Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
23 verses
1Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda eri abatukuvu abali mu Efeso n'abakkiriza mu Kristo Yesu:
2ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
3Yeebazibwe Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuwa buli mukisa gwonna ogw'Omwoyo mu bifo eby'omu ggulu mu Kristo:
4nga bwe yatulondera mu ye ng'ensi tennaba kutondebwa, ffe okubeera abatukuvu abatalina kabi mu maaso ge mu kwagala:
5bwe yatwawula edda okumufuukira abaana ku bwa Yesu Kristo, nga bwe yasiima olw'okwagala kwe,
6ekitiibwa ky'ekisa kye kiryoke kitenderezebwenga, kye yatuwa obuwa mu oyo omwagalwa:
7eyatuweesa akununulibwa kwaffe olw'omusaayi gwe, okusonyiyibwa ebyonoono byaffe, ng'obugagga obw'ekisa kye bwe buli,
8kye yasukkiriza gye tuli mu magezi gonna n'okutegeera kwonna,
9bwe yatutegeeza ekyama eky'okwagala kwe, nga bwe yasiima yekka, nga bwe yamalirira edda mu ye,
10olw'obuwanika obw'omu biro ebituukirivu, okugattira awamu byonna mu Kristo, ebiri mu ggulu n'ebiri ku nsi;
11mu oyo naffe mwe twafuukira obusika bwe twayawulibwa edda mu kumalirira kw'oyo akoza byonna nga bw'ayagala mu kuteesa kwe;
12ffe tulyoke tubeere ettendo ly'ekitiibwa kye, ffe abaasooka okusuubira mu Kristo:
13era nammwe mu ye, bwe mwawulira ekigambo eky'amazima, enjiri ey'obulokozi bwammwe, mu oyo, n'okukkiriza bwe mwakkiriza, ne muteekebwako akabonero n'Omwoyo Omutukuvu eyasuubizibwa,
14gwe musingo gw'obusika bwaffe, okutuusa envuma ya Katonda lw'erinunulibwa, ekitiibwa kye kitenderezebwe.
15Bwe nnawulira okukkiriza Mukama waffe Yesu okuli mu mmwe, era kwe mulaga eri abatukuvu bonna,
16kyenva sirekangayo kwebaza, nga mboogerako mu kusaba kwange;
17Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow'ekitiibwa, abawe omwoyo ogw'amagezi n'ogw'okubikkulirwa mu kumutegeera ye;
18nga mumulisibwanga amaaso ag'omutima gwammwe, mmwe okumanya essuubi ery'okuyita kwe bwe liri, obugagga obw'ekitiibwa eky'obusika bwe mu batukuvu bwe buli,
19era obukulu obusinga ennyo obw'amaanyi ge eri ffe abakkiriza bwe buli, ng'obuyinza bw'amaanyi ge bwe bukola,
20ge yakoza mu Kristo, bwe yamuzuukiza mu bafu, n'amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo mu bifo eby'omu ggulu,
21waggulu nnyo okusinga okufuga kwonna n'obuyinza n'amaanyi n'obwami na buli linnya eryatulwa si mu mirembe gino gyokka naye ne mu egyo egigenda okujja:
22n'ateeka byonna wansi w'ebigere bye, n'amuteekawo okuba omutwe ku byonna eri ekkanisa,
23gwe mubiri gwe, okutuukirira ku oyo atuukiriza byonna mu byonna.