubiranga mu maaso ge, ng'obubi bwe bwe buli, emiggo emibale.
3Ayinza okumusalira emiggo ana, tasussangawo: muganda wo alemenga okufaanana atali wa muwendo gy'oli, bw'abanga asussizzaawo ng'amukubye emiggo mingi okusinga egyo.
4Togisibanga kamwa ente ng'ewuula.
5Ab'oluganda bwe banaabeeranga awamu, omu ku bo n’afa, nga talina mutabani, omukazi w'oyo afudde tafumbirwanga walala atali wa luganda: muganda wa bba ayingire gy'ali, amuwase, amukolere ebigwanira muganda wa bba
6Awo olunaatuukanga, omubereberye gw'alizaala y'anaasikiranga erinnya lya muganda we eyafa, erinnya lye liremenga okusangalibwa okuva mu Isiraeri.
7Era omusajja bw'abanga tayagala kuwasa mukazi wa muganda we, mukazi wa muganda we ayambukenga mu mulyango eri abakadde, ayogere nti Muganda wa baze agaana okuyimusiza muganda we erinnya mu Isiraeri, tayagala kunkolera ebigwanira muganda wa baze.
8Kale abakadde b'omu kibuga kyabwe bamuyitenga, bamugambe; kale bw'anaayimiriranga n'ayogera nti Saagala kumuwasa;
9kale mukazi wa muganda we ajjenga gy'ali mu maaso g'abakadde, anaanule engatto mu kigere kye, awande amalusu mu maaso ge; addemu ayogere nti Bwe kityo bwe kinaakolerwanga, omusajja atazimba nnyumba ya muganda we.
10Era erinnya lye liyitibwenga mu Isiraeri nti Nnyumba y'oyo eyanaanulirwa engatto.
11Abasajja bwe babanga balwana bokka na bokka, mukazi w'omu n'asembera okulokola bba mu mukono gw'oyo amukuba, n'agolola omukono gwe, n'amukwata wamberi:
12omutemangako omukono, eriiso lyo terisaasiranga.
13Tobanga na bya kupima ebitali bimu, ekinene n'ekitono, mu nsawo yo.
14Tobanga na bigero ebitali bimu, ekinene n'ekitono; mu nnyumba yo.
15Obenga n'eky'okupima ekituukirivu ekitasoba; obenga n'ekigero ekituukirivu ekitasoba: ennaku zo zibenga nnyingi mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.
16Kubanga bonna abakola ebiri ng'ebyo, bonna abakola ebitali bya butuukirivu, muzizo eri Mukama Katonda wo.
17Jjukira Amaleki bwe yakukolera mu kkubo bwe mwali nga muva mu Misiri;
18bwe yakusanga mu kkubo, n'atta abasembi ennyuma wo, abanafu bonna ab'ennyuma, bwe wazirika era ng'okooye; n'atatya Katonda.
19Awo olulituuka, Mukama Katonda wo bw'aliba ng'akuwadde okuwummula eri abalabe bo bonna enjuyi zonna, mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika okugirya; kyoliva osangula okujjukizibwa kwa Amaleki wansi w'eggulu: teweerabiranga.