Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
20 verses
1Okuumanga ekigere kyo bw'ogendanga mu nnyumba ya Katonda; kubanga okusembera okuwulira kusinga okuwaayo ssaddaaka ey'abasirusiru: kubanga tebamanyi nga bakola bubi.
2Akamwako tekanguyirizanga, so n'omutima gwo guleme okwanguyirizanga okwogera ekigambo kyonna mu maaso ga Katonda; kubanga Katonda ali mu ggulu, naawe oli ku nsi: kale ebigambo byo bibeerenga bitono.
3Kubanga ekirooto kijjira wamu n'olufulube lw'emirimu; n'eddoboozi ly'omusirusiru lijjira wamu n'olufulube lw'ebigambo.
4Bw'oneeyamanga obweyamo eri Katonda, tolwangawo okubusasula; kubanga tasanyukira basirusiru: osasulanga ekyo kye weeyama.
5Waakiri oleme okweyama, okusinga okweyama n'olema okusasula.
6Toganyanga kamwa ko okwonoonyesa omubiri gwo; so toyogeranga mu maaso ga malayika nga kwali kusobya: Katonda kiki ekinaaba kimusunguwaliza eddoboozi lyo, n'azikiriza omulimu ogw'emikono gyo?
7Kubanga bwe kituukirira bwe kityo olw'olufulube lw'ebirooto n'obutaliimu n'ebigambo ebingi: naye ggwe otyanga Katonda.
8Bw'onoolabanga abaavu nga babajooga, era nga balya ensonga olw'amaanyi ne banyoola omusango mu ssaza, teweewuunyanga kigambo ekyo: kubanga asinga abagulumivu obugulumivu assaayo omwoyo; era waliwo abasinga bo obugulumivu.
9Nate ekyengera eky'ettaka kiba kya bonna: kabaka yennyini ennimiro emuweereza.
10Ayagala ffeeza takkutenga ffeeza; so n'oyo ayagala obungi, ekyengera tekiimukkusenga: era n'ekyo butaliimu.
11Ebintu bwe byeyongera, n'abo ababirya ne beeyongera: kale magoba ki nannyini byo g'afuna, wabula okubiraba obulabi n'amaaso ge?
12Otulo otw'omukozi w'emirimu tumuwoomera, oba nga alya bitono oba nga bingi: naye omukkuto ogw'omugagga tegumuganya kwebaka.
13Waliwo ekibi ekinene kye nnalaba wansi w'eggulu, kye kino, obugagga nnyini bwo bw'akuuma ne yeerumya yekka:
14obugagga obwo ne buzikirira olw'ebigambo ebibi ebiggwaawo; era bw'aba ng'azadde omwana, nga temuli kintu mu mukono gwe.
15Nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina, ng'ali bwereere, bw'atyo bw'aliddayo, nga bwe yajja, so talitwala kintu olw'okutegana kwe, ky'ayinza okutwala mu mukono gwe.
16Era n'ekyo kibi kinene, ng'aligenda ng'ali bw'atyo mu bigambo byonna era; nga bwe yajja: era magoba ki g'alina n'okutegana n'ateganira mpewo?
17Era ennaku ze zonna aliira mu kizikiza, era yeeraliikirira nnyo, era abaako endwadde n'obusungu.
18Laba, ekyo kye nnalaba nga kye kiwooma kye kisaana kye kino, omuntu okulyanga n'okunywanga n'okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna kw'ategana wansi w'enjuba ennaku zonna ez'obulamu bwe Katonda bwe yamuwa: kubanga ogwo gwe mugabo gwe.
19Era buli muntu Katonda gw'awadde obugagga n'ebintu, era ng'amuwadde obuyinza okulyangako n'okuddiranga omugabo gwe n'okusanyukiranga okutegana kwe; ekyo kye kirabo kya Katonda.
20Kubanga talijjukira nnyo ennaku ez'obulamu bwe; kubanga Katonda amuddamu olw'okusanyuka kw'omutima gwe.