Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
29 verses
1Wulira, ggwe Isiraeri: ogenda okusomoka Yoludaani leero, okuyingira okulya amawanga agakusinga obunene n'amaanyi, ebibuga ebinene ebyazimbibwako ebigo okutuuka mu ggulu,
2abantu abanene abawanvu, abaana b'Anaki, b'omanyi, era be wawulirako nga bagamba nti Ani ayinza okuyimirira mu maaso g'abaana ba Anaki?
3Kale manya leero nga Mukama Katonda wo ye wuuyo asomoka okukukulembera ng'omuliro ogwokya; ye alibazikiriza, era alibamegga mu maaso go: bw'otyo bw'olibagobamu, n'obazikiriza mangu, nga Mukama bwe yakugamba.
4Toyogeranga mu mutima gwo, Mukama Katonda wo bw'alimala okubasindika mu maaso go, ng'ogamba nti Olw'obutuukirivu bwange Mukama kyavudde annyingiza okulya ensi eno: kubanga olw'obubi bw'amawanga ago Mukama kyava agagoba mu maaso go.
5Si lwa butuukirivu bwo so si lwa bugolokofu bwa mutima gwo, kyova oyingira okulya ensi yaabwe: naye olw'obubi bw'amawanga ago Mukama Katonda wo kyava agagoba mu maaso go, era alyoke anyweze ekigambo Mukama kye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.
6Kale manya nga Mukama Katonda wo takuwa nsi eno nnungi okugirya lwa butuukirivu bwo; kubanga oli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu.
7Jjukira teweerabiranga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo mu ddungu: okuva ku lunaku lwe waviiramu mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwajja mu kifo kino; mujeemera Mukama.
8Era ne ku Kolebu mwasunguwaza Mukama, Mukama n'abanyiigira okubazikiriza.
9Bwe nnali nga mmaze okulinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja, bye bipande eby'endagaano Mukama gye yalagaana nammwe, ne ndyoka mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; saalyanga mmere so saanywanga mazzi.
10Mukama n’ampa ebipande bibiri eby'amayinja ebyawandiikibwako n'engalo ya Katonda; era ku byo kwawandiikibwa ng'ebigambo byonna bwe biri, Mukama bye yayogera nammwe ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako.
11Awo olwatuuka ennaku amakumi ana bwe zaayitawo emisana n'ekiro, Mukama n'ampa ebipande ebibiri eby'amayinja, bye bipande eby'endagaano.
12Mukama n'aŋŋamba nti Golokoka ove wano oserengete mangu: kubanga abantu bo be waggya mu Misiri beeyoonoonye; bakyamye mangu okuva mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ekifaanaayi ekisaanuuse.
13Era Mukama ne yeeyongera n'aŋŋamba nti Ndabye eggwanga lino, era, laba, lye ggwanga eririna ensingo enkakanyavu:
14ndeka mbazikirize, nsangule erinnya lyabwe wansi w'eggulu: era ndifuula ggwe eggwanga eribasinga amaanyi n'obukulu.
15Awo ne nkyuka ne nva ku lusozi, era olusozi nga lwaka omuliro: n’ebipande eby'endagaano byombi nga biri mu mikono gyange gyombi.
16Ne ntunula, era, laba, mwali mumaze okusobya ku Mukama Katonda wammwe; mwali mumaze okwekolera ennyana ensaanuuse: mwali mumaze okukyama amangu okuva mu kkubo Mukama lye yabalagira.
17Ne nkwata ebipande byombi, ne mbisuula mu mikono gyange gyombi, ne mbimenya mu maaso gammwe.
18Ne nvuunamira mu maaso ga Mukama, ng'olubereberye, ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; saalyanga mmere so saanywanga mazzi; olw'okwonoona kwammwe kwonna kwe mwayonoona, nga mukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi okumusunguwaza.
19Kubanga natya obusungu n'ekiruyi, Mukama bwe yali abasunguwalidde okubazikiriza. Naye Mukama n’ampulira n'omulundi guli.
20Mukama n’asunguwalira nnyo Alooni okumuzikiriza: era ne nsabira ne Alooni mu biro ebyo.
21Ne nzirira ekibi kyammwe, ennyana gye mwali mukoze, ne ngyokya omuliro, ne ngisambirira, nga ngisekulasekula nnyo, okutuusa lwe yafaanana ng'enfuufu: ne nsuula enfuufu yaayo mu kagga akaserengeta okuva ku lusozi.
22Era e Tabera, n’e Masa, n'e Kiberosukataava mwasunguwalizaayo Mukama.
23Awo Mukama bwe yabatuma okuva e Kadesubanea, ng'ayogera nti Mwambuke mulye ensi gye mbawadde; ne mulyoka mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe, so temwamukkiriza, so temwawulira ddoboozi lye.
24Mujeemera Mukama okuva ku lunaku lwe nnabamanya.
25Awo ne nvuunamira mu maaso ga Mukama ennaku amakumi ana emisana n’ekiro ze nnavuunamirira; kubanga Mukama yali ayogedde ng'agenda okubazikiriza.
26Ne nsaba Mukama ne njogera nti Ai Mukama Katonda, tozikiriza bantu bo na busika bwo, be wanunula olw'obukulu bwo, be waggya mu Misiri n'engalo ez'amaanyi.
27Jjukira abaddu bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo; totunuulira bukakanyavu bwa bantu bano newakubadde obubi bwabwe newakubadde okwonoona kwabwe:
28ensi gye watuggyamu ereme okwogera nti Kubanga Mukama teyayinza kubaleeta: mu nsi gye yabasuubiza; era kubanga yabakyawa, kyeyava abafulumya mu ddungu okubatta.
29Naye be bantu bo, era bwe busika bwo, be waggyamu n'obuyinza bwo obungi n’omukono gwo ogwagololwa.