Luganda Holy Bible Wordproject Bible
3 verses
1Awo kabaka Akaswero n'asalira ensi omusolo, n'ebizinga eby'omu nnyanja.
2Era ebikolwa byonna eby'obuyinza bwe n'amaanyi ge n'okutegeereza ddala obukulu bwa Moluddekaayi bwe bwenkana, kabaka bwe yamukuza, tebyawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya bassekabaka b'e Bumeedi n'e Buperusi?
3Kubanga Moluddekaayi Omuyudaaya yaddirira kabaka Akaswero, era yali mukulu mu Bayudaaya, era yakkirizibwa ekibiina kya baganda be; ng'ayagala okukola abantu be obulungi, era ng'abuulira ezzadde lye lyonna emirembe.