Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
33 verses
1Kale mugobererenga Katonda, ng'abaana abaagalwa;
2era mutambulirenga mu kwagala, era nga Kristo bwe yabaagala mmwe, ne yeewaayo ku lwaffe okubeera ekirabo era ssaddaaka eri Katonda okubeera evvumbe eriwunya obulungi.
3Naye obwenzi n'obugwagwa bwonna n'okwegomba n'okwogerebwa tebyogerebwangako mu mmwe, nga bwe kigwanira abatukuvu
4newakubadde eby'ensonyi, newakubadde ebinyumizibwa eby'obusiru, newakubadde okubalaata, ebitasaana: naye waakiri okwebazanga.
5Kubanga ekyo mukitegeerera ddala nga tewali mwenzi, oba mugwagwa, oba eyeegomba, ye oyo asinza ebifaananyi, alina obusika mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda.
6Omuntu yenna tabalimbanga n'ebigambo ebitaliimu: kubanga olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira.
7Kale temussanga kimu nabo;
8kubanga edda mwali kizikiza, naye kaakano muli musana mu Mukama waffe: mutambulenga ng'abaana b'omusana
9(kubanga ebibala by'omusana biri mu bulungi bwonna n'obutuukirivu n'amazima),
10nga mukeberanga Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri;
11so temussanga kimu n'ebikolwa ebitabala eby'ekizikiza, naye waakiri mubibuulirirenga bubuulirizi;
12kubanga kya nsonyi n'okubyogerako ebyo bye bakola mu kyama.
13Naye ebigambo byonna, bwe bibuulirirwa, omusana gubirabisa: kubanga buli ekirabisibwa gwe musana.
14Kyava ayogera nti Zuukuka, ggwe eyeebase, ozuukire mu bafu, Kristo anaakwakira.
15Kale mutunule nnyo bwe mutambulanga, si ng'abatalina magezi, naye ng'abalina amagezi;
16nga mweguliranga ebbanga, kubanga ennaku zino mbi.
17Kale temubeeranga basirusiru, naye mutegeerenga Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri.
18So temutamiiranga mwenge, kubanga mu gwo mulimu okwegayaggula, naye mujjulenga Omwoyo;
19nga mwogeragananga mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbanga, nga mumukubiranga ennanga mu mutima gwammwe Mukama waffe;
20nga mwebazanga ennaku zonna olwa byonna Katonda Kitaffe mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo;
21nga muwuliragananga mu kutya Kristo.
22Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe.
23Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw'ali omutwe gw'ekkanisa, bw'ali omulokozi ow'omubiri yennyini.
24Naye ng'ekkanisa bw'ewulira Kristo, n'abakazi bwe batyo bawulirenga babbaabwe mu buli kigambo.
25Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo;
26alyoke agitukuze ng'amaze okugirongoosa n'okuginaaza n'amazzi mu kigambo,
27alyoke agyereetere yennyini ekkanisa ey'ekitiibwa, nga terina bbala newakubadde olufunyiro newakubadde kyonna ekifaanana nga bino; naye ebeere entukuvu eteriiko bulema.
28Era bwe kibagwanidde bwe kityo abasajja okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng'emibiri gyabwe bennyini. Ayagala mukazi we yennyini, yeeyagala yekka:
29kubanga tewali muntu eyali akyaye omubiri gwe yennyini, naye aguliisa, agujjaanjaba, era nga Kristo bw'ajjanjaba ekkanisa;
30kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.
31Omuntu kyanaavaaga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu.
32Ekyama kino kikulu: naye njogera ku Kristo n'ekkanisa.
33Naye era nammwe buli muntu ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yekka; n'omukazi atyenga bba.