Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
10 verses
1Mukama n'amugamba Musa nti Ekibonoobono kimu nate kye ndimuleetera Falaawo ne Misiri; oluvannyuma alibaleka okuvaamu: bw'alibaleka, mazima alibagobera ddala muno.
2Yogera kaakano mu matu g'abantu, basabe buli musajja eri muliraanwa we na buli mukazi eri muliraanwa we ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu.
3Mukama n'abawa abantu okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri. Nate omuntu Musa yali mukulu nnyo mu nsi ey'e Misiri, mu maaso g'abaddu ba Falaawo, ne mu maaso g'abantu.
4Musa n'ayogera nti Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti Nga mu ttumbi ndifuluma wakati w'e Misiri:
5n'ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri balifa, okuva ku mubereberye wa Falaawo atuula ku ntebe ey'obwakabaka okutuuka ku mubereberye w'omuzaana ali ennyuma w'olubengo; n'ebibereberye byonna eby'ebisibo.
6Era walibeera okukaaba okungi mu nsi yonna ey'e Misiri, okutabangawo newakubadde tekulibaawo nate nga kuno.
7Naye ku omu mu baana ba Isiraeri embwa terimuwagalako lulimi, ku muntu newakubadde ensolo : mulyoke mumanye Mukama bw'ayawula wakati w'Abamisiri ne Isiraeri.
8Era abaddu bo bano bonna baliserengeta gye ndi balivuunamira nze, nga boogera nti Genda n'abantu bo bonna abakugoberera: oluvannyuma ndigenda. N'ava eri Falaawo n'obusungu bungi.
9Mukama n'amugamba Musa nti Falaawo talibawulira: eby'amagero byange biryoke byeyongere mu nsi ey'e Misiri.
10Musa ne Alooni ne bakola eby'amagero bino byonna mu maaso ga Falaawo: Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atabaleka abaana ba Isiraeri okuva mu nsi ye.