Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
14 verses
1Era ojjuukiriranga Omutonzi wo mu biro eby'obuvubuka bwo, ennaku embi nga tezinnajja n'emyaka nga teginnasembera bw'olyogera nti Sigisanyukira n'akamu;
2enjuba n'omusana n'omwezi n'emmunyeenye nga tebinnazikizibwa, ebire ne bikomawo enkuba ng'emaze okutonnya.
3ku lunaku abakuumi b'ennyumba kwe balikankanira, abasajja ab'amaanyi ne bakutama, n'abo abasa ne balekayo kubanga batono, n'abo abalingiza mu madirisa ne bazikizibwa,
4enzigi ne ziggalwawo mu luguudo; eddoboozi ery'okusa nga likkakkanye, ne wabaawo ayimuka olw'okukaaba kw'ennyonyi, n'abawala bonna ab'okuyimba bwe balikkakkanyizibwa;
5weewaawo, balitya ekyo ekigulumizibwa, ebitiisa ne biba mu kkubo; n'omulozi gulimulisa, n’ejjanzi lirizitowa, ne piripiri aliggwaawo: kubanga omuntu agenda mu nnyumba ye ey'olubeerera, abakungubazi ne batambulatambula mu nguudo:
6omugwa ogwa ffeeza nga tegunnasumulukuka, n'ekibya ekya zaabu nga tekinnamenyeka, n'ensuwa nga tennayatika ku luzzi ne nnamuziga nga tannayatika ku kidiba;
7enfuufu n'edda mu ttaka nga bwe yali, omwoyo ne gudda eri Katonda eyagugaba.
8Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw'ayogera Omubuulizi; byonna butaliimu.
9Era nate kubanga Omubuulizi yalina amagezi, ne yeeyongera okuyigiriza abantu okumanya; weewaawo, yafumiitirizanga n'anoonya n'aliraanya engero nnyingi.
10Omubuulizi yanoonya okulaba ebigambo ebikkirizibwa, n'ebyo ebyawandiikibwa n'obugolokofu, bye bigambo eby'amazima.
11Ebigambo eby'abagezigezi biri ng'emiwunda, era ebigambo eby'ebifunvu by'amakuŋŋaaniro biri ng'enninga ezikomererwa obulungi, ebiweebwa okuva eri omusumba omu.
12Era nate, mwana wange, labuka: okukolanga ebitabo ebingi tekuliiko gye kukoma; n'okuyiga ennyo kukooya omubiri.
13Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonna biwuliddwa: otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu.
14Kubanga Katonda alisala omusango gwa buli mulimu, wamu na buli kigambo ekyakwekebwa, oba nga kirungi oba nga kibi.