Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
29 verses
1Erinnya eddungi lisinga amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi; n'olunaku olw'okufiiramu lusinga olunaku olw'okuzaalirwamu.
2Okugenda mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu, kusinga okugenda mu nnyumba ey'okuliiramu embaga: kubanga eyo ye nkomerero y'abantu bonna; n'omulamu alikiteeka ku mutima gwe.
3Ennaku zisinga enseko: kubanga obuyinike bw'amaaso bwe busannyusa omutima.
4Omutima gw'abagezigezi guba mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu; naye omutima gw'abasirusiru guba mu nnyumba ey'ebinyumu.
5Okuwulira okunenya kw'omugezigezi kusinga okuwulira oluyimba olw'abasirusiru.
6Kubanga amaggwa nga bwe gatulikira wansi w'entamu, enseko z'omusirusiru bwe ziba bwe zityo: era n'ezo butaliimu
7Mazima obukamuzi bufuula omugezigezi okuba omusirusiru; era enguzi emalamu okutegeera.
8Enkomerero y'ekigambo esinga obulungi okusooka kwakyo: alina omwoyo ogugumiikiriza asinga alina omwoyo ogw'amalala.
9Toyangayirizanga mu mwoyo gwo okusunguwala: kubanga obusungu bubeera mu kifuba ky'abasirusiru.
10Toyogeranga nti Nsonga ki ennaku ez'edda kyezaavanga zisinga zinno? kubanga tobuuza kino lwa magezi.
11Amagezi genkana obulungi obusika: weewaawo, gasinga okuwooma eri abo abalaba enjuba.
12Kubanga amagezi kigo, nga ffeeza bw'eri ekigo: naye okumanya kyekuva kusinga obulungi, kubanga amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.
13Lowooza omulimu gwa Katonda: kubanga ani ayinza okuluŋŋamya ekyo ye kye yanyoola?
14Osanyukiranga ku lunaku olw'okulabiramu omukisa, era olowoolezanga ku lunaku olw'okulabiramu ennaku: Katonda yaliraanya olwo ku mabbali g'olwo, omuntu alemenga okulaba ekintu kyonna ekiriba oluvannyuma lwe.
15Ebyo byonna nabirabira mu nnaku ez'obutaliimu bwange: waliwo omuntu omutuukirivu azikirira mu butuukirivu bwe, era waliwo omuntu omubi awangaalira mu kukola obubi bwe.
16Tosukkiriranga kuba mutuukirivu; so teweefuulanga asukkiriza amagezi: lwaki ggwe okwezikiriza?
17Tosukkiriranga kuba mubi, so tobanga musirusiru: lwaki ggwe okufa ekiseera kyo nga tekinnatuuka?
18Kirungi okwatenga ekyo; weewaawo, na kiri tokiggyaako mukono gwo: kubanga atya Katonda anaavanga mu byonna.
19Amagezi maanyi eri omugezigezi okusinga abafuga kkumi abali mu kibuga.
20Mazima tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi n'atayonoona.
21Era tossaayo mwoyo eri ebigambo byonna ebyogerwa; olemenga okuwulira omuddu wo ng'akukolimira:
22kubanga emirundi mingi omutima gwo ggwe nagwo gumanyi nga naawe bw'otyo wakolimira abalala.
23Ebyo byonna nabikema lwa magezi: nayogera nti Ndiba mugezigezi; naye ne gambeera wala.
24Ekiriwo kiri wala era kigenda wansi nnyo; ani ayinza okukikebeera?
25Nakyuka, omutima gwange ne ngukakasa okumanyanga n'okukenneenyanga, n'okunoonyanga amagezi n'ensonga z'ebigambo n'okumanyanga ng'obubi busirusiru, era ng'obusirusiru ddalu:
26era ndaba ekigambo ekisinga okufa okubalagala, ye mukazi, omutima gwe byambika n'ebitimba; n'emikono gye giri ng'enjegere: buli asanyusa Katonda alimuwona; naye alina ebibi alikwatibwa ye.
27Laba, kino kye nnalaba, bw'ayogera Omubuulizi, nga nteeka ekigambo ekirala ku kirala okunoonya ensonga:
28emmeeme yange ky'ekyanoonya, naye sinnakiraba: omusajja omu mu lukumi gwe nnalaba; naye omukazi mu abo bonna gwe ssirabanga.
29Laba, kino kyokka kye nnalaba nga Katonda yakola abantu nga bagolokofu; naye bo ne banoonya bingi bye baagunja.