Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
20 verses
1Ensowera enfu ziwunyisa ekivundu amafuta ag'omugavu ag'omufumbi wa kalifuwa: bwe kityo obusirusiru obutono bumalawo amagezi n'ekitiibwa.
2Omutima gw'omugezigezi guba ku mukono gwe ogwa ddyo; naye omutima gw'omusirusiru guba ku mukono gwe ogwa kkono.
3Era, weewaawo, omusirusiru bw'aba nga atambulira mu kkubo, okutegeera kwe ne kumuggwaako, n'agamba buli muntu nga musirusiru.
4Omwoyo gw'omukulu bwe gukugolokokerako, tovanga mu kifo kyo; kubanga okwemenya kukkakkanya okunyiiga okungi.
5Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w'enjuba, ekiri ng'okusobya okuva eri omukulu:
6obusirusiru aga butuuzibwa awali ekitiibwa ekinene, abagagga ne batuula mu kifo ekya wansi
7Nalaba abaddu nga beebagadde embalaasi, n'abalangira nga batambula ng'abaddu ku ttaka.
8Asima obunnya alibugwamu; era awagula olukomera, omusota gulimuluma.
9Buli asimula amayinja galimuluma; n'oyo ayasa enku zimuleetera akabi.
10Ekyuma bwe kikoŋŋontera, n'olema okuwagala omumwa gwakyo, kale kikugwanira okweyongera okussaako amaanyi: naye amagezi gagasa okuluŋŋamya.
11Omusota bwe guluma nga tegunnalogebwa, kale omulogo taliiko ky'agasa.
12Ebigambo eby'akamwa k'omugezigezi bya kisa; naye emimwa gy'omusirusiru girimira ye yennyini.
13Okusooka kw'ebigambo eby'omu kamwa ke busirusiru: n'enkomerero y'okwogera kwe ddalu erireeta akabi.
14Era omusirusiru ayongerayongera ebigambo: naye omuntu tamanyi ebiribaawo; n'ebiribaawo oluvannyuma lwe ani ayinza okumubuulira?
15Okutegana kw'abasirusiru kubakooyesa bonna kinnoomu, kubanga tamanyi w'aba ayita okugenda mu kibuga.
16Zikusanze, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana muto, abakulu bo ne balya enkya!
17Olina omukisa, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana w'abakungu, abakulu bo ne baliira mu ntuuko olw'okufuna amaanyi so si lwa kutamiira!
18Olw'obugayaavu akasolya kabotoka; era olw'okugayaala kw'emikono ennyumba etonnya.
19Embaga bagifumbira kuleeta nseko, n'omwenge gusanyusa obulamu: ne ffeeza eyanukulira byonna.
20Tokolimiranga kabaka, newakubadde mu kulowooza kwo; so tokolimiranga mugagga mu nju yo mw'osula: kubanga ennyonyi ey'omu bbanga eritwala eddoboozi, n'ekirina ebiwaawaatiro kiribuulira ekigambo ekyo.