Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
1Kale nze Pawulo, omusibe wa Yesu Kristo ku lwammwe ab'amawanga, -
2oba mwawulira obuwanika obw'ekisa kya Katonda kye nnaweebwa eri mmwe;
3bwe nnategeezebwa ekyama mu kubikkulirwa, nga bwe nnawandiika edda mu bigambo ebitono,
4ebiyinza okubategeeza, bwe mubisoma, okumanya kwange mu kyama kya Kristo;
5ekitaategeezebwa mu mirembe egy'edda abaana b'abantu, nga kaakano bwe kibikkuliddwa abatume be abatukuvu ne bannabbi mu Mwoyo;
6ab'amawanga okubeera abasikira awamu, era ab'omubiri ogumu, era abassa ekimu ekyasuubizibwa mu Kristo Yesu olw'enjiri,
7gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'ekirabo eky'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa ng'okukola kw'amaanyi ge bwe kuli.
8Nze, omuto okusinga abato ab'omu batukuvu bonna, nnaweebwa ekisa kino, okubuuliranga ab’amawanga obugagga bwa Kristo obutanoonyezeka;
9n'okumulisizanga bonna balabe okugaba kw'ekyama bwe kuli, ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna mu Katonda eyatonda byonna;
10kaakano abaamasaza n'ab'obuyinza mu bifo eby'omu ggulu bategeezebwe mu kkanisa amagezi amangi aga Katonda ag'engeri ennyingi,
11ng'okumalirira bwe kuli mu Kristo Yesu Mukama waffe:
12mwe tuggya obuvumu bwaffe n'okusembera n'obugumu olw'okumukkiriza ye.
13Kyenva nsaba mmwe mulemenga okuddirira olw'ebibonoobono byange ku lwammwe, ebyo kye kitiibwa kyammwe.
14Kyenva nfukaamirira Kitaffe,
15buli kika eky'omu ggulu n'eky'oku nsi kwe kiggya erinnya,
16abawe mmwe, ng'obugagga bw'ekitiibwa kye bwe buli, okunywezebwa n'amaanyi mu Mwoyo gwe mu muntu ow'omunda:
17Kristo atuulenga mu mitima g'yammwe olw'okukkiriza; mubeerenga n'emmizi munywezebwenga mu kwagala,
18mulyoke muweebwe amaanyi okukwatanga n'amagezi awamu n'abatukuvu bonna obugazi n'obuwanvu n'obugulumivu n'okugenda wansi bwe biri,
19n’okutegeera okwagala kwa Kristo okusinga okutegeerwa, mulyoke mutuukirire okutuusa okutuukirira kwonna okwa Katonda.
20Kale oyo ayinza okukola ennyo okusingira ddala byonna bye tusaba oba bye tulowooza, ng'amaanyi bwe gali agakolera mu ffe,
21aweebwenga ekitiibwa mu kkanisa ne mu Kristo Yesu okutuusa emirembe n'emirembe egitaggwaawo. Amiina.