Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Awo Musa n'ava mu nsenyi za Mowaabu n'alinnya ku lusozi Nebo, ku ntikko ya Pisuga, olwolekera Yeriko: Mukama n'amulaga ensi yonna eye Giriyaadi okutuusa ku Ddaani;
2ne Nafutaali yonna, n'ensi, ya Efulayimu ne Manase, n'ensi yonna eya Yuda okutuusa ku nnyanja ey'emabega;
3n'Obukiika obwa ddyo, n'Olusenyi olw'ekiwonvu eky'e Yeriko ekibuga eky'enkindu okutuusa ku Zowaali.
4Mukama n'amugamba nti Eyo ye nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti Ndigiwa ezzadde lyo nkugirengezezza n'amaaso go, naye tolisomoka kugendayo.
5Awo Musa omuddu wa Mukama n'afiira eyo mu nsi ya Mowaabu, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.
6N'amuziika mu kiwonvu mu nsi ya Mowaabu awoolekera e Besupyoli: naye tewali muntu amanyi amalaalo ge ne leero.
7Era Musa yali yaakamaze emyaka kikumi mu abiri bwe yafa; eriiso lye lyali terizibye, so n'amaanyi ge ag'obuzaaliranwa gaali tegakendeddeeko.
8Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Musa amaziga mu nsenyi za Mowaabu ennaku asatu kale ennaku ez'okukaabiramu nga banakuwalira Musa ne ziggwa.
9Era Yoswa omwana wa Nuni yali ajjudde omwoyo ogw'amagezi; kubanga Musa yali amutaddeko emikono; abaana ba Isiraeri ne bamuwuliranga, ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.
10Era tewannayimuka mu Isiraeri nabbi afaanana Musa, Mukama gwe yamanya ng'alabagana n'amaaso:
11mu bubonero obwo bwonna n'eby'amagero, Mukama bye yamutuma okukola mu nsi y'e Misiri, eri Falaawo, n'eri abaddu be bonna, n'eri ensi ye yonna;
12ne mu mukono ogwo gwonna ogw'amaanyi, ne mu ntiisa eyo yonna ennene, Musa gye yakoleranga mu maaso ga Isiraeri yenna.