Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
22 verses
1Buli kintu kiriko entuuko yaakyo, na buli kigambo ekiri wansi w'eggulu kiriko ekiseera kyakyo:
2ekiseera eky'okuzaalirwamu, n'ekiseera eky'okufiiramu; ekiseera eky'okusimbiramu, n'ekiseera eky'okusimbuliramu ekyo ekyasimbibwa;
3ekiseera eky'okuttiramu, n'ekiseera eky'okuwonyezaamu; ekiseera eky'okwabizaamu, n'ekiseera eky'okuzimbiramu;
4ekiseera eky'okukaabiramu amaziga, n'ekiseera eky'okusekeramu; ekiseera eky'okuwuubaaliramu, n'ekiseera eky'okuziniramu;
5ekiseera eky'okusuuliramu amayinja, n'ekiseera eky'okukuŋŋaanyizaamu amayinja; ekiseera eky'okugwiramu mu kifuba, n'ekiseera eky'obutagwiramu mu kifuba;
6ekiseera eky'okunoonyezaamu, n'ekiseera eky'okubulirwamu; ekiseera eky'okukuumiramu, n'ekiseera eky'okusuuliramu;
7ekiseera eky'okuyulizaamu, n'eluseera eky'okutungiramu; ekiseera eky'okusirikiramu, n'ekiseera eky'okwogereramu;
8ekiseera eky'okwagaliramu, n'ekiseera eky'okukyayiramu; ekiseera eky'okulwaniramu, n'ekiseera eky'okutabaganiramu.
9Magoba ki gaafuna oyo akola emirimu mu ekyo mw'ateganira?
10Nalaba okutegana Katonda kwe yawa abaana b'abantu okubateganya.
11Yafuula buli kintu okuba ekirungi mu kiseera kyakyo: era yateeka ensi mu mutima gwabwe, naye agiteekamu bw'atyo omuntu n'okuyinza n'atayinza kukebera mulimu Katonda gwe yakola okuva ku lubereberye okutuuka ku nkomerero.
12Mmanyi nga tewali kintu kibagasa okusinga okusanyuka n'okukola obulungi ennaku zonna nga bakyali balamu.
13Era buli muntu okulyanga n'okunywanga n'okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna, kye kirabo kya Katonda.
14Mmanyi nga buli Katonda ky'akola kinaabanga kya lubeerera; tewali kintu kiyinzika okukyongerwako, newakubadde okukisalibwako: era Katonda kyeyava akikola abantu balyoke batye mu maaso ge.
15Ekiriwo kyamala dda okubaawo; n'ekyo ekigenda okubaawo kyabaawo dda; era Katonda anoonya nate ekyo ekyayitawo.
16Era nate nalaba wansi w'enjuba mu kifo eky'okusaliramu emisango ng'obubi bwali eyo; ne mu kifo eky'obutuukirivu ng'obubi bwali omwo.
17Ne njogera mu mutima gwange nti Katonda ye alisala emisango gy'omutuukirivu n'omubi: kubanga eyo eriyo ekiseera eky'ekigambo kyonna n'omulimu gwonna.
18Ne njogera mu mutima gwange nti Kiba bwe kityo olw'abaana b'abantu Katonda alyoke abakeme, balabe nga bo bennyini bali ng'ensolo obusolo.
19Kubanga ekyo ekituuka ku baana b'abantu kye kituuka ku nsolo; ekigambo kimu kibatuukako; ng'eyo bw'efa, n'oyo bw'afa bw'atyo; weewaawo, bonna balina omukka gumu; so abantu tebaliiko bwe basinga nsolo: kubanga byonna butaliimu.
20Bonna bagenda mu kifo kimu; bonna baava mu nfuufu, era bonna badda mu nfuufu nate.
21Ani amanyi omwoyo gw'abantu oba nga gulinnya mu ggulu, n'omwoyo gw'ensolo oba gukka wansi mu ttaka?
22Kyennava ndaba nga tewali kintu kisinga kino obulungi, omuntu okusanyukiranga emirimu gye; kubanga ogwo gwe mugabo gwe: kubanga ani alimukomyawo okulaba ebinaabangawo oluvannyuma lwe?