Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
40 verses
1Mukama n'agamba Musa nti
2Babuulire abaana ba Isiraeri bantwalire ekiweebwayo: eri buli muntu omutima gwe gwagaza mulitwala ekiweebwayo kyange.
3Kino kye kiweebwayo kye mulibatwalako: zaabu, n'effeeza, n'ekikomo;
4n'olugoye lwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi;
5n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita;
6amafuta g'ettabaaza, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza;
7amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omu kifuba.
8Era Bankolere awatukuvu; ndyoke ntuule wakati waabwe.
9Nga byonna bye nkulaga, engeri ey'eweema, n'engeri ey'ebintu byayo byonna, bwe mutyo bwe mulikola.
10Era balikola essanduuko ey'omuti gwa sita: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo, era omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.
11Era oligibikkako zaabu ennungi, munda ne kungulu oligibikkako, era olikola ku yo engule eya zaabu okwetooloola.
12Era oligifumbira empeta nnya eza zaabu, n'oteeka mu magulu gaayo ana; n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi lumu, n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi olw'okubiri.
13Era olikola emisituliro egy'omuti gwa sita, oligibikkako zaabu.
14Era oligiyingiza emisituliro mu mpeta ku mbiriizi ez'essanduuko, esitulibwenga n'egyo.
15Emisituliro giribeera mu mpeta ez'essanduuko: tegiggibwangamu.
16Era oliteeka mu ssanduuko obujulirwa bwe ndikuwa.
17Era olikola entebe ey'okusaasira ne zaabu ennungi: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo.
18Era olikola ba kerubi babiri aba zaabu; mu zaabu empeese mw'olibakola, ku nsonda bbiri ez'entebe ey'okusaasira.
19Era kola kerubi omu ku nsonda eyo, ne kerubi ow'okubiri ku nsonda eyo: ba zaabu emu n'entebe ey'okusaasira bwe mulikola bakerubi babiri ku nsonda zaayo ebbiri.
20Era bakerubi baligolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga balabagana amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi galitunuulira entebe ey'okusaasira.
21Era oliteeka entebe ey'okusaasira waggulu ku sanduuko; era mu sanduuko mw'oliteeka obujulirwa bwe ndikuwa.
22Era okwo kwe nnaalabaganiranga naawe, nange naanyumyanga naawe okuyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira, wakati wa bakerubi ababiri abali ku ssanduuko ey'obujulirwa, ku byonna bye nnaakuIagiranga eri abaana ba Isiraeri.
23Era olikola emmeeza ey'omuti gwa sita: emikono ebiri obuwanvu bwayo, n'omukono obugazi bwayo, n'omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.
24Era oligibikkako zaabu ennungi, era oligikolera engule eya zaabu okwetooloola.
25Era oligikolako olukugiro olw'oluta okwetooloola, era olirukolako olukugiro lwayo engule eya zaabu okwetooloola.
26Era oligikolera empeta nnya eza zaabu, n'oziteeka empeta ku nsonda ennya eziri ku magulu gaayo ana.
27Kumpi n'olukugiro we ziriba empeta, zibeere ebifo by'emisituliro egy'okusitula emmeeza.
28Era olikola emisituliro n'omuti gwa sita, era oligibikkako zaabu, emmeeza esitulibwenga n'egyo.
29Era olikola essowaani zaayo, n'ebijiiko byayo, n'ensuwa zaayo, n'ebibya byayo okufuka: ne zaabu ennungi olibikola.
30Era oliwaayo ku mmeeza emigaati egy'okulaga mu maaso gange bulijjo.
31Era olikola ekikondo ne zaabu ennungi: ekikondo kiriweesebwa, entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo, biribeera bya zaabu emu nakyo:
32n'amatabi mukaaga galiva mu mbiriizi zaakyo; amatabi asatu ag'ekikondo mu lubiriizi lwakyo lumu, n'amatabi asatu ag'ekikondo mu lubiriizi lwakyo olw'okubiri:
33ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi limu, omutwe n'ekimuli; n'ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi ery'okubiri, omutwe n'ekimuli; bwe kityo mu matabi mukaaga agava ku kikondo;
34ne mu kikondo ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyakyo n'ebimuli byakyo:
35n'omutwe gube wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agava ku kikondo.
36Emitwe gyago n'amatabi gaago biribeera bya zaabu emu nakyo: kyonna kiribeera ekyaweesebwa ekya zaabu ennungi ekimu.
37Era olikola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu: era banaakoleezanga eby'ettabaaza byakyo, okwakira mu maaso gaakyo.
38Ne makaasi waakyo, ne ssowaani zaakyo ez'ebisiriiza, biribeera bya zaabu ennungi.
39Ne ttalanta eya zaabu ennungi bwe kirikolebwa, n'ebintu ebyo byonna.
40Era weekuume obikole mu ngeri yaabyo gye walagibwa ku lusozi.