Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
8 verses
1Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2Omwana w'omuntu, omuzabbibu gusinga gutya omuti gwonna, oba ettabi ery'ogumu ku miti egy'omu kibira?
3Banaggyangako emiti okukola omulimu gwonna? oba abantu banaggyangako ekikondo okuwanikako ekintu kyonna?
4Laba, bagusuula mu muliro okuba enku: omuliro gugwokezza eruuyi n'eruuyi ne wakati waagwo wayidde; guliko kye gugasa olw'omulimu gwonna?
5Laba, bwe gwali nga gukyali mulamba, tegwasaanira mulimu gwonna: kale omuliro nga gugwokezza era nga guyidde gukyasaanira gutya omulimu gwonna?
6Kale Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Ng'omuzabbibu mu miti egy'omu kibira, gwe mpaddeyo eri omuliro okuba enku, bwe ntyo bwe ndiwaayo abo abali mu Yerusaalemi.
7Era ndikakasa amaaso gange okuboolekera; balifuluma mu muliro, naye omuliro gulibookya; kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndikakasa amaaso gange okuboolekera.
8Era ndizisa ensi kubanga basobezza, bw'ayogera Mukama Katonda.