Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
29 verses
1Ebyo bye bigambo eby'endagaano Mukama gye yalagira Musa okulagaana n'abaana ba Isiraeri mu nsi ya Mowaabu, obutassaako ndagaano gye yalagaana nabo ku Kolebu.
2Era Musa n'ayita Isiraeri yenna n'abagamba nti Mwalaba byonna Mukama bye yakolera mu maaso gammwe mu nsi y'e Misiri eri Falaawo n'eri abaddu be bonna n'eri ensi ye yonna;
3okukema okukulu amaaso go kwe gaalaba, n'obubonero, n'eby'amagero biri ebikulu:
4naye Mukama tabawadde mutima gwa kutegeera n'amaaso ag'okulaba n'amatu ag'okuwulira ne leero.
5Nange naakamaze emyaka ana nga mbakulembera mu ddungu: ebyambalo byammwe tebikaddiye ku mmwe, n'engatto yo tekaddiye ku kigere kyo.
6Temwalyanga ku mmere so temwanywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza: mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe:
7Era bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w'e Kesuboni ne Ogi kabaka We Basani ne basitula okulwana naffe, ne tubatta:
8ne tulya ensi yaabwe, ne tugiwa Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu ky'ekika ky'Abamanase, okuba obutaka.
9Kale mwekuumenga ebigambo eby'endagaano eno, mubikolenga; mulyoke mulabenga omukisa mu byonna bye mukola.
10Muyimiridde leero mwenna mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; abakulu bammwe, ebika byammwe, abakadde bammwe, n'abaami bammwe, be basajja bonna aba Isiraeri,
11abaana bammwe abato, abakazi bammwe, ne munnaggwanga wo ali wakati mu nsiisira zo; okuva ku mutyabi w'enku zo okutuuka ku musenyi w'amazzi go:
12olagaane endagaano ya Mukama Katonda wo ne mu kirayiro kye, by'alagaana naawe leero:
13akunyweze leero gy'ali ye okubanga eggwanga, era abeerenga Katonda gy'oli, nga bwe yakugamba, era nga bwe yalayirira bajjajja bo Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.
14So siragaana ndagaano eno ne ndayira ekirayiro kino eri mmwe mwekka;
15naye eri oyo ayimiridde wano awamu naffe leero mu maaso ga Mukama Katonda waffe, era n'eri oyo atali wano wamu naffe leero:
16(kubanga mumanyi bwe twatuulanga mu nsi y'e Misiri; era bwe twaggukira wakati mu mawanga ge mwayitamu;
17era mwalabanga eby'emizizo byabwe, n'ebifaanaayi byabwe, emiti n'amayinja, effeeza n'ezaabu, ebyali mu bo;)
18walemenga okuba mu mmwe omusajja oba mukazi oba nnyumba oba kika, akyamya omutima gwe leero okuva ku Mukama Katonda waffe, okugenda okuweereza bakatonda ab'amawanga gali; walemenga okuba mu mmwe ekikolo ekibala akalulwe ne abusinso;
19era olunaatuukanga ng'awulira ebigambo eby'ekikolimo kino, ne yeenyumiriza mu mutima gwe, ng'ayogera nti Naabanga n'emirembe ne bwe nnaatambuliranga mu bukakanyavu bw'omutima gwange, okuzikiriza oyo atobye wamu n'omukalu:
20Mukama taamusonyiwenga; naye obusungu bwa Mukama n'obuggya bwe ne biryoka binyookera omusajja oyo, n'ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino kinaamubangako, era Mukama anaasangulanga erinnya lye okuliggya wansi w'eggulu.
21Era Mukama anaamwawuliranga obubi okumuggya mu bika byonna ebya Isiraeri, ng'ebikolimo byonna bwe biri eby'endagaano ewandiikiddwa mu kitabo kino eky'amateeka.
22Era ezzadde eririddawo abaana bammwe abaliyimuka okubaddirira, ne munnaggwanga aliva mu nsi y'ewala, balyogera, bwe baliraba ebibonyoobonyo by'ensi eyo n'endwadde Mukama z'agirwazizza;
23era ng'ensi yaayo yonna kibiriiti na munnyo na kusiriira, nga si nsige, so tebala, so n'omuddo gwonna tegumera omwo, ng'okusuulibwa kw'e Sodoma ne Ggomola, Aduma ne Zeboyimu, Mukama bye yasuula mu busungu bwe ne mu kiruyi kye:
24amawanga gonna galyogera nti Mukama ekimukozezza ensi eno bwe kityo kiki? okwokya kw'obusungu buno obungi makulu ki?
25Abantu ne balyoka boogera nti Kubanga baaleka endagaano ya Mukama, Katonda wa bajjajja baabwe, gye yalagaana nabo bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri;
26ne bagenda ne baweereza bakatonda abalala, ne babasinza, bakatonda be baali tebamanyi, era be yali tabawadde
27obusungu bwa Mukama kye bwava bubuubuuka ku nsi eno, okugireetako ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino;
28kale Mukama n'abasimbula mu nsi yaabwe, mu busungu ne mu kiruyi ne mu kunyiiga okungi, n'abasuula mu nsi endala, nga leero.
29Eby'ekyama biba bya Mukama Katonda waffe: naye ebibikkulibwa biba byaffe era bya baana baffe, emirembe gyonna; tulyoke tukolenga ebigambo byonna eby'omu mateeka gano.